Engero
2 Entiisa ya kabaka eringa okuwuluguma kw’empologoma;+
Buli amusunguwaza ateeka obulamu bwe mu kabi.+
4 Omugayaavu talima mu budde obunnyogovu,
Kyava asabiriza mu kiseera eky’amakungula kubanga aba talina kantu.*+
5 Ebirowoozo* by’omu mutima gw’omuntu biringa amazzi agali mu luzzi oluwanvu,
Naye omuntu omutegeevu abisenayo.
6 Abantu bangi bagamba nti balina okwagala okutajjulukuka,
Naye ani ayinza okuzuula omuntu omwesigwa?
7 Omutuukirivu atambulira mu bugolokofu.+
12 Amatu agawulira n’amaaso agalaba
—Byombi Yakuwa ye yabikola.+
13 Toyagalanga kwebaka, si kulwa ng’oyavuwala.+
Zibula amaaso go, obenga n’emmere nnyingi ey’okulya.+
14 Omuguzi agamba nti, “ekintu si kirungi, ekintu si kirungi!”
Ate oluvannyuma n’agenda ne yeewaana nga bw’akiguze ssente entono.+
15 Waliwo zzaabu, n’amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja* mangi,
Naye emimwa gy’ab’amagezi gya muwendo nnyo.+
16 Twala ekyambalo ky’omusajja eyeeyimirira omuntu gw’atamanyi;+
Twala kye yasingawo bw’aba yakisingawo olw’omukazi omwenzi.*+
17 Emmere omuntu gy’afuna mu makubo amakyamu emuwoomera,
Naye oluvannyuma akamwa ke kajjula omusenyu.+
20 Oyo akolimira kitaawe ne nnyina,
Ettaala ye ejja kuzikizibwa ng’enzikiza ekutte.+
21 Obusika obufunibwa mu kululunkana
Tebuba na mukisa ku nkomerero.+
22 Togambanga nti: “Nja kuwoolera eggwanga!”+
Essuubi lyo lisse mu Yakuwa,+ ajja kukuyamba.+
23 Ebipima ebikyamu* Yakuwa abikyawa,
Ne minzaani ezitali ntuufu si nnungi.
25 Kuba kwesuula mu mutego omuntu okwanguwa okugamba nti, “Kitukuvu!”+
Ate oluvannyuma n’alyoka alowooza ku ebyo bye yeeyamye.+
27 Omukka oguva mu nnyindo y’omuntu ye ttaala ya Yakuwa,
Eyoleka omuntu ky’ali munda.