Okubikkulirwa
4 Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba era laba! oluggi olugguddwawo mu ggulu, era eddoboozi lye nnasooka okuwulira lyali livuga ng’ekkondeere, ne liŋŋamba nti: “Jjangu wano, era nja kukulaga ebintu ebiteekwa okubaawo.” 2 Amangu ago omwoyo gwa Katonda ne gumbeerako: era laba! entebe y’obwakabaka yali mu kifo kyayo mu ggulu, era waliwo eyali agituddeko.+ 3 Eyali agituddeko yali afaanana ng’ejjinja lya yasepi n’ejjinja lya sadiyo,*+ era entebe ye yali yeetooloddwa musoke afaanana ng’ejjinja eriyitibwa zumaliidi.+
4 Era okwetooloola entebe y’obwakabaka eyo waaliwo entebe z’obwakabaka 24; ku ntebe ezo kwali kutuddeko abakadde 24+ nga bambadde ebyambalo ebyeru era nga ku mitwe gyabwe kuliko engule eza zzaabu. 5 Mu ntebe ey’obwakabaka mwali muvaamu okumyansa+ n’amaloboozi n’okubwatuka;+ era waaliwo ettaala musanvu ez’omuliro nga zaakira mu maaso g’entebe, era ettaala ezo zitegeeza emyoyo gya Katonda omusanvu.+ 6 Mu maaso g’entebe waaliwo ennyanja eringa endabirwamu+ era eringa ejjinja erimasamasa.
Era wakati w’entebe y’obwakabaka n’okugyetooloola waaliwo ebiramu bina+ nga bijjudde amaaso mu maaso n’emabega. 7 Ekiramu ekisooka kyali kifaanana ng’empologoma,+ eky’okubiri nga kifaanana ng’ente ento ennume,+ eky’okusatu+ kyalina obwenyi obulinga obw’omuntu, eky’okuna+ kyalinga empungu ebuuka.+ 8 Buli kimu ku biramu ebyo ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga; byali bijjudde amaaso ku njuyi zonna ne munda.+ Era emisana n’ekiro awatali kuwummula nga bigamba nti: “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Yakuwa*+ Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, eyaliwo, aliwo, era agenda okujja.”+
9 Buli ebiramu ebyo lwe byawanga ekitiibwa n’ettendo Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka abeerawo emirembe n’emirembe+ era ne bimwebaza, 10 ng’abakadde 24+ bavunnama mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka era nga basinza Oyo abeerawo emirembe n’emirembe, ate era nga basuula engule zaabwe mu maaso g’entebe, nga bagamba nti: 11 “Yakuwa,* Katonda waffe ow’amaanyi,+ ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa+ n’ettendo,+ kubanga watonda ebintu byonna,+ era olw’okusiima kwo byabaawo era byatondebwa.”