Matayo
7 “Mulekere awo okusalira abalala omusango+ nammwe muleme kusalirwa musango; 2 kubanga nga bwe musalira abalala omusango, nammwe bwe gulibasalirwa;+ era ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, nabo kye balikozesa okubapimira.+ 3 Kati olwo, lwaki otunuulira akasubi akali mu liiso lya muganda wo naye n’otofaayo ku kisiki ekiri ku liiso lyo?+ 4 Oba, oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasubi ku liiso lyo,’ so ng’ate ku liryo kuliko ekisiki? 5 Munnanfuusi ggwe! Sooka oggye ekisiki ku liiso lyo, osobole okulaba obulungi bw’oyinza okuggya akasubi ku liiso lya muganda wo.
6 “Temuwanga mbwa kintu kitukuvu, wadde okusuulira embizzi luulu zammwe,+ zireme kuzirinnyirira ate oluvannyuma ne zikyuka ne zibaluma.
7 “Musabenga, muliweebwa;+ munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo.+ 8 Kubanga buli asaba aweebwa,+ buli anoonya azuula, na buli akonkona aggulirwawo. 9 Ani ku mmwe awa omwana we ejjinja ng’amusabye omugaati? 10 Oba amuwa omusota ng’amusabye ekyennyanja? 11 N’olwekyo, oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo nnyo okuwa ebintu ebirungi+ abo abamusaba!+
12 “Kale, ebintu byonna bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola;+ mu butuufu, kino Amateeka n’ebigambo bya Bannabbi kye bitegeeza.+
13 “Muyingire mu mulyango omufunda,+ kubanga omulyango oguyingira mu kuzikirira mugazi n’ekkubo erituukayo ddene, era bangi abaliyitamu; 14 naye omulyango oguyingira mu bulamu mufunda n’ekkubo erituukayo lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.+
15 “Mwekuume bannabbi ab’obulimba+ abajjira mu byambalo by’endiga,+ naye nga munda gye misege egikavvula.+ 16 Mulibategeerera ku bibala byabwe. Abantu banoga ezzabbibu ku muti ogw’amaggwa oba ettiini ku matovu?+ 17 Mu ngeri y’emu, buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi, naye omuti omubi* gubala ebibala ebibi.+ 18 Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n’omuti omubi* teguyinza kubala bibala birungi.+ 19 Buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro.+ 20 Mazima ddala, abantu abo mulibategeerera ku bibala byabwe.+
21 “Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ y’aliyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala.+ 22 Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,+ tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, era ne tukola ebyamagero bingi mu linnya lyo?’+ 23 Naye ndibaatulira nti: ‘Sibamanyangako mmwe! Muve we ndi mmwe abajeemu.’+
24 “N’olwekyo, buli muntu awulira ebigambo byange era n’abikolerako, aliba ng’omusajja ow’amagezi eyazimba ennyumba ye ku lwazi;+ 25 enkuba n’etonnya, amataba ne gajja, embuyaga n’ekuntira ku nnyumba eyo, naye n’etagwa olw’okuba yazimbibwa ku lwazi. 26 Naye buli muntu awulira ebigambo byange n’atabikolerako, aliba ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye ku musenyu;+ 27 enkuba n’etonnya, amataba ne gajja, embuyaga n’ekuntira ku nnyumba eyo,+ n’egwa, era okugwa kwayo kwali kwa maanyi.”
28 Yesu bwe yamala okwogera ebyo, ekibiina ky’abantu ne kiwuniikirira olw’engeri gye yali ayigirizaamu,+ 29 kubanga yali abayigiriza ng’omuntu alina obuyinza,+ so si ng’abawandiisi baabwe.