Isaaya
24 Laba! Yakuwa ensi agifuula njereere era agifuula matongo.+
Agivuunika+ era asaasaanya abagibeeramu.+
2 Embeera eriba y’emu eri bonna:
Abantu ne kabona,
Omuweereza ne mukama we,
Omuzaana n’omukyala mukama we,
Agula n’oyo atunda,
Ayazika n’oyo eyeeyazika,
Awola n’oyo eyeewola.+
3 Ensi eriggibwamu buli kintu;
Erinyagibwa obutalekebwamu kantu,+
Kubanga Yakuwa y’ayogedde ekigambo kino.
4 Ensi ekungubaga;*+ eggweerera.
Ettaka liyongobera; liggwaawo.
Abantu ab’ebitiibwa abali mu nsi bakogga.
6 Eyo ye nsonga lwaki ekikolimo kirya ensi,+
Era abo abagibeeramu baliko omusango.
Eyo ye nsonga lwaki abo ababeera mu nsi bakendedde,
Era wasigaddewo abasajja batono nnyo.+
8 Essanyu ly’obugoma obutono likomye;
Amaloboozi g’abo ababeera mu binyumu gaweddewo;
Eddoboozi ly’entongooli ery’essanyu likomye.+
9 Banywa envinnyo nga tewali ayimba,
Era omwenge gukaayira abo abagunywa.
10 Ekibuga ekyasigalira awo kimenyeddwa;+
Buli nnyumba eggaddwa waleme kubaawo agiyingiramu.
11 Baleekaanira mu nguudo olw’obutaba na mwenge.
Okusanyuka kwonna kuweddewo;
Ensi tekyalimu ssanyu.+
12 Ekibuga kisigadde matongo;
Omulyango gumenyeddwamenyeddwa ne gufuuka ntuumu ya bifunfugu.+
13 Abantu bange bwe bati bwe baliba mu nsi, mu mawanga:
14 Baliyimusa amaloboozi gaabwe,
Balyogerera waggulu n’essanyu,
15 Eyo ye nsonga lwaki baligulumiza Yakuwa mu kitundu eky’ekitangaala;*+
Baligulumiza erinnya lya Yakuwa Katonda wa Isirayiri mu bizinga by’omu nnyanja.+
16 Tuwulira ennyimba okuva ensi gy’ekoma:
“Ekitiibwa kibe eri Oyo Omutuukirivu!”+
Naye nze ŋŋamba nti: “Nzigwaawo, nzigwaawo!
Zinsanze nze! Abakuusa bakoze eby’obukuusa;
Abakuusa bakoze eby’obukuusa nga bakozesa obukuusa.”+
17 Mmwe ababeera mu nsi, entiisa, ebinnya, n’emitego bibalindiridde.+
18 Oyo yenna alidduka olw’eddoboozi ery’entiisa aligwa mu kinnya,
N’oyo aliva mu kinnya aligwa mu mutego.+
Kubanga emiryango gy’amazzi egya waggulu giriggulwawo,
Era emisingi gy’ensi girikankana.
20 Ensi etagala ng’omutamiivu,
Era eyuuga edda eno n’eri ng’akasiisira bwe kayuuga ng’eriyo embuyaga.
Ekibi kyayo kigizitooweredde nnyo,+
Era ejja kugwa ereme kuddamu kusituka nate.
21 Ku lunaku olwo Yakuwa alibonereza eggye erya waggulu
Ne bakabaka b’ensi abali ku nsi.
22 Balikuŋŋaanyizibwa wamu
Ng’abasibe bwe bakuŋŋaanyizibwa mu kinnya,
Baliggalirwa mu kkomera;
Era oluvannyuma lw’ennaku nnyingi balirowoozebwako.