Okuva
25 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 2 “Gamba abantu ba Isirayiri baterekewo bye banampa; buli muntu omutima gwe gwe gukubiriza okuwaayo, mumuggyeeko ky’anaaba ampadde.+ 3 Bino bye bintu bye bajja okuwaayo bye banaabakwasa: zzaabu,+ ffeeza,+ ekikomo,+ 4 wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, wuzi ennungi eza kitaani, ebyoya by’embuzi, 5 amaliba g’endiga ennume amannyike mu langi emmyufu, amaliba amagonvu,* embaawo z’omuti gwa sita,+ 6 amafuta ag’okussa mu ttaala,+ basamu ow’okukolamu amafuta amatukuvu+ n’ow’obubaani obw’akaloosa,+ 7 amayinja ga sokamu, n’amayinja amalala ag’okuteeka ku efodi+ ne ku ky’omu kifuba.+ 8 Bajja kunkolera ekifo ekitukuvu, kubanga nja kubeera mu bo.+ 9 Mujja kukola ekifo ekitukuvu n’ebintu byamu byonna nga mugobererera ddala pulaani gye nkulaga.+
10 “Bajja kukola essanduuko mu mbaawo z’omuti gwa sita; obuwanvu ejja kuba emikono* ebiri n’ekitundu, obugazi ejja kuba omukono gumu n’ekitundu, ate obugulumivu ejja kuba omukono gumu n’ekitundu.+ 11 Ojja kugibikkako zzaabu omulongoofu+ munda ne kungulu, era ojja kugissaako omuge ogwa zzaabu.+ 12 Ojja kugikolera empeta nnya eza zzaabu oziteeke waggulu w’amagulu gaayo ana, ng’ebbiri ziri ku ludda olumu ate ng’endala ebbiri ziri ku ludda olulala. 13 Era ojja kukola emisituliro mu mbaawo z’omuti gwa sita ogibikkeko zzaabu.+ 14 Ojja kuyingiza emisituliro mu mpeta eziri ku Ssanduuko eruuyi n’eruuyi, gikozesebwenga okusitula Essanduuko. 15 Emisituliro gya kusigalanga mu mpeta z’Essanduuko; tegiggibwangamu.+ 16 Ojja kuteeka mu Ssanduuko ebipande by’amayinja bye nnaakuwa ebiwandiikiddwako Obujulirwa.+
17 “Ojja kukola eky’okubikkako ekya zzaabu omulongoofu; obuwanvu kijja kuba emikono ebiri n’ekitundu, ate obugazi kijja kuba omukono gumu n’ekitundu.+ 18 Ojja kuweesa bakerubi babiri mu zzaabu ng’okozesa ennyondo obateeke ku njuyi zombi ez’eky’okubikkako.+ 19 Ojja kukola bakerubi obateeke ku njuyi zombi ez’eky’okubikkako, kerubi omu ku ludda olumu ate omulala ku ludda olulala. 20 Bakerubi bajja kuba banjuluzza waggulu ebiwaawaatiro byabwe ebibiri, nga basiikirizza eky’okubikkako n’ebiwaawaatiro byabwe+ era nga batunuuliganye. Obwenyi bwa bakerubi bujja kuba butunudde ku ky’okubikkako. 21 Eky’okubikkako+ ojja kukiteeka waggulu ku Ssanduuko, era mu Ssanduuko ojja kuteekamu ebipande by’amayinja bye nnawandiikako Obujulirwa. 22 Awo we nnaakulabikiranga ne njogera naawe nga nsinziira waggulu w’eky’okubikkako,+ wakati wa bakerubi ababiri abali ku ssanduuko ey’Obujulirwa, ne nkutegeeza byonna bye nnaakulagira okugamba Abayisirayiri.
23 “Era ojja kukola emmeeza+ mu mbaawo z’omuti gwa sita; obuwanvu ejja kuba emikono ebiri, obugazi ejja kuba omukono gumu, ate obugulumivu ejja kuba omukono gumu n’ekitundu.+ 24 Ojja kugibikkako zzaabu omulongoofu, era ojja kugissaako omuge ogwa zzaabu. 25 Ojja kukola omugo gwayo, ng’obugazi bwagwo bwenkana ekibatu,* era ogisseeko omuge ogwa zzaabu. 26 Ojja kugikolera empeta nnya eza zzaabu oziteeke ku nsonda ennya amagulu we gakwataganira n’emmeeza. 27 Empeta ezo zijja kubeera kumpi n’omugo okuwanirira emisituliro egy’okusituza emmeeza. 28 Ojja kukola emisituliro mu mbaawo z’omuti gwa sita ogibikkeko zzaabu, gikozesebwenga okusitula emmeeza.
29 “Era ojja kukola ebibya byayo, ebikopo byayo, n’ensumbi zaayo n’ebbakuli zaayo, eby’okukozesa okufuka ebiweebwayo eby’eby’okunywa. Ojja kubikola mu zzaabu omulongoofu.+ 30 Ojja kuteekanga ku mmeeza emigaati egy’okulaga gibeerenga mu maaso gange bulijjo.+
31 “Ojja kukola ekikondo ky’ettaala+ ekya zzaabu omulongoofu. Ojja kukiweesa ng’okozesa ennyondo. Ojja kukikola ng’entobo yaakyo, n’enduli yaakyo, n’amatabi gaakyo, n’obukopo bwakyo, n’ebituttwa byakyo, n’ebimuli byakyo byonna biri wamu.+ 32 Kijja kubaako amatabi mukaaga mu mbiriizi zaakyo, amatabi asatu gajja kuva ku ludda lwakyo olumu ate amatabi amalala asatu gave ku ludda olulala. 33 Ku buli limu ku matabi asatu agali ku ludda olumu olw’ekikondo ky’ettaala kujja kubaako obukopo busatu obulinga ebimuli by’omuloozi, n’ebituttwa, n’ebimuli, nga byonna bigenda biddiriŋŋana, ne ku buli limu ku matabi asatu ag’oludda olulala kujja kubaako obukopo busatu obulinga ebimuli by’omuloozi, n’ebituttwa, n’ebimuli, nga byonna bigenda biddiriŋŋana. Amatabi gonna omukaaga agali ku kikondo ky’ettaala bwe gatyo bwe gajja okuba. 34 Ku nduli y’ekikondo ky’ettaala kujja kubaako obukopo buna obulinga ebimuli by’omuloozi, n’ebituttwa byakyo n’ebimuli byakyo nga bigenda biddiriŋŋana. 35 Wansi w’amatabi abiri agasooka agava ku nduli y’ekikondo ky’ettaala wajja kubaawo ekituttwa, ne wansi w’amatabi abiri agaddako wajja kubaawo ekituttwa, era ne wansi w’amatabi abiri agasembayo wajja kubaawo ekituttwa. Bwe kityo bwe kinaaba wansi w’amatabi gonna omukaaga agava ku nduli y’ekikondo ky’ettaala. 36 Ebituttwa n’amatabi n’ekikondo ky’ettaala kyonna bijja kuweesebwa n’ennyondo mu zzaabu omulongoofu+ nga byonna biri wamu. 37 Ojja kukikolera ettaala musanvu, era ettaala bwe zinaakoleezebwanga, zijja kumulisanga ekifo ekiri mu maaso gaakyo.+ 38 Magalo zaakyo n’eby’okuteekangamu evvu ly’entambi bijja kuba bya zzaabu omulongoofu.+ 39 Ekikondo ky’ettaala, awamu n’ebintu ebyo, ojja kubikola mu ttalanta* ya zzaabu omulongoofu. 40 Kakasa nti obikola ng’ogoberera pulaani ekulagiddwa ku lusozi.+