1 Abakkolinso
11 Munkoppe, nga nange bwe nkoppa Kristo.+
2 Mbeebaza kubanga munzijukira mu byonna era munywerera ku bintu byonna nga bwe nnabibawa. 3 Naye njagala mukimanye nti omutwe gwa buli musajja ye Kristo;+ ate omutwe gw’omukazi ye musajja;+ n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.+ 4 Omusajja yenna asaba oba ayogera obunnabbi ng’abisse ku mutwe aba aswaza omutwe gwe; 5 naye buli mukazi asaba oba ayogera obunnabbi+ nga tabisse ku mutwe aba aswaza omutwe gwe, kubanga aba ng’omukazi amweddeko enviiri. 6 Omukazi bw’atabikka ku mutwe gwe asaleko enviiri ze; naye bwe kiba kiswaza omukazi okusalako enviiri ze oba okuzimwako, abikke ku mutwe gwe.
7 Omusajja tagwanira kubikka ku mutwe gwe, kubanga ye kye kifaananyi kya Katonda+ era kye kitiibwa kya Katonda, naye omukazi kye kitiibwa ky’omusajja. 8 Kubanga omusajja teyava mu mukazi, wabula omukazi ye yava mu musajja.+ 9 Ate era, omusajja teyatondebwa lwa mukazi naye omukazi yatondebwa lwa musajja.+ 10 Eyo ye nsonga lwaki omukazi agwanidde okubangako akabonero ku mutwe gwe akalaga nti ali wansi wa musajja, olwa bamalayika.+
11 Ng’oggyeeko ekyo, mu Mukama waffe, omukazi tabeerawo awatali musajja n’omusajja tabeerawo awatali mukazi. 12 Kubanga ng’omukazi bw’ava mu musajja+ n’omusajja ava mu mukazi; naye ebintu byonna byava eri Katonda.+ 13 Mwesalirewo: Kigwanira omukazi okusaba Katonda nga tabisse ku mutwe gwe? 14 Si kya mu butonde nti omusajja aswala bw’aba n’enviiri empanvu, 15 naye nti omukazi bw’abeera n’enviiri empanvu kiba kya kitiibwa gy’ali? Kubanga yaweebwa enviiri mu kifo ky’ekitambaala eky’oku mutwe. 16 Kyokka, bwe wabaawo omuntu yenna awakanya kino olw’okwagala okugoberera enkola endala, ffe awamu n’ebibiina bya Katonda tetulinaayo nkola ndala.
17 Wadde nga mbawa ebiragiro bino, sibasiima kubanga bwe mukuŋŋaana, temukikola lwa bulungi wabula olw’obubi. 18 Okusookera ddala, mpulira nti bwe mukuŋŋaana awamu mu kibiina, mweyawulayawula; era kino nnyinza okukikkiriza. 19 Era mu mmwe mujja kubaamu obubiinabiina,+ abo Katonda b’asiima basobole okweyoleka.
20 Bwe mukuŋŋaana mu kifo ekimu, ddala muba temukuŋŋaanye kulya Kya Kiro kya Mukama Waffe.+ 21 Kubanga ekiseera bwe kituuka okukirya, buli omu aba yamaze dda okulya eky’ekiro kye, ne kiba nti abamu baba balumwa enjala ate ng’abalala batamidde. 22 Temulina mayumba ga kuliiramu na kunyweramu? Oba munyooma ekibiina kya Katonda ne muleetera abo abatalina kintu kyonna okukwatibwa ensonyi? Mbagambe ki? Mbasiime? Mu kino sibasiima.
23 Kubanga nnabawa ekyo kye nnafuna okuva eri Mukama waffe, nti mu kiro+ Mukama waffe Yesu mwe baamuliiramu olukwe yatoola omugaati, 24 era bwe yamala okwebaza n’agumenyamu n’agamba nti: “Guno gukiikirira omubiri gwange+ oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga.”+ 25 Era ne ku kikopo n’akola bw’atyo,+ bwe yamala okulya eky’ekiro, n’agamba nti: “Ekikopo kino kikiikirira endagaano empya+ ekoleddwa olw’omusaayi gwange.+ Mukolenga bwe mutyo, buli lwe munaakinywangako, okunzijukiranga.”+ 26 Kubanga buli lwe mulya ku mugaati guno era ne munywa ne ku kikopo kino, muba mulangirira okufa kwa Mukama waffe okutuusa lw’alijja.
27 N’olwekyo, buli alya ku mugaati oba anywa ku kikopo kya Mukama waffe nga tagwanidde, aba azzizza omusango ku mubiri ne ku musaayi gwa Mukama waffe. 28 Omuntu asookenga kwekebera obanga asaanidde,+ alyoke alye ku mugaati era anywe ne ku kikopo. 29 Kubanga oyo alya era n’anywa aba yeereetako omusango singa aba tategeera mubiri kye gutegeeza. 30 Eyo ye nsonga lwaki bangi ku mmwe muli banafu, muli balwadde, era ng’abawerako muli bafu.*+ 31 Naye singa twekebera ne tumanya kye tuli, tetujja kusalirwa musango. 32 Kyokka, bwe tusalirwa omusango, tukangavvulwa Yakuwa*+ tuleme kubonerezebwa wamu n’ensi.+ 33 Kale ab’oluganda, bwe mukuŋŋaananga awamu okulya mulindenga bannammwe. 34 Bwe wabaawo omuntu yenna alumwa enjala aliire eka, muleme kusalirwa musango+ nga mukuŋŋaanye. Ebisigadde nja kubitereeza nga nzize eyo.