Okugondera Omuntu Wo ow’Omunda
“Ebintu byonna birongoofu eri abantu abalongoofu. Naye eri abantu abatali balongoofu era abatalina kukkiriza tewali kirongoofu.”—TITO 1:15, NW.
1. Pawulo yeenyigira atya mu kuyamba ebibiina by’e Kuleete?
OLUVANNYUMA lw’omutume Pawulo okumaliriza eŋŋendo ze ez’obuminsani essatu, yakwatibwa era n’atwalibwa e Rooma gye baamusibira okumala emyaka ebiri. Kiki kye yakola bwe yateebwa? Nga wayiseewo ekiseera, Pawulo yakyala ne Tito ku kizinga ky’e Kuleete, era oluvannyuma yamuwandiikira nti: “Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke olongoosenga ebyasigalira, era oteekenga abakadde mu buli kibuga.” (Tito 1:5) Abamu ku bantu Tito be yali agenda okukoleramu omulimu guno baalina omuntu ow’omunda atakola bulungi.
2. Kizibu ki Tito kye yalina okwolekagana nakyo ku kizinga ky’e Kuleete?
2 Pawulo yabuulira Tito ebisaanyizo by’abakadde mu kibiina, era n’amugamba nti waaliyo “bangi abatagonda, aboogera ebitaliimu, era abalimba.” Bano baali “bavuunika ennyumba ennamba nga bayigiriza ebitabagwanidde.” Tito kyali kimwetaagisa ‘okubanenyanga n’amaanyi.’ (Tito 1:10-14, NW; 1 Timoseewo 4:7) Pawulo mu kugamba nti ebirowoozo byabwe n’omuntu waabwe ow’omunda ‘tebyali birongoofu’ yakozesa ekigambo ekirina amakulu ag’okwonoonebwa okufaananako ekyambalo ekirungi ekiguddemu amabala. (Tito 1:15, NW) Abamu ku basajja abo bayinza okuba nga baali Bayudaaya, kubanga baali ‘bakalambira ku ky’okukomola.’ Wadde ng’ebibiina leero tebiriimu bantu balina ndowooza ng’eyo, ebiri mu kubuulirira kwa Pawulo eri Tito birina bingi bye bituyigiriza ku muntu ow’omunda.
Abaalina Omuntu w’Omunda Eyayonooneka
3. Kiki Pawulo kye yawandiikira Tito ku bikwata ku muntu w’omunda?
3 Weetegereze embeera eyaleetera Pawulo okwogera ku muntu ow’omunda. “Ebintu byonna birongoofu eri abantu abalongoofu. Naye eri abantu abatali balongoofu era abatalina kukkiriza tewali kirongoofu, era ebirowoozo byabwe n’omuntu waabwe ow’omunda si birongoofu. Baatula mu lujjudde nti bamanyi Katonda, naye bamwegaana mu bikolwa byabwe.” Kyeyoleka bulungi nti abamu mu kiseera ekyo kyali kibeetaagisa okukola enkyukakyuka okusobola “okuba abalamu mu kukkiriza.” (Tito 1:13, 15, 16, NW) Baalina ekizibu ky’okwawulawo ekirongoofu n’ekitali kirongoofu, era nga kino kyali kizingiramu omuntu waabwe ow’omunda.
4, 5. Ndowooza ki enkyamu abamu mu bibiina gye baalina, era kino kyabakwatako kitya?
4 Emyaka egissuka mu kkumi emabega, akakiiko akafuzi ak’Abakristaayo kaali kaasalawo nti okukomolebwa kwali tekukyetaagisa omuntu okufuuka omusinza ow’amazima, era oluvannyuma ne baategeeza ebibiina ku nsonga eno. (Ebikolwa 15:1, 2, 19-29) Kyokka, abamu mu Kuleete baali ‘bakyakalambidde ku ky’okukomola.’ Baakyoleka lwatu nti tebakkiriziganya n’akakiiko akafuzi, “nga bayigiriza ebitabagwandidde.” (Tito 1:10, 11) Nga balina endowooza enkyamu, bayinza okuba nga baali bagamba nti Amateeka agakwata ku by’okulya n’obulombolombo bw’okwerongoosa gaalina okugobererwa. Bayinza n’okuba nga mu Mateeka baayongerangamu ebyabwe nga bajjajjaabwe abaaliwo mu kiseera kya Yesu bwe baakola, era nga bawuliriza enfumo ez’obulimba ez’Ekiyudaaya n’ebiragiro by’abantu.—Makko 7:2, 3, 5, 15; 1 Timoseewo 4:3.
