Tito
1 Nze Pawulo, omuddu wa Katonda era omutume wa Yesu Kristo, alina okukkiriza ng’okw’abalonde ba Katonda, n’okumanya okutuufu okw’amazima agakwataganyizibwa n’okwemalira ku Katonda 2 era ageesigamye ku ssuubi ery’obulamu obutaggwaawo,+ Katonda atayinza kulimba+ bwe yasuubiza edda ennyo; 3 naye mu kiseera kye ekigereke yamanyisa ekigambo kye okuyitira mu kubuulira kwe nnakwasibwa,+ ng’ekiragiro ky’Omulokozi waffe Katonda bwe kiri; 4 mpandiikira Tito, omwana wange ddala alina okukkiriza ffenna kwe tulina:
Ekisa eky’ensusso n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omulokozi waffe ka bibeere naawe.
5 Nnakuleka mu Kuleete osobole okutereeza ebintu ebitaatereera,* era osobole okulonda abakadde mu buli kibuga nga bwe nnakulagira: 6 omukadde ateekwa okuba omusajja* ataliiko kya kunenyezebwa, ng’alina omukazi omu, ng’alina abaana abali mu kukkiriza, abatayogerwako ng’ab’empisa embi oba ng’abajeemu.+ 7 Ng’omuwanika wa Katonda, omulabirizi ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga teyeefaako yekka,+ nga tasunguwala mangu,+ nga si mutamiivu, nga talwana,* nga talulunkana kufuna bintu mu makubo makyamu; 8 naye alina okuba ng’asembeza abagenyi,+ ng’ayagala ebirungi, ng’alina endowooza ennuŋŋamu,*+ nga mutuukirivu, nga mwesigwa,+ nga yeefuga,+ 9 ng’anywerera ku kigambo ekyesigwa* bw’aba ayigiriza,+ asobole okuzzaamu abalala amaanyi* ng’abayigiriza ebintu eby’omuganyulo,+ n’okunenya+ abo ababiwakanya.
10 Kubanga waliwo abantu bangi abajeemu, aboogera ebitaliimu nsa, abalimba, naddala abo abanywerera ku kukomolebwa.+ 11 Kyetaagisa okubasirisa, kubanga abantu abo boonoona amaka nga bayigiriza ebintu bye batasaanidde kuyigiriza, olw’okwagala okwefunira ebintu mu makubo amakyamu. 12 Omu ku bo, nnabbi waabwe, yagamba nti: “Abakuleete bulijjo balimba, nsolo ez’omu nsiko enkambwe, baluvu abatalina bye bakola.”
13 Ebigambo ebyo bituufu. N’olw’ensonga eyo banenyenga nnyo, basobole okuba abalamu obulungi mu kukkiriza, 14 balemenga okussaayo omwoyo ku nfumo z’Ekiyudaaya ez’obulimba, n’amateeka g’abantu abaleka amazima. 15 Ebintu byonna birongoofu eri abantu abalongoofu.+ Naye eri abantu abatali balongoofu era abatalina kukkiriza tewali kirongoofu, era ebirowoozo byabwe n’omuntu waabwe ow’omunda si birongoofu.+ 16 Baatula mu lujjudde nti bamanyi Katonda, naye bamwegaana mu bikolwa byabwe,+ kubanga babi nnyo era bajeemu era tebasaanira mulimu mulungi gwa ngeri yonna.