Zabbuli ya Dawudi.
26 Nnamula Ai Yakuwa, kubanga ntambulidde mu bugolokofu bwange;+
Nneesize Yakuwa awatali kuddirira.+
2 Nkebera Ai Yakuwa, era ngezesa;
Longoosa ebirowoozo byange n’omutima gwange.+
3 Kubanga okwagala kwo okutajjulukuka kubeera mu maaso gange bulijjo,
Era ntambulira mu mazima go.+
4 Sibeera na bantu balimba,+
Era nneewala abo abakweka kye bali.
5 Nkyawa ekibiina ky’abantu ababi,+
Era sikkiriza kubeera n’abo abakola ebibi.+
6 Nja kunaaba mu ngalo okulaga nti siriiko musango,
Era nja kwetooloola ekyoto kyo, Ai Yakuwa,
7 Eddoboozi lyange ery’okwebaza liwulirwe,+
Era nnangirire ebikolwa byo byonna eby’ekitalo.
8 Yakuwa, njagala nnyo ennyumba mw’obeera,+
Ekifo ekitiibwa kyo mwe kibeera.+
9 Tonsaanyaawo wamu n’aboonoonyi,+
Era obulamu bwange tobuzikiririza wamu n’abo abakola ebikolwa eby’obukambwe,
10 Abo abalina emikono egikola ebintu ebiswaza,
Era abalina omukono ogwa ddyo ogujjudde enguzi.
11 Naye nze nja kutambulira mu bugolokofu bwange.
Nnunula era ndaga ekisa.
12 Ekigere kyange kiyimiridde awatereevu,+
Nja kutendereza Yakuwa mu kibiina ekinene.+