2 Abakkolinso
6 Nga tukolera wamu naye,+ naffe tubeegayirira mukkirize ekisa kya Katonda eky’ensusso naye muleme kwerabira kigendererwa kyakyo.+ 2 Kubanga agamba nti: “Mu kiseera eky’okukkiririzibwamu nnakuwulira, era nnakuyamba ku lunaku olw’obulokozi.”+ Laba! Kino kye kiseera eky’okukkiririzibwamu. Laba! Luno lwe lunaku olw’obulokozi.
3 Tetwagala kukola kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okuvumirirwa;+ 4 naye mu byonna tukiraga nti tuli baweereza ba Katonda,+ mu kugumiikiriza okungi, mu kubonaabona, mu kuba mu bwetaavu, mu bizibu,+ 5 mu kukubibwa, mu kusibibwa mu kkomera,+ mu bwegugungo, mu kukola ennyo, mu buteebaka kiro, mu butaba na mmere;+ 6 mu bulongoofu, mu kumanya, mu kuba abagumiikiriza,+ mu kulaga ekisa,+ mu kuba n’omwoyo omutukuvu, mu kulaga okwagala okutaliimu bukuusa,+ 7 mu kwogera amazima, mu maanyi ga Katonda;+ nga tulina eby’okulwanyisa eby’obutuukirivu+ mu mukono ogwa ddyo* n’ogwa kkono,* 8 mu kuweebwa ekitiibwa ne mu kunyoomebwa, mu kwogerwako obubi ne mu kwogerwako obulungi. Tutwalibwa ng’abalimba kyokka nga tuli ba mazima, 9 ng’abatamanyiddwa so ng’ate tumanyiddwa bulungi, ng’abafa* so ng’ate, laba! tuli balamu,+ ng’ababonerezebwa* kyokka nga tetuttibwa,+ 10 ng’abalina ennaku kyokka nga tusanyuka bulijjo, ng’abaavu kyokka nga tugaggawaza bangi, ng’abatalina kintu kyokka nga tulina ebintu byonna.+
11 Twogedde kaati gye muli,* mmwe Abakkolinso; emitima gyaffe gigaziye. 12 Okwagala kwaffe gye muli tekufunze,+ naye mmwe mufunze mu kwagala kwammwe. 13 N’olwekyo mukole kye kimu gye tuli—njogera nammwe ng’ayogera n’abaana—nammwe mugaziwe mu mitima gyammwe.+
14 Temwegattanga wamu na batali bakkiriza.*+ Obutuukirivu n’obujeemu bissa bitya ekimu?+ Oba ekitangaala n’ekizikiza bitabagana bitya?+ 15 Ate era, Kristo ne Beriyali*+ bassa batya ekimu? Oba omukkiriza* atabagana atya n’atali mukkiriza?+ 16 Era yeekaalu ya Katonda etabagana etya n’ebifaananyi?+ Kubanga tuli yeekaalu ya Katonda omulamu;+ nga Katonda bwe yagamba nti: “Nnaabeeranga mu bo,+ ne ntambuliranga mu bo, era nnaabeeranga Katonda waabwe nabo banaabeeranga bantu bange.”+ 17 “‘Kale muve wakati mu bo, era mubeeyawuleko,’ Yakuwa* bw’agamba, ‘era mulekere awo okukwata ku kitali kirongoofu’”;+ “‘nange nnaabasembeza.’”+ 18 “‘Nnaabeera kitammwe,+ era nammwe munaabeera baana bange ab’obulenzi n’ab’obuwala,’+ Yakuwa* Omuyinza w’Ebintu Byonna bw’agamba.”