Abaruumi
5 N’olwekyo, nga bwe tuyitiddwa abatuukirivu olw’okukkiriza,+ ka tubeere mu mirembe* ne Katonda okuyitira mu Mukama waffe Yesu Kristo,+ 2 era okuyitira mu ye tutuuse ku kisa eky’ensusso kye tulimu kati olw’okukkiriza,+ era ka tusanyuke* olw’essuubi ery’ekitiibwa kya Katonda. 3 Si ekyo kyokka, naye era ka tusanyuke* nga tubonaabona,+ kubanga tumanyi nti okubonaabona kuleeta obugumiikiriza;