Zekkaliya
2 Awo ne ntunula waggulu ne ndaba omusajja eyali akutte omuguwa ogupima.+ 2 Ne mmubuuza nti: “Ogenda wa?”
N’aŋŋamba nti: “Ŋŋenda kupima Yerusaalemi ndabe bwe kyenkana obugazi n’obuwanvu.”+
3 Malayika eyali ayogera nange bwe yali agenda, malayika omulala n’ajja okumusisinkana. 4 Awo n’amugamba nti: “Dduka ogambe omuvubuka oli nti, ‘“Yerusaalemi kiribaamu abantu+ okufaananako ebyalo ebitaliiko bbugwe, kubanga abantu abakirimu balyeyongera obungi era n’ebisolo biriba bingi.+ 5 Ndiba gye kiri nga bbugwe ow’omuliro ku njuyi zonna+ era ndikijjuza ekitiibwa kyange,”+ Yakuwa bw’agamba.”’
6 Mujje! Mujje! Mudduke muve mu nsi ey’ebukiikakkono,”+ Yakuwa bw’agamba.
“Mbasaasaanyizza mmwe mu mpewo ennya ez’eggulu,”+ Yakuwa bw’agamba.
7 “Jjangu ggwe Sayuuni! Mudduke mmwe ababeera ne muwala wa Babulooni.+ 8 Oluvannyuma lw’okugulumizibwa,* Katonda antumye mu mawanga agaali gabanyagako ebyammwe,+ era bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: ‘Buli abakwatako mmwe aba akutte ku mmunye y’eriiso lyange.*+ 9 Laba, ndibawuubira omukono gwange era balifuuka munyago eri abaddu baabwe.’+ Mulimanya nti Yakuwa ow’eggye y’antumye.
10 “Yogerera waggulu olw’essanyu, ggwe muwala wa Sayuuni;+ kubanga nzija,+ era nja kubeeranga mu ggwe,”+ Yakuwa bw’agamba. 11 “Amawanga mangi galyegatta ku Yakuwa ku lunaku olwo,+ era balifuuka bantu bange; era ndibeera wakati mu ggwe.” Era olimanya nti Yakuwa ow’eggye y’antumye gy’oli. 12 Yakuwa alitwala Yuda okuba omugabo gwe mu nsi entukuvu era aliddamu n’alonda Yerusaalemi.+ 13 Mmwe abantu mmwenna musirike mu maaso ga Yakuwa, kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu mw’abeera abeeko ky’akolawo.