2 Yokaana
1 Nze omusajja omukadde, mpandiikira omukyala omulonde n’abaana be be njagalira ddala, era si nze nzekka abaagala naye n’abo bonna abategedde amazima. 2 Tubaagala olw’amazima agali mu ffe era agajja okuba naffe emirembe n’emirembe. 3 Ekisa eky’ensusso, okusaasira, n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n’eri Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe binaabeeranga naffe awamu n’amazima n’okwagala.
4 Ndi musanyufu nnyo kubanga nkizudde nti abamu ku baana bo batambulira mu mazima+ nga Kitaffe bwe yatulagira. 5 Era kaakano nkusaba ggwe omukyala omulonde, nti twagalanenga. (Sikuwandiikira kiragiro kipya, wabula ekyo kye twalina okuva ku lubereberye.)+ 6 Okwagala kutegeeza okugobereranga ebiragiro bye.+ Kino kye kiragiro kye mwawulira okuva ku lubereberye, nti mwagalanenga. 7 Kubanga abalimba bangi balabise mu nsi,+ abantu abatakkiriza nti Yesu Kristo yajja ng’omuntu.*+ Omuntu ali bw’atyo ye mulimba era ye mulabe wa Kristo.+
8 Mwekuume muleme okufiirwa ebintu bye twateganira, wabula mufune empeera enzijuvu.+ 9 Buli muntu asukka ku kuyigiriza kwa Kristo n’atakusigalamu aba talina Katonda.+ Oyo asigala mu kuyigiriza kuno y’alina Kitaffe n’Omwana.+ 10 Singa omuntu yenna ajja gye muli n’ataleeta kuyigiriza kuno, temumusembezanga mu maka gammwe+ era temumulamusanga. 11 Oyo amulamusa aba assa kimu naye mu bikolwa bye ebibi.
12 Wadde nga nnina bingi eby’okubawandiikira, saagala kubiwandiika ku lupapula na bwino, naye nsuubira okujja gye muli njogere nammwe maaso ku maaso musobole okuba n’essanyu mu bujjuvu.
13 Abaana ba muganda wo omulonde bakulamusizza.