Omubuulizi
11 Suula omugaati gwo ku mazzi,+ kubanga oliddamu n’ogulaba nga wayiseewo ennaku nnyingi.+ 2 Ku by’olina gabirako abantu musanvu oba munaana,+ kubanga tomanyi katyabaga kanaagwaawo ku nsi.
3 Ebire bwe bijjula amazzi, bivaamu enkuba n’etonnya ku nsi; n’omuti bwe gugwa ku luuyi olw’ebukiikaddyo oba olw’ebukiikakkono, we gugwa we gusigala.
4 Atunuulira embuyaga talisiga, n’oyo atunuulira ebire talikungula.+
5 Nga bw’otomanyi ngeri mwoyo gye gukolera mu magumba g’omwana ali mu nda y’omukazi,*+ era bw’otyo bw’otomanyi mulimu gwa Katonda ow’amazima, akola ebintu byonna.+
6 Siga ensigo zo ku makya, era towummuza mukono gwo okutuusa akawungeezi,+ kubanga tomanyi zinaamera, oba zino oba ziri, era obanga zonna zinaamera.
7 Ekitangaala kisanyusa, era kiba kirungi amaaso okulaba omusana. 8 Omuntu bw’awangaala emyaka emingi, asaanidde agisanyukiremu gyonna.+ Naye akijjukire nti ennaku ez’obuyinike ziyinza okuba ennyingi; byonna ebinajja butaliimu.+
9 Muvubuka, sanyuka ng’okyali muto era omutima gwo gubeere musanyufu ng’okyali muvubuka. Tambulira mu makubo g’omutima gwo era genda amaaso go gye gakutwala; naye kimanye nti Katonda ow’amazima ajja kukusalira omusango olw’ebyo byonna.+ 10 N’olwekyo, omutima gwo guggyeemu ebintu ebikuteganya, era n’omubiri gwo guggyeemu ebintu eby’akabi, kubanga obuto n’obuvubuka butaliimu.+