Olubereberye
14 Awo mu kiseera kya Amulaferi kabaka wa Sinaali,+ Aliyoki kabaka wa Erasali, Kedolawomeeri+ kabaka wa Eramu,+ ne Tidali kabaka wa Goyiyimu, 2 bakabaka abo baalwana ne Bbeera kabaka wa Sodomu,+ ne Bbiruusa kabaka wa Ggomola,+ ne Sinaabu kabaka wa Aduma, ne Semebeeri kabaka wa Zeboyimu+ ne kabaka wa Bera, kwe kugamba, Zowaali. 3 Bano* bonna beegatta wamu mu Kiwonvu Sidimu,+ kati awali Ennyanja ey’Omunnyo.*+
4 Baali bamaze emyaka 12 nga baweereza Kedolawomeeri, naye mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ne bajeema. 5 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ena Kedolawomeeri n’ajja ne bakabaka abaali naye ne bawangula Abaleefa mu Asutelosi-kalunayimu, n’Abazuuzi mu Kaamu, n’Abeemi+ mu Save-kiriyasayimu, 6 n’Abakooli+ ku lusozi lwabwe Seyiri,+ ne batuukira ddala mu Eru-palani ekiri mu ddungu. 7 Ate ne bakyusa ne badda emabega ne bagenda e Eni-misupaati, kwe kugamba, e Kadesi,+ ne bawamba ekitundu kyonna eky’Abamaleki+ era ne bawangula Abaamoli+ abaali babeera mu Kazazonu-tamali.+
8 Awo kabaka wa Sodomu ne kabaka wa Ggomola ne kabaka wa Aduma ne kabaka wa Zeboyimu ne kabaka wa Bera, kwe kugamba, Zowaali, ne beetegeka okulwana nabo mu Kiwonvu Sidimu; 9 ne balwana ne Kedolawomeeri kabaka wa Eramu ne Tidali kabaka wa Goyiyimu ne Amulaferi kabaka wa Sinaali ne Aliyoki kabaka wa Erasali+—bakabaka bana nga balwana ne bakabaka bataano. 10 Ekiwonvu Sidimu kyali kijjudde ebinnya ebirimu kemali;* kabaka wa Sodomu n’owa Ggomola bwe baali bagezaako okudduka ne babigwamu, era abaasigalawo ne baddukira mu nsozi. 11 Abawanguzi ne batwala ebintu byonna eby’omu Sodomu ne Ggomola, n’emmere yaabwe yonna ne bagenda.+ 12 Baatwala ne Lutti omwana wa muganda wa Ibulaamu eyali abeera mu Sodomu,+ era ne batwala n’ebintu bye ne beeyongerayo.
13 Oluvannyuma, omusajja eyawonawo n’ajja n’abuulira Ibulaamu Omwebbulaniya. Mu kiseera ekyo Ibulaamu yali abeera* kumpi n’emiti eminene egya Mamule Omwamoli,+ muganda wa Esukoli ne Aneri.+ Era abasajja abo baali baakola endagaano ne Ibulaamu. 14 Bw’atyo Ibulaamu n’awulira nti muganda we+ awambiddwa. Awo n’akuŋŋaanya abasajja be abaatendekebwa mu by’okulwana, abaweereza be 318 abaazaalibwa mu nnyumba ye, n’abawondera okutuuka e Ddaani.+ 15 Bwe bwaziba n’agabanyaamu eggye lye, era ye n’abaweereza be ne babalumba ne babawangula. N’abawondera okutuuka e Kkoba ekiri ebukiikakkono wa Ddamasiko. 16 N’akomyawo ebintu byonna ne Lutti muganda we, n’ebintu bye, n’abakazi, n’abantu abalala.
17 Ibulaamu bwe yakomawo oluvannyuma lw’okuwangula Kedolawomeeri ne bakabaka abalala abaali naye, kabaka wa Sodomu n’agenda okusisinkana Ibulaamu mu Kiwonvu ky’e Save, kwe kugamba, Ekiwonvu kya Kabaka.+ 18 Awo Merukizeddeeki+ kabaka wa Saalemi+ era kabona wa Katonda Asingayo Okuba Waggulu+ n’aleeta emmere n’omwenge.
19 N’amuwa omukisa n’agamba nti:
“Katonda Asingayo Okuba Waggulu
Eyakola eggulu n’ensi awe Ibulaamu omukisa;
20 Era Katonda Asingayo Okuba Waggulu atenderezebwe,
Oyo akugabudde abakuyigganya!”
Awo Ibulaamu n’amuwa kimu kya kkumi ku buli kintu kye yanyaga.+
21 Oluvannyuma kabaka wa Sodomu n’agamba Ibulaamu nti: “Mpa abantu ggwe osigaze ebintu.” 22 Naye Ibulaamu n’agamba kabaka wa Sodomu nti: “Nnyimusa omukono gwange nga ndayira mu maaso ga Yakuwa Katonda Asingayo Okuba Waggulu, eyakola eggulu n’ensi 23 nti sijja kutwala kintu kyo na kimu, k’ebe wuzi oba akaguwa k’engatto, oleme kugamba nti, ‘Nze nnagaggawaza Ibulaamu.’ 24 Sirina kye nja kutwala, okuggyako ebyo abavubuka bye balidde. Naye Aneri, Esukoli ne Mamule,+ abasajja abaagenze nange, bo ka batwale omugabo gwabwe.”