Isaaya
13 Obubaka obukwata ku Babulooni+ Isaaya+ mutabani wa Amozi bwe yafuna mu kwolesebwa:
2 “Muwanike akabonero*+ ku lusozi olw’enjazi enjereere.
Mubakoowoole, mubawuubire emikono,
Bayingire mu miryango gy’abakungu.
Mpise abalwanyi bange njoleke obusungu bwange,
Era bajaganya n’amalala.
4 Wulira! Ekibiina ky’abantu mu nsozi;
Bawulikika nga bangi nnyo!
Wulira! Oluyoogaano lw’obwakabaka,
Oluyoogaano lw’amawanga agakuŋŋaanye awamu!+
Yakuwa ow’eggye akuŋŋaanya eggye okulwana olutalo.+
5 Bava mu nsi ey’ewala,+
Bava eyo eggulu gye likoma,
Yakuwa n’eby’okulwanyisa eby’obusungu bwe,
Okuleeta akabi eri ensi yonna.+
6 Mukube ebiwoobe, kubanga olunaku lwa Yakuwa luli kumpi okutuuka!
Lugenda kujja ng’okuzikiriza okuva eri Omuyinza w’Ebintu Byonna.+
7 Eyo ye nsonga lwaki emikono gyonna gijja kunafuwa,
Era omutima gwa buli muntu gujja kusaanuuka olw’okutya.+
8 Abantu basattira.+
Basambagala era bali mu bulumi bungi
Ng’omukazi alumwa okuzaala.
Buli omu atunuulira munne ng’atidde nnyo,
Era bonna ennaku ebeetimbye ku maaso.
9 Laba! Olunaku lwa Yakuwa lujja,
Lukambwe era lulina ekiruyi n’obusungu obubuubuuka,
Okufuula ensi eyo ekintu eky’entiisa,+
N’okusaanyaawo aboonoonyi abagirimu.
10 Kubanga emmunyeenye ez’oku ggulu awamu n’ebibinja byazo+
Tebijja kwaka;
Enjuba ejja kuvaayo ng’ekutte ekizikiza,
N’omwezi tegujja kwaka.
11 Ndivunaana ensi olw’ebibi byayo,+
N’ababi olw’ebyonoono byabwe.
Ndikomya okwekulumbaza kw’abo abeetulinkiriza,
Era ndikkakkanya amalala g’abo abatulugunya abalala.+
12 Omuntu ndimufuula wa bbula okusinga zzaabu alongooseddwa,+
Era abantu ndibafuula ba bbula okusinga zzaabu ow’e Ofiri.+
13 Eyo ye nsonga lwaki ndikankanya eggulu,
N’ensi erinyeenyezebwa eve mu kifo kyayo,+
Olw’ekiruyi kya Yakuwa ow’eggye ku lunaku olw’obusungu bwe obubuubuuka.
14 Okufaananako enjaza eyiggibwa, n’ensolo ez’omu kisibo ezitalina azikuŋŋaanya,
Buli omu aliddayo mu bantu be;
Buli omu aliddukira mu nsi ye.+
15 Buli alisangibwa alifumitibwa,
Na buli alikwatibwa alittibwa n’ekitala.+
16 Abaana baabwe balikubwa wansi ne babetentebwa nga balaba,+
Ennyumba zaabwe zirinyagibwamu ebintu,
Ne bakyala baabwe balikwatibwa.
18 Emitego gyabwe egy’obusaale girisesebbula abavubuka;+
Tebalikwatirwa kisa bibala bya lubuto
Wadde okusaasira abaana abato.
19 Era Babulooni obwakabaka obusingayo ekitiibwa,+
Obulungi bw’Abakaludaaya era okwenyumiriza kwabwe,+
Kirifaanana nga Sodomu ne Ggomola Katonda bwe yabizikiriza.+
Tewaliba Muwalabu asimbayo weema ye,
Era tewaliba basumba bawummulizaayo bisibo byabwe.
21 Ensolo ez’omu ddungu ze zirigalamirayo;
Ennyumba zaabwe zirijjula ebiwuugulu.
22 Ensolo eziwoowoola ziriwoowoolera mu minaala gyakyo,
N’ebibe biriwoowoolera mu mbiri zaakyo ennungi.
Ekiseera kyakyo kinaatera okutuuka, era ennaku zaakyo tezijja kwongezebwayo.”+