Yeremiya
43 Yeremiya bwe yamala okutegeeza abantu bonna ebigambo bino byonna ebyava eri Yakuwa Katonda waabwe, buli kigambo Yakuwa Katonda waabwe kye yali amutumye okubategeeza, 2 Azaliya mutabani wa Kosaaya, Yokanani+ mutabani wa Kaleya, n’abasajja bonna ab’amalala ne bagamba Yeremiya nti: “By’oyogera bya bulimba! Yakuwa Katonda waffe takutumye kutugamba nti, ‘Temugenda Misiri kubeera eyo.’ 3 Baluki+ mutabani wa Neriya y’akutuwendulidde otuweeyo eri Abakaludaaya, batutte oba batutwale mu buwaŋŋanguse e Babulooni.”+
4 Bwe batyo Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna n’abantu bonna ne batagondera ddoboozi lya Yakuwa okusigala mu nsi ya Yuda. 5 Mu kifo ky’ekyo, Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna ne bagenda n’abantu b’omu Yuda abaali basigaddewo abaakomawo okubeera mu Yuda nga bava mu mawanga gonna gye baali baasaasaanyizibwa.+ 6 Baatwala abasajja, abakazi, abaana, bawala ba kabaka, na buli muntu Nebuzaladaani+ eyali akulira abakuumi gwe yali alekedde Gedaliya+ mutabani wa Akikamu+ mutabani wa Safani,+ awamu ne nnabbi Yeremiya ne Baluki mutabani wa Neriya. 7 Baagenda mu nsi ya Misiri, kubanga tebaagondera ddoboozi lya Yakuwa, era baatuuka n’e Tapanesi.+
8 Awo Yakuwa n’ayogera ne Yeremiya ng’ali mu Tapanesi n’amugamba nti: 9 “Ddira amayinja abiri amanene ogakweke mu matoffaali g’olubalaza awayingirirwa mu nnyumba ya Falaawo mu Tapanesi, ng’abasajja Abayudaaya balaba. 10 Ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri bw’agamba: “Laba ntumya Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni omuweereza wange,+ era nja kuteeka entebe ye ey’obwakabaka ku mayinja gano ge nkwese, era ajja kusimba weema ye ey’obwakabaka ebikke ku mayinja gano.+ 11 Ajja kugenda alumbe ensi ya Misiri.+ Ow’okufa endwadde ez’amaanyi ajja kufa endwadde ez’amaanyi, ow’okuwambibwa ajja kuwambibwa, ow’okufa ekitala ajja kufa kitala.+ 12 Nja kukuma omuliro ku nnyumba* za bakatonda b’e Misiri,+ era ajja kuzookya abatwale mu buwambe. Ajja kwambala ensi ya Misiri ng’omusumba bw’ayambala ekyambalo kye, era ajja kuvaayo mirembe.* 13 Ajja kumenyaamenya empagi z’e Besu-semesi* mu nsi ya Misiri, era ajja kwokya ennyumba* za bakatonda b’e Misiri omuliro.”’”