Yona
3 Awo Yakuwa n’ayogera ne Yona omulundi ogw’okubiri n’amugamba nti:+ 2 “Situka ogende e Nineeve+ ekibuga ekikulu, olangirire mu kibuga ekyo obubaka bwe nkubuulira.”
3 Awo Yona n’asituka n’agenda e Nineeve+ nga Yakuwa bwe yali amugambye.+ Nineeve kyali kibuga kinene nnyo,* era ng’okutambula okukimalako kitwala ennaku ssatu. 4 Awo Yona n’ayingira mu kibuga n’atambula olugendo lwa lunaku lumu nga bw’alangirira nti: “Ebula ennaku 40 zokka Nineeve kizikirizibwe.”
5 Abantu b’omu Nineeve ne bakkiririza mu Katonda,+ ne balangirira okusiiba era bonna ne bambala ebibukutu, abagagga n’abaavu, abakulu n’abato. 6 Ebigambo ebyo bwe byatuuka ku kabaka wa Nineeve, n’asituka ku ntebe ye ey’obwakabaka n’aggyamu ekyambalo kye eky’obwakabaka n’ayambala ebibukutu n’atuula mu vvu. 7 Ate era yalagira kirangirirwe mu Nineeve mwonna nti,
“Kino kye kiragiro kya kabaka n’abakungu be: Tewaba n’omu akomba ku kantu konna, k’abe muntu oba nsolo, ka bibe bisibo oba magana. Tewaba alya emmere wadde anywa amazzi. 8 Bambale ebibukutu, abantu n’ensolo; bakoowoole nnyo Katonda, era baleke amakubo gaabwe amabi n’ebintu eby’obukambwe bye babadde bakola. 9 Ani amanyi obanga Katonda ow’amazima anaddamu n’alowooza* ku ekyo ky’ayagala okukola n’alekera awo okutusunguwalira ne tutazikirira?”
10 Katonda ow’amazima bwe yalaba bye baakola, nga bwe baali baleseeyo amakubo gaabwe amabi,+ n’akyusa ekirowoozo* ky’okuleeta akabi ke yali agambye okubatuusaako, n’atakaleeta.+