1 Abakkolinso
2 Era bwe nnajja gye muli ab’oluganda, sajja kubawuniikiriza na bigambo+ oba na magezi nga nnangirira gye muli ekyama kya Katonda ekitukuvu.+ 2 Bwe nnali nammwe nnasalawo obutassa birowoozo byange ku kintu kirala kyonna okuggyako ku Yesu Kristo eyakomererwa.+ 3 Nnajja gye muli mu bunafu, mu kutya, ne mu kukankana okw’amaanyi; 4 mu bye nnayogeranga ne bye nnabuuliranga temwalimu bigambo bisendasenda eby’amagezi, wabula nnayolesa omwoyo gwa Katonda n’amaanyi ge,+ 5 okukkiriza kwammwe kuleme kwesigama ku magezi g’abantu wabula ku maanyi ga Katonda.
6 Kaakano twogera bya magezi eri abo abakuze mu by’omwoyo,+ naye si magezi ag’omu nsi eno,* oba ag’abafuzi b’ensi eno abagenda okuzikirira.+ 7 Wabula twogera ku magezi ga Katonda agali mu kyama ekitukuvu,+ amagezi agaakwekebwa, Katonda ge yateekateeka edda ng’ensi eno* embi tennabaawo, olw’okutuweesa ekitiibwa. 8 Amagezi gano tewali n’omu ku bafuzi b’ensi eno* eyagamanya,+ singa baagamanya tebandikomeredde Mukama waffe ow’ekitiibwa. 9 Naye nga bwe kyawandiikibwa: “Eriiso terirabye, n’okutu tekuwulidde, n’omutima gw’omuntu tegulowoozezza ku bintu Katonda by’ategekedde abo abamwagala.”+ 10 Ffe Katonda abitubikkulidde+ okuyitira mu mwoyo gwe,+ kubanga omwoyo gunoonyereza mu bintu byonna, ne mu bintu bya Katonda eby’ebuziba.+
11 Muntu ki amanyi ebintu by’omuntu okuggyako omwoyo gw’omuntu ogumulimu? Bwe kityo, tewali muntu n’omu amanyi bintu bya Katonda okuggyako omwoyo gwa Katonda. 12 Tetwaweebwa mwoyo gwa nsi wabula twaweebwa omwoyo oguva eri Katonda,+ tusobole okumanya ebintu Katonda by’atuwadde olw’ekisa kye. 13 Era ebintu bino tubyogera, si na bigambo ebyayigirizibwa mu magezi g’abantu,+ wabula n’ebyo ebyayigirizibwa omwoyo,+ nga tunnyonnyola* ebintu eby’omwoyo n’ebigambo eby’omwoyo.
14 Naye omuntu ow’omubiri takkiriza* bintu bya mwoyo gwa Katonda kubanga bya busirusiru gy’ali; era tasobola kubimanya kubanga bikeberebwa mu ngeri ya bya mwoyo. 15 Naye omuntu ow’eby’omwoyo akebera ebintu byonna+ kyokka ye kennyini takeberebwa muntu yenna. 16 “Ani ategedde endowooza ya Yakuwa* alyoke amuyigirize?”+ Naye ffe tulina endowooza ya Kristo.+