Yobu
38 Awo Yakuwa n’ayanukula Yobu ng’asinziira mu mbuyaga:+
3 Weeteeketeeke ng’omusajja
Nkubuuze ebibuuzo onziremu.
4 Wali ludda wa nga nzisaawo emisingi gy’ensi?+
Mbuulira, bw’oba olowooza nti otegeera.
5 Ani yasalawo ebipimo byayo, bw’oba omanyi,
Era ani yagireegako omuguwa okugipima?
6 Emisingi gyayo gyateekebwa ku ki,
Era ani yasimba ejjinja lyayo ery’oku nsonda,+
7 Emmunyeenye ez’oku makya+ bwe zaayogerera waggulu n’essanyu,
Bwe yawaguza n’eva mu lubuto,
9 Bwe nnagyambaza ebire
Era ne ngizinga mu kizikiza ekikutte,
10 Bwe nnagiteerawo w’erina okukoma
Ne ngiteekako enzigi n’ebisiba,+
11 Ne ngigamba nti, ‘Okomanga wano, era tosukkangawo;
Wano amayengo go ag’amalala we ganaakomanga’?+
12 Wali owaddeko amakya ebiragiro
Oba n’omanyisa emmambya ekifo kyayo,+
13 Ggwe wagamba ekitangaala eky’oku makya kibune mu buli kanyomero k’ensi
Kigobeyo ababi?+
14 Ensi ekyuka ng’ebbumba eriri wansi w’akabonero,
N’ebintu ebigiriko biringa ekyambalo ekitoneddwatoneddwa.
15 Naye ababi baggibwako ekitangaala kyabwe,
N’omukono gwabwe oguwanikiddwa gumenyebwa.
16 Wali ogenze ebuziba awasibuka ensulo z’ennyanja,
Oba wali olambuddeko obuziba bw’ennyanja?+
Nziraamu, bw’oba nga bino byonna obimanyi.
Era ekizikiza kibeera wa,
20 Obitwale mu kifo kyabyo
Era otegeere amakubo agagenda gye bibeera?
21 Kino okimanyi olw’okuba wali wazaalibwa dda
Era ng’owangadde emyaka mingi?*
22 Wali oyingiddeko mu materekero g’omuzira,+
Oba wali olabye ku materekero g’omuzira,+
23 Bye nnaterekera ebiseera eby’okulabiramu ennaku,
N’olunaku olw’olutalo?+
25 Ani yassaawo emikutu amataba mwe gayita
Era eyakola ekkubo ly’enkuba erimu okubwatuka,+
26 Esobole okutonnya abantu gye batabeera,
Mu ddungu eteri bantu,+
27 Efukirire ensi eyayonoonebwa
Era emeze omuddo?+
29 Omuzira gwava mu lubuto lw’ani,
Era ani yazaala omuzira oguva mu ggulu+
30 Amazzi ne gaba ng’agabikkiddwako ejjinja,
Ne kungulu ku nnyanja ne kukwata?+
31 Osobola okusiba emiguwa gy’ekibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Kima,
Oba okusumulula emiguwa gy’ekibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Kesiri?+
32 Osobola okufulumya ekibinja ky’emmunyeenye mu kiseera kyakyo?
Oba okuluŋŋamya ekibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Asi n’abaana baakyo?
34 Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo eri ebire
Amazzi amangi ennyo ne gakuyiikako?+
35 Oyinza okusindika ebimyanso?
Binajja ne bikugamba nti, ‘Tuutuno!’
37 Ani ow’amagezi asobola okubala ebire,
Oba ani asobola okuttulula ensumbi z’amazzi ez’omu ggulu+
38 Enfuufu n’efuuka ebisooto
N’ettaka ne lyekwata?
39 Osobola okuyiggira empologoma eky’okulya
Oba okukkusa empologoma envubuka+
40 Bwe zibwama mu bisulo byazo
Oba bwe ziteegera gye zibeera?
41 Ani ateekerateekera nnamuŋŋoona emmere+
Abaana be bwe bakaabira Katonda abayambe
Era ne babundabunda olw’okubulwa eky’okulya?