5 Endowooza ng’eyo yayonoona obusobozi bwabwe obw’okusalawo ekituufu n’ekikyamu, omuntu waabwe ow’omunda. Pawulo yawandiika nti: “Eri abantu abatali balongoofu era abatalina kukkiriza tewali kirongoofu.” Omuntu waabwe ow’omunda yayonooneka nnyo ne kiba nti yali takyasobola kubawa bulagirizi bwesigika nga balina kye basalawo okukola. Ate era, baanenyanga Bakristaayo bannaabwe ku nsonga ezeetaagisa buli omu okwesalirawo yekka, Omukristaayo omu z’ayinza okusalawo mu ngeri eyawukana ku ya Mukristaayo munne. Bwe kityo, Abakuleete bano ekintu ekirongoofu baali bakitwala ng’ekitali kirongoofu. (Abaruumi 14:17; Abakkolosaayi 2:16) Wadde nga baali beetwala nti bamanyi Katonda, ebikolwa byabwe byali biraga kirala.—Tito 1:16.
“Birongoofu eri Abantu Abalongoofu”
6. Bantu ki ab’ebiti ebibiri Pawulo be yayogerako?
6 Tuyinza tutya okuganyulwa mu ebyo Pawulo bye yawandiikira Tito? Weetegereze enjawulo eriwo mu bigambo bino: “Ebintu byonna birongoofu eri abantu abalongoofu. Naye eri abantu abatali balongoofu era abatalina kukkiriza tewali kirongoofu.” (Tito 1:15, NW) Pawulo yali tategeeza nti eri Abakristaayo abalina empisa ennungi, buli kintu kiba kirongoofu era nga kikkirizibwa. Yakyoleka bulungi mu baluwa ye endala nti abo abeenyigira mu bukaba, okusinza ebifaananyi, obulogo, n’ebiringa ebyo “tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” (Abaggalatiya 5:19-21) N’olwekyo, tusobola okugamba nti Pawulo yali ayogera ku bantu ba biti bibiri, abo abayonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo, n’abo abatali.
7. Kiki Abaebbulaniya 13:4 kye luvumirira, naye bibuuzo ki ebiyinza okuggyawo?
7 Ebintu Omukristaayo ow’amazima by’alina okwewala tebikoma ku ebyo byokka Baibuli by’evumirira butereevu. Ng’ekyokulabirako, weetegereze ebigambo bino: “Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n’ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango.” (Abaebbulaniya 13:4) N’abantu abatali Bakristaayo n’abo abatalina kye bamanyi ku Baibuli bakiraba bulungi nti olunyiriri luno luvumirira obwenzi. Okusinziira ku lunyiriri luno n’endala eziri mu Baibuli, Katonda avumirira okwetaba wakati w’omusajja oba omukazi omufumbo n’omuntu atali munne mu bufumbo. Kiri kitya ate, singa omuntu atali mufumbo akomberera ebitundu by’omulala eby’ekyama? Abatiini bangi balowooza nti ekikolwa kino si kibi kubanga tekuba kwegatta. Omukristaayo ayinza okutwala okukomberera ebitundu by’omulala eby’ekyama ng’ekintu ekirongoofu?
8. Ku bikwata ku kukomberera ebitundu by’omulala eby’ekyama, Abakristaayo baawukana batya ku bantu bangi mu nsi?
8 Abaebbulaniya 13:4 ne 1 Abakkolinso 6:9 biraga bulungi nti Katonda avumirira obwenzi n’obukaba (Oluyonaani, por·neiʹa). Obukaba buzingiramu ki? Ekigambo ky’Oluyonaani kizingiramu okukozesa ebitundu by’ekyama mu ngeri y’obuzaaliranwa ey’obugwenyufu n’etali ya buzaaliranwa. Kizingiramu engeri zonna ez’okwetaba wabweru w’obufumbo obukkirizibwa mu Byawandiikibwa. Bwe kityo kizingiramu n’okukomberera ebitundu by’omulala eby’ekyama, wadde ng’abavubuka bangi okwetooloola ensi bagambiddwa oba bakitwala nti si kibi. Abakristaayo ab’amazima tebagoberera ndowooza z’abo “aboogera ebitaliimu, abalimba.” (Tito 1:10) Banywerera ku mitindo egya waggulu egiri mu Byawandiikibwa Ebitukuvu. Mu kifo ky’okugamba nti si kikyamu okukomberera ebitundu by’omulala eby’ekyama, bakitegeera nti okusinziira ku Byawandiikibwa obwo buba bukaba, por·neiʹa, era batendeka omuntu waabwe ow’omunda obutakkiriza kikolwa kino.a—Ebikolwa 21:25; 1 Abakkolinso 6:18; Abaefeso 5:3.
