2 Samwiri
7 Kabaka bwe yali ng’akkalidde mu nnyumba ye*+ nga Yakuwa amuwadde ekiwummulo, nga takyatawaanyizibwa balabe be bonna abaali bamwetoolodde, 2 kabaka n’agamba nnabbi Nasani+ nti: “Laba, nze nsula mu nnyumba ya miti gya ntolokyo+ naye Essanduuko ya Katonda ow’amazima eri mu weema.”+ 3 Nasani n’agamba kabaka nti: “Genda okole kyonna ekiri mu mutima gwo, kubanga Yakuwa ali naawe.”+
4 Ekiro ekyo Yakuwa n’agamba Nasani nti: 5 “Genda ogambe omuweereza wange Dawudi nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Osaanidde ggwe okunzimbira ennyumba ey’okubeeramu?+ 6 Sibeerangako mu nnyumba okuva ku lunaku lwe nnaggya abantu ba Isirayiri e Misiri n’okutuusa leero,+ naye mbaddenga ntambulira mu weema.+ 7 Ekiseera kyonna kye mmaze nga ntambula ne Isirayiri* yonna, waliwo omu ku bakulu b’ebika bya Isirayiri gwe nnalonda okulunda abantu bange, gwe nnali ŋŋambye nti, ‘Lwaki temunzimbidde nnyumba ey’emiti gy’entolokyo?’”’ 8 Kale nno gamba omuweereza wange Dawudi nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Nnakuggya ku ttale, olekere awo okulunda endiga+ ofuuke omukulembeze w’abantu bange Isirayiri.+ 9 Nja kubeeranga naawe buli gy’onoogendanga,+ era nja kuzikiriza abalabe bo bonna bave mu maaso go.+ Ate era erinnya lyo nja kulifuula kkulu,+ era ojja kuba omu ku bantu abamanyifu ennyo mu nsi. 10 Nja kulondera abantu bange Isirayiri ekifo mbateeke omwo, era bajja kubeeranga omwo. Tebajja kuddamu kutawaanyizibwa, era abantu ababi tebajja kuddamu kubabonyaabonya nga bwe baakolanga edda,+ 11 okuva ku lunaku lwe nnassaawo abalamuzi+ okukulembera abantu bange Isirayiri. Nja kukuwa ekiwummulo oleme kutawaanyizibwa balabe bo bonna.+
“‘“Ate era Yakuwa akugambye nti Yakuwa ajja kukuzimbira ennyumba.*+ 12 Bw’olifa+ n’ogalamizibwa wamu ne bajjajjaabo, ndissaawo ezzadde lyo eririkuddirira, omwana wo kennyini,* era ndinyweza obwakabaka bwe.+ 13 Oyo y’alizimbira erinnya lyange ennyumba,+ era ndinyweza entebe y’obwakabaka bwe emirembe n’emirembe.+ 14 Ndiba kitaawe, era naye aliba mwana wange.+ Bw’alisobya, ndimukangavvula n’omuggo gw’abantu era n’embooko z’abaana b’abantu.*+ 15 Okwagala kwange okutajjulukuka tekulimuggibwako nga bwe nnakuggya ku Sawulo,+ gwe nnaggya mu maaso go. 16 Ennyumba yo n’obwakabaka bwo biriba binywevu emirembe n’emirembe mu maaso go; era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe.”’”+
17 Awo Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo ebyo byonna n’okwolesebwa okwo kwonna.+
18 Awo Kabaka Dawudi n’ayingira n’atuula mu maaso ga Yakuwa n’agamba nti: “Nze ani, Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna? Era ennyumba yange kye ki ggwe okunkolera bino byonna?+ 19 Tokomye ku ekyo, Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, naye oyogedde ne ku nnyumba y’omuweereza wo bw’eneeba ne mu biseera eby’omu maaso eyo; era kino kiragiro* ekiweereddwa abantu bonna, Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna. 20 Kiki ekirala omuweereza wo Dawudi ky’ayinza okukugamba, ng’ate ommanyi bulungi,+ Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna? 21 Ku lw’ekigambo kyo, era nga bw’osiimye, okoze ebintu bino byonna eby’ekitalo, era n’obimanyisa omuweereza wo.+ 22 Eyo ye nsonga lwaki ogulumizibwa nnyo,+ Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna. Tewali alinga ggwe,+ era teri Katonda okuggyako ggwe;+ ebyo byonna bye tuwulidde n’amatu gaffe bikikakasa kino. 23 Ggwanga ki eddala ku nsi eriringa abantu bo Isirayiri?+ Wagenda n’obanunula n’obafuula abantu bo,+ ne weekolera erinnya+ ng’obakolera ebintu eby’ekitalo era eby’entiisa.+ Wagoba amawanga ne bakatonda baago ku lw’abantu bo be weenunulira okuva e Misiri. 24 Abayisirayiri wabafuula bantu bo emirembe n’emirembe,+ era ggwe, Ai Yakuwa, ofuuse Katonda waabwe.+
25 “Kaakano Ai Yakuwa Katonda, ky’osuubizza omuweereza wo n’ennyumba ye kituukirize emirembe n’emirembe, era okole nga bw’osuubizza.+ 26 Erinnya lyo ka ligulumizibwe emirembe n’emirembe,+ abantu balyoke bagambe nti, ‘Yakuwa ow’eggye ye Katonda wa Isirayiri,’ era ennyumba ya Dawudi omuweereza wo k’enywezebwe mu maaso go.+ 27 Kubanga ggwe Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri, olina ky’obikkulidde omuweereza wo, bw’ogambye nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba.’*+ Eyo ye nsonga lwaki omuweereza wo afunye obuvumu* okusaba essaala eno. 28 Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ggwe Katonda ow’amazima, era ebigambo byo bya mazima,+ era osuubizza omuweereza wo ebintu bino ebirungi. 29 N’olwekyo wa ennyumba y’omuweereza wo omukisa, era k’ebeerewo emirembe n’emirembe mu maaso go;+ kubanga ggwe, Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, osuubizza era olw’omukisa gwo ennyumba y’omuweereza wo k’ebeere n’omukisa emirembe n’emirembe.”+