Tito
2 Naye ggwe, weeyongere okwogera ebintu ebikwatagana n’okuyigiriza okw’omuganyulo.+ 2 Abasajja abakadde babeerenga n’empisa ezisaana, babeerenga ba buvunaanyizibwa, abalina endowooza ennuŋŋamu, abanywevu mu kukkiriza,* mu kwagala, ne mu kugumiikiriza. 3 Mu ngeri y’emu, abakazi abakulu beeyisenga nga bwe kigwanira abatukuvu, nga tebawaayiriza oba okufugibwa omwenge omungi, naye nga bayigiriza ebirungi; 4 basobole okukubiriza* abakazi abato okwagalanga abaami baabwe, okwagalanga abaana baabwe, 5 okubeera n’endowooza ennuŋŋamu, okubeera abalongoofu, okukolanga emirimu gy’awaka,* okubeeranga abantu abalungi, n’okugonderanga abaami baabwe,+ ekigambo kya Katonda kireme okwogerwako obubi.
6 N’abavubuka bakubirizenga okuba n’endowooza ennuŋŋamu,+ 7 ng’ossaawo ekyokulabirako ekirungi mu kukola ebikolwa ebirungi mu buli kintu. Yigirizanga ebintu ebirongoofu ng’oli mumalirivu,+ 8 ng’okozesa ebigambo ebisaana* ebitayinza kuvumirirwa,+ kiviireko abo abatuwakanya okuswala, olw’obutaba na kibi kya kutwogerako.+ 9 Abaddu bagonderenga bakama baabwe mu bintu byonna,+ era babasanyusenga, nga tebabaanukula bubi, 10 nga tebababba,+ naye nga baba beesigwa mu byonna, balyoke balungiyenga okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda mu bintu byonna.+
11 Kubanga ekisa kya Katonda eky’ensusso ekireetera abantu aba buli ngeri obulokozi kyoleseddwa.+ 12 Kituyigiriza okwewala obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi,+ era n’okubeeranga n’endowooza ennuŋŋamu, n’obutuukirivu, n’okwemalira ku Katonda mu nteekateeka y’ebintu eno,*+ 13 nga tulindirira essuubi ery’ekitalo,+ n’okulabisibwa okw’ekitiibwa okwa Katonda omukulu, n’okw’Omulokozi waffe Yesu Kristo, 14 eyeewaayo ku lwaffe+ asobole okutununula+ mu bujeemu obwa buli ngeri n’okutulongoosa tubeere abantu be, ekintu kye ekiganzi, abanyiikirira ebikolwa ebirungi.+
15 Weeyongere okwogeranga ebintu bino, kubirizanga, era nenyanga n’obuyinza bwonna.+ Omuntu yenna takunyoomanga.