Okuva
33 Era Yakuwa n’agamba Musa nti: “Va mu kifo kino, ggwe n’abantu be waggya mu nsi ya Misiri. Mugende mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga ŋŋamba nti, ‘Nja kugiwa ezzadde lyo.’+ 2 Nja kutuma malayika akukulemberemu,+ ngobe Abakanani, Abaamoli, Abakiiti, Abaperizi, Abakiivi, n’Abayebusi.+ 3 Mugende mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.+ Naye nze sijja kugendera wakati mu mmwe, kubanga muli bantu bakakanyavu,*+ era nnyinza okubazikiririza mu kkubo.”+
4 Abantu bwe baafuna amawulire ago amabi, ne banakuwala, era tewali n’omu yayambala majolobero ge. 5 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Muli bantu bakakanyavu.*+ Mu kaseera katono nsobola okuyita wakati mu mmwe ne mbazikiriza.+ Kaakano mweggyeeko amajolobero gammwe gonna, nga bwe ndowooza eky’okubakolera.’” 6 Bwe batyo, okuva ku Lusozi Kolebu n’okweyongerayo, Abayisirayiri tebaayambala* majolobero gaabwe.
7 Awo Musa n’atwala weema ye n’agisimba ebweru w’olusiisira, nga yeesudde walako okuva ku lusiisira, n’agiyita weema ey’okusisinkaniramu. Buli muntu eyabangako kye yeebuuza ku Yakuwa,+ yafulumanga n’agenda ku weema ey’okusisinkaniramu eyali ebweru w’olusiisira. 8 Musa olwafulumanga okugenda mu weema, ng’abantu bonna basituka, nga bayimirira ku miryango gya weema zaabwe, nga bamutunuulira okutuusa lwe yayingiranga mu weema. 9 Musa olwayingiranga mu weema, ng’empagi y’ekire+ ekka ng’eyimirira ku mulyango gwa weema, ng’eno Katonda bw’ayogera ne Musa.+ 10 Abantu bonna bwe baalabanga empagi y’ekire ng’eyimiridde ku mulyango gwa weema, nga buli omu asituka ng’avunnama ku mulyango gwa weema ye. 11 Yakuwa yayogeranga ne Musa maaso ku maaso+ ng’omuntu bw’ayogera n’omuntu omulala. Musa bwe yakomangawo mu lusiisira, Yoswa,+ mutabani wa Nuuni, eyali omuweereza we era omuyambi we,+ teyavanga mu weema.
12 Awo Musa n’agamba Yakuwa nti: “Laba, oŋŋamba nti, ‘Kulemberamu abantu bano,’ naye tontegeezezza gw’onootuma kugenda nange. Ate era ogambye nti, ‘Nkumanyi erinnya* era osiimibwa mu maaso gange.’ 13 Bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, nkwegayiridde mmanyisa amakubo go+ nkumanye, nneeyongere okusiimibwa mu maaso go. Era kijjukire nti eggwanga lino bantu bo.”+ 14 Awo n’amuddamu nti: “Nze kennyini nja kugenda naawe+ era nja kukuwa emirembe.”+ 15 Awo Musa n’amugamba nti: “Bw’oba nga toogende naffe, totusindika kuva wano. 16 Kale kinaategeererwa ku ki nti nsiimibwa mu maaso go, nze n’abantu bo? Ggwe okugenda naffe+ si kwe kinaategeererwa nti nze n’abantu bo tuli ba njawulo ku bantu bonna abali ku nsi?”+
17 Yakuwa era n’agamba Musa nti: “Na kino ky’osabye nja kukikola olw’okuba osiimibwa mu maaso gange era nkumanyi erinnya.” 18 Awo Musa n’amugamba nti: “Nkwegayiridde ndaga ekitiibwa kyo.” 19 Naye n’amuddamu nti: “Nja kukusobozesa okulaba obulungi bwange bwonna, era nja kulangirira erinnya lya Yakuwa+ mu maaso go; nja kulaga ekisa oyo gwe nnaalaga ekisa era nja kusaasira oyo gwe nnaasaasira.”+ 20 Naye n’agattako nti: “Toyinza kundaba mu maaso, kubanga tewali muntu asobola kundaba n’asigala nga mulamu.”
21 Awo Yakuwa era n’agamba nti: “Wano waliwo ekifo okumpi nange. Yimirira awo ku lwazi. 22 Ekitiibwa kyange bwe kinaaba kiyitawo, nja kukuteeka mu mwagaanya oguli mu lwazi era nja kukusiikiriza n’omukono gwange okutuusa nga mmaze okuyitawo. 23 Oluvannyuma nja kuggyawo omukono gwange, olabe amabega gange, naye tojja kundaba mu maaso.”+