Zekkaliya
13 “Ku lunaku olwo ab’ennyumba ya Dawudi n’abo ababeera mu Yerusaalemi balisimirwa oluzzi okubanaazaako ekibi n’obutali bulongoofu.”+
2 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, “Ku lunaku olwo ndiggirawo ddala ebifaananyi mu nsi+ era tebiriddamu kujjukirwa nate; era ndimalawo mu nsi bannabbi+ n’amaanyi ga badayimooni. 3 Omuntu bw’aliddamu okulagula, kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti, ‘Tojja kusigala ng’oli mulamu, kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Yakuwa.’ Era kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita olw’okulagula kwe.+
4 “Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe bw’aliba awa obunnabbi; tebalyambala byambalo bya bannabbi eby’ebyoya+ okusobola okulimba. 5 Aligamba nti, ‘Nze siri nnabbi. Ndi musajja mulimi, kubanga waliwo eyangula nga nkyali muvubuka.’ 6 Bwe walibaawo amubuuza nti, ‘Ate ebyo ebiwundu ebiri wakati w’ebibegaabega byo?’* Aliddamu nti, ‘Ebiwundu bino nnabifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’”*
7 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, “Ggwe ekitala, golokoka olwanyise omusumba wange,+
Olwanyise mukwano gwange.
8 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,
“Abantu ebitundu bibiri bya kusatu mu nsi yonna balittibwa ne basaanawo,
Ekimu eky’okusatu kye kirisigalawo.
9 Ekitundu eky’okusatu ndikiyisa mu muliro;
Ndibalongoosa nga ffeeza bw’alongoosebwa,
Era ndibagezesa nga zzaabu bw’agezesebwa.+
Balikoowoola erinnya lyange,
Era nange ndibaanukula.
Ndigamba nti, ‘Bano bantu bange,’+
Era nabo baligamba nti, ‘Yakuwa ye Katonda waffe.’”