Omuntu w’Omunda wa Njawulo, Okusalawo kwa Njawulo
9. Bwe kiba nti “byonna birongoofu,” kati olwo omuntu w’omunda akola mulimu ki?
9 Naye Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba nti “eri abalongoofu byonna birongoofu”? Pawulo yali ayogera ku Bakristaayo abaali batuukanyizza endowooza n’empisa zaabwe n’emitindo gya Katonda egiri mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa. Abakristaayo ng’abo bakimanyi nti ku nsonga Katonda z’atavumirira butereevu, buli mukkiriza asobola okwesalirawo ku lulwe. Mu kifo ky’okunenya abalala, bakimanyi nti ebintu “ebirongoofu” byebyo Katonda by’atavumirira. Tebasuubira nti abalala bajja kulowooza mu ngeri y’emu nga bo ku nsonga ezimu Baibuli z’etawaako bulagirizi butereevu. Ka tulabe engeri kino gye kiyinza okubaawo.
10. Omukolo gw’okugatta abagole (oba ogw’okuziika) guyinza kuleetawo kizibu ki?
10 Waliwo amaka mangi omuli abafumbo ng’omu ku bo Mukristaayo ng’omulala tali. (1 Peetero 3:1; 4:3) Kino kiyinza okuleetawo obuzibu obutali bumu, singa wabaawo embaga oba singa omu ku b’eŋŋanda zaabwe afa. Lowooza ku mukyala Omukristaayo alina bba atali mukkiriza. Omu ku b’eŋŋanda za bba agenda kugattibwa, era ng’omukolo gwa kubeera mu ssinzizo erimu erya Kristendomu. (Oba ow’eŋŋanda zaabwe, ka tugambe muzadde waabwe y’afudde, era ng’omukolo gw’okuziika gujja kutandikira mu kkanisa.) Abafumbo bombi bayitiddwa ku mukolo ogwo era nga bba ayagala bagende bombi. Omuntu we ow’omunda amugamba ki ku ky’okugenda ku mukolo ogwo? Omukyala oyo anaakola ki? Lowooza ku mbeera zino ebbiri wammanga.
11. Nnyonnyola ebyo omukazi Omukristaayo by’ayinza okulowoozaako obanga anaagenda ku mukolo gw’okugatta abagole mu kkanisa oba nedda, era asalawo ki?
11 Lois afumiitiriza ku kiragiro kya Baibuli nti, ‘Mufulume mu Babulooni Ekinene,’ amadiini g’obulimba mu nsi yonna. (Okubikkulirwa 18:2, 4) Yaliko omusinza mu kkanisa eyo abagole gye bagenda okugattirwa era ng’akimanyi nti abo bonna abanaabaayo bajja kusabibwa okwenyigira mu bikolwa ebitali bimu eby’eddiini, gamba ng’okusaba, okuyimba, n’ebirala. Amaliridde obutabyenyigiramu era nga tayagala na kubeerayo kubanga kino kiyinza okumuleetera okwekkiriranya n’amenya obugolokofu bwe. Lois awa bba ekitiibwa era ayagala okukolagana obulungi naye kubanga okusinziira ku Byawandiikibwa bba gwe mutwe gw’amaka; kyokka, tayagala kumenya misingi gya mu Byawandiikibwa. (Ebikolwa 5:29) Bwe kityo, mu ngeri ey’amagezi amunnyonnyola nti ye bba ne bw’anaasalawo okugenda, ye tajja kugenda. Ayinza okugezaako okumunnyonnyola nti bw’anaagenda naye ate n’atenyigira mu bikolwa ebimu, kiyinza okuswaza bba. Akiraba nti kiba nti kirungi n’atagenda naye. Asigala n’omuntu ow’omunda omulungi bw’asalawo bw’atyo.
12. Omuntu ayinza atya okusalawo singa aba ayitiddwa okubaawo ku mukolo gw’okugatta abagole mu kkanisa?
12 Ruth ayolekagana n’embeera y’emu. Awa bba ekitiibwa, mumalirivu okunywerera ku Katonda, era agondera omuntu we ow’omunda atendekeddwa Baibuli. Oluvannyuma lw’okulowooza ku nsonga ze zimu Lois ze yalowoozaako, Ruth asaba era n’asoma ebiri mu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 1, 2002. Ajjukira Abaebbulaniya abasatu abaagondera ekiragiro eky’okugenda mu kifo awaali wagenda okuba omukolo ogw’okusinza ekifaananyi, kyokka ne bakuuma obugolokofu bwabwe nga tebeenyigidde mu kusinza okwo. (Danyeri 3:15-18) Asalawo okuwerekera bba naye n’atenyigira mu kikolwa kyonna eky’eddiini, era omuntu we ow’omunda tamulumiriza. Mu ngeri ey’amagezi annyonnyola bulungi bba ekyo omuntu we ow’omunda ky’ajja okumukkiriza okukola n’ekyo ky’atajja kumukkiriza kukola. Ruth asuubira nti bba anaalaba enjawulo eriwo wakati w’okusinza okw’amazima n’okw’obulimba.—Ebikolwa 24:16.
13. Lwaki si kikyamu Abakristaayo babiri okusalawo mu ngeri ez’enjawulo?
13 Eky’okuba nti Abakristaayo babiri bayinza okusalawo mu ngeri za njawulo kiraga nti buli muntu wa ddembe okusalawo nga bw’ayagala oba nti omu ku bo alina omuntu ow’omunda omunafu? Nedda. Olw’okuba Lois amanyi ebibeera mu kkanisa, gamba ng’enyimba n’ebirala ebibaawo mu kusinza, ayinza okukiraba nti okubeerawo ku mukolo ogwo kiyinza okuba eky’akabi gy’ali. Ate era bw’ajjukira engeri bba gye yamukakanga okwenyigira mu bulombolombo bw’eddiini nga bagenze bombi mu kkanisa, awulira nti kiyinza okukosa omuntu we ow’omunda. Bw’atyo mukakafu nti ky’asazeewo kye kisinza obulungi gy’ali.
14. Kiki Abakristaayo kye basaanidde okujjukira bwe kituuka ku nsonga ezeetaagisa buli muntu okwesalirawo?
14 Kati olwo Ruth yasalawo bubi? Abalala tebasaanidde kumunenya oba okumuvumirira olw’okusalawo okugenda ku mukolo ogwo wadde nga teyenyigira mu bulombolombo bwa ddiini. Jjukira ebigambo bya Pawulo ebikwata ku ngeri buli omu gy’ayinza okusalawo okulya oba obutalya ebika bye mmere ebimu: “Alya tanyoomanga atalya; era atalya tasaliranga musango alya . . . eri mukama we yekka ayimirira oba agwa. Naye aliyimirira; kubanga Mukama waffe ayinza okumuyimiriza.” (Abaruumi 14:3, 4) Kya lwatu, teri Mukristaayo wa mazima eyandikubirizza munne obutawuliriza muntu we ow’omunda atendekeddwa, kubanga okukola ekyo kiba ng’okugaana okuwuliriza eddoboozi eririmu obubaka obuwonya obulamu.
15. Lwaki enneewulira z’abalala n’omuntu waabwe ow’omunda birina okulowoozebwako ennyo?
15 Nga tweyongera okwetegereza embeera eno, Abakristaayo abo bombi basaanidde okulowooza ku nsonga endala, ng’emu ku zo y’engeri abantu abalala gye bayinza okukwatibwako. Pawulo atubuulirira nti: “Musale omusango guno, obutaleeteranga wa luganda ekyesittaza oba nkonge.” (Abaruumi 14:13) Lois ayinza okuba ng’amanyi nti embeera ng’ezo waliwo lwe zaaleetera abamu mu kibiina oba ab’omu maka ge okwesittala, era nti ky’anaakola kiyinza okubaako kye kikola ku baana be. Kyokka ate ye Ruth ayinza okuba ng’amanyi nti waliwo abamu abaasalawo mu ngeri y’emu nga ye, naye ne batabaako mu muntu yenna gwe beesittaza mu kibiina oba mu kitundu kyabwe. Abakazi bano bombi, naffe ffenna tusaanidde okwetegereza nti omuntu ow’omunda atendekeddwa afaayo ku ngeri abalala gye bayinza okukwatibwako. Yesu yagamba nti: “Naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiriza, waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw’ennyanja.” (Matayo 18:6) Singa omuntu tafaayo kulaba nti by’akola biyinza okwesitazza abalala, omuntu we ow’omunda mpola mpola ayinza okwonooneka okufaananako ow’Abakristaayo abamu ab’omu Kuleete.
16. Nkyukakyuka ki ze tuyinza okusuubira Omukristaayo okukola ekiseera bwe kigenda kiyitawo?
16 Omukristaayo asaanidde okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo, era n’okwongera okuwuliriza n’okugondera omuntu we ow’omunda. Ka tulowooze ku Mark, eyaakabatizibwa gye buvuddeko awo. Omuntu we ow’omunda amugamba okwewala ebikolwa ebikontana n’ebyawandiikibwa bye yeenyigirangamu, oboolyawo nga bizingiramu okusinza ebifaananyi oba okukozesa obubi omusaayi. (Ebikolwa 21:25) Mu butuufu, yeegendereza nnyo obutakola ekintu kyonna ekyefaananyiriza ebyo Katonda by’akyawa. Ku luuyi olulala, yeewuunya lwaki abamu beewala ebintu by’alaba nga si bibi, gamba ng’okulaba programu ezimu ez’oku ttivi.
17. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri ekiseera n’okulaakulana kw’Omukristaayo mu by’omwoyo gye birina kye bikola ku muntu we w’omunda ne by’asalawo.
17 Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, Mark yeeyongera okuyiga ebisingawo era enkolagana ye ne Katonda yeeyongera okunywera. (Abakkolosaayi 1:9, 10) Kiki ekivaamu? Omuntu we ow’omunda atendekebwa ekimala. Kati Mark afaayo nnyo okuwuliriza omuntu we ow’omunda n’okukolera ku misingi gy’omu Byawandiikibwa. Mu butuufu, akiraba nti ebimu ku bintu “ebyefaananyiriza” ebyo bye yali yeewala ddala tebikontana na misingi gya Katonda. Ate era, olw’okuba afaayo nnyo ku misingi gya Baibuli ne ku ekyo omuntu we ow’omunda atendekeddwa obulungi ky’amugamba, Mark kati yeewala programu mu kusooka ze yali alowooza nti nnungi. Yee, omuntu we ow’omunda alongooseddwa.—Zabbuli 37:31.
18. Kiki ekituleetera essanyu?
18 Mu bibiina ebisinga, mulimu abantu abali ku bigero eby’enjawulo eby’okukulaakulana okw’Ekikristaayo. Abamu ku bo bakyali bapya mu mazima. Oboolyawo omuntu waabwe ow’omunda ayogerera wansi bwe baba balina ensonga ezimu ze basalawo, kyokka bwe kituuka ku nsonga endala ayogerera waggulu. Abantu ng’abo baba beetaaga okuyambibwa era kiyinza okubatwalira ekiseera okusobola okulaba obulungi emisingi gya Yakuwa n’okuwuliriza omuntu waabwe ow’omunda atendekeddwa. (Abaefeso 4:14, 15) Kya ssanyu, mu bibiina bye bimu, muyinza okubaamu bangi abakulu mu by’omwoyo, abalina obumanyirivu mu kussa mu nkola emisingi gya Baibuli era abalina omuntu ow’omunda akwatagana obulungi n’endowooza ya Katonda. Nga kirungi okubeera ‘n’abantu abalongoofu’ ng’abo abatwala ebintu Mukama waffe by’atwala nga ‘birongoofu’! (Abaefeso 5:10) Ka ffenna tuluubirire okukulakulaana okutuuka ku ssa eryo era tubeere n’omuntu ow’omunda atuukana n’okumanya okutuufu okw’amazima n’okutya Katonda.—Tito 1:1.
[Obugambo obuli wansi]
a Watchtower eya Maaki 15, 1983, empapula 30-1, ewa ebirowoozo eby’okufumiitirizaako ebikwata ku bafumbo.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki Abakristaayo abamu e Kuleete baalina omuntu ow’omunda eyayonooneka?
• Kiyinzika kitya Abakristaayo babiri abalina omuntu ow’omunda omulungi okusalawo mu ngeri za njawulo?
• Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, kiki ekisaanidde okutuuka ku muntu waffe ow’omunda?
[Mmaapu eki ku lupapula 18]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
Sisiri
BUYONAANI
Kuleete
ASIYA OMUTONO
Kupulo
ENNYANJA MEDITERENIYANI
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Abakristaayo babiri aboolekaganye n’embeera y’emu bayinza okusalawo mu ngeri za njawulo