Abaruumi
4 Ekyo bwe kiba bwe kityo, tugambe nti jjajjaffe Ibulayimu yafuna ki? 2 Singa Ibulayimu yayitibwa mutuukirivu olw’ebikolwa bye, yandibadde alina ky’asinziirako okwenyumiriza, naye si mu maaso ga Katonda. 3 Ekyawandiikibwa kigamba ki? “Ibulayimu n’akkiririza mu Yakuwa* n’abalibwa okuba omutuukirivu.”+ 4 Omuntu akola, empeera gy’aweebwa tetwalibwa ng’ekisa eky’ensusso ekimulagiddwa, wabula ng’ebbanja eririna okumusasulwa. 5 Ku luuyi olulala, omuntu atakola naye ng’akkiririza mu Oyo ayita omwonoonyi omutuukirivu, abalibwa okuba omutuukirivu olw’okukkiriza kwe.+ 6 Era Dawudi ayogera ku ssanyu ly’omuntu Katonda gw’abala ng’omutuukirivu awatali bikolwa. Agamba nti: 7 “Balina essanyu abasonyiyiddwa ebikolwa byabwe ebibi era abaggiddwako* ebibi byabwe; 8 alina essanyu omuntu Yakuwa* gw’atalibalira kibi kye.”+
9 Essanyu lino lifunibwa bakomole bokka, oba n’abatali bakomole?+ Tugamba nti: “Ibulayimu yabalibwa okuba omutuukirivu lwa kukkiriza.”+ 10 Yali mu mbeera ki bwe yabalibwa okuba omutuukirivu? Nga mukomole oba nga si mukomole? Nga tannakomolebwa, so si ng’amaze okukomolebwa. 11 Katonda yamulagira okukomolebwa ng’akabonero+ akalaga obutuukirivu olw’okukkiriza kwe yalina nga tannakomolebwa, asobole okubeera kitaawe w’abo bonna abalina okukkiriza+ nga si bakomole, nabo basobole okubalibwa ng’abatuukirivu; 12 era asobole okubeera kitaawe w’abakomole, kyokka si bakomole bokka, naye era n’abo abooleka okukkiriza ng’okwo jjajjaffe Ibulayimu+ kwe yalina nga si mukomole.
13 Ibulayimu n’ezzadde lye baaweebwa ekisuubizo ky’okusikira ensi+ olw’obutuukirivu bwe yafuna olw’okukkiriza so si olw’amateeka.+ 14 Bwe kiba nti abo abanywerera ku mateeka be basika, okukkiriza kuba tekugasa era n’ekisuubizo kiba kiggiddwawo. 15 Ekituufu kiri nti, Amateeka galeeta obusungu bwa Katonda,+ naye awataba mateeka tewaba kwonoona.+
16 Eyo ye nsonga lwaki ekisuubizo ekyo kyaweebwa lwa kukkiriza kiryoke kibe nga kyesigamye ku kisa eky’ensusso,+ ezzadde lye lyonna liryoke libe n’ekisuubizo ekyo,+ si abo bokka abanywerera ku Mateeka naye era n’abo abanywerera ku kukkiriza kwa Ibulayimu, kitaffe ffenna.+ 17 (Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Nkulonze okubeera kitaawe w’amawanga mangi.”)+ Kino kyaliwo mu maaso ga Katonda gwe yali akkiririzaamu, azuukiza abafu era ayogera ku bintu ebitaliiwo ng’ebiriwo.* 18 Yalina essuubi era yali akkiriza nti ajja kufuuka kitaawe w’amawanga amangi, wadde nga tewaaliwo kisinziirwako kuba na ssuubi eryo. Yali akkiririza mu ekyo ekyayogerwa nti: “Ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”+ 19 Wadde nga teyaddirira mu kukkiriza, yalowooza ku mubiri gwe ogwali ng’ogufudde (kubanga yali aweza emyaka nga 100),+ era yalowooza ne ku ky’okuba nti Saala yali tazaala.*+ 20 Naye olw’ekisuubizo kya Katonda, teyaddirira mu kukkiriza, naye yafuuka wa maanyi olw’okukkiriza kwe, n’agulumiza Katonda, 21 era yali mukakafu ddala nti Katonda yali asobola okutuukiriza kye yasuubiza.+ 22 Bwe kityo “n’abalibwa okuba omutuukirivu.”+
23 Kyokka ekigambo “n’abalibwa” tekyawandiikibwa ku lulwe yekka,+ 24 naye era ne ku lwaffe abajja okubalibwa ng’abatuukirivu, kubanga tukkiriza Oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe okuva mu bafu.+ 25 Yaweebwayo ku lw’ebibi byaffe+ era n’azuukizibwa, Katonda asobole okutuyita abatuukirivu.+