Engero
2 Olulimi lw’ab’amagezi lukozesa bulungi okumanya,+
Naye akamwa k’abasirusiru koogera eby’obusirusiru.
4 Olulimi olukkakkamu* muti gwa bulamu,+
Naye ebigambo ebinyooleddwanyooleddwa bireetera omuntu okuggwaamu essuubi.
6 Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu eby’omuwendo bingi,
Naye ebyo omubi by’akola bimuleetera emitawaana.+
10 Okukangavvulwa tekusanyusa* oyo aleka ekkubo ettuufu,+
Era buli atayagala kunenyezebwa ajja kufa.+
11 Yakuwa alaba amagombe* n’ekifo eky’okuzikiririramu.*+
Kati ate olwo emitima gy’abantu?+
12 Omukudaazi tayagala oyo amuwabula.*+
Era teyeebuuza ku ba magezi.+
13 Omutima omusanyufu guleeta essanyu ku maaso,
Naye ennaku emenya omwoyo.+
15 Ennaku zonna ez’omuntu abonaabona ziba mbi,+
Naye ow’omutima omusanyufu* aba ng’ali ku mbaga ebbanga lyonna.+
19 Ekkubo ly’omugayaavu liringa olukomera olw’amaggwa,+
Naye ekkubo ly’abagolokofu liringa oluguudo olw’omuseetwe.+
22 Awatali kuteesa enteekateeka zigwa butaka,
Naye bwe wabaawo abawi b’amagezi* abangi wabaawo ekituukibwako.+
23 Omuntu asanyuka bw’addamu ekituufu,+
Era ekigambo ekyogerwa mu kiseera ekituufu nga kiba kirungi!+
27 Oyo afuna amagoba mu makubo amakyamu aleetera ab’omu nnyumba ye emitawaana,*+
Naye oyo akyawa enguzi ajja kusigala nga mulamu.+
28 Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza nga tannaba kwanukula,*+
Naye akamwa k’ababi kafubutukamu ebintu ebibi.
29 Ababi Yakuwa ababeera wala,
Naye awulira essaala z’abatuukirivu.+
31 Oyo awuliriza okubuulirira okuwa obulamu
Ab’amagezi abagyaamu bulungi.+
32 Omuntu atayagala kukangavvulwa obulamu bwe tabutwala nga bwa muwendo,+