1 Abakkolinso
13 Bwe njogera mu nnimi z’abantu n’eza bamalayika naye nga sirina kwagala, mba nfuuse ng’ekide ekivuga oba ekitaasa ekisaala. 2 Era bwe mba n’ekirabo eky’okwogera obunnabbi, nga mmanyi ebyama ebitukuvu byonna, nga nnina okumanya kwonna,+ era nga nnina okukkiriza okunsobozesa okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba sirina kye ngasa.+ 3 Bwe mpaayo ebintu byange byonna okuliisa abalala,+ era bwe mpaayo omubiri gwange nsobole okwewaana, naye nga sirina kwagala,+ mba siganyulwa n’akamu.
4 Okwagala+ kugumiikiriza+ era kwa kisa.+ Okwagala tekukwatibwa buggya,+ tekwewaana, tekwegulumiza,+ 5 tekweyisa mu ngeri etesaana,+ tekwenoonyeza byakwo,+ tekunyiiga+ era tekusiba kiruyi.+ 6 Tekusanyukira bitali bya butuukirivu,+ naye kusanyukira wamu n’amazima. 7 Kugumira ebintu byonna,+ kukkiriza ebintu byonna,+ kusuubira ebintu byonna,+ kugumiikiriza ebintu byonna.+
8 Okwagala tekulemererwa. Wadde nga waliwo ebirabo eby’okwogera obunnabbi, bijja kukoma; wadde nga waliwo ennimi,* zijja kukoma; wadde nga waliwo okumanya, kujja kukoma. 9 Kubanga tulina okumanya kwa kitundu+ era twogera obunnabbi bwa kitundu, 10 naye ekijjuvu bwe kinajja, eky’ekitundu kijja kuvaawo. 11 Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng’omuto, nnalowoozanga ng’omuto, nnategeeranga ng’omuto; naye olw’okuba kaakano nkuze, ndeseeyo engeri ez’ekito. 12 Mu kiseera kino tutunula mu ndabirwamu ey’ekyuma etalaba bulungi, naye mu kiseera ekijja tujja kuba tulaba bulungi.* Mu kiseera kino mmanyiiko kitundu, naye gye bujja nja kumanya byonna nga nange Katonda bw’ammanyi obulungi. 13 Naye kaakano bino ebisatu bye bisigaddewo: okukkiriza, okusuubira, n’okwagala; naye ku bino, okwagala kwe kusinga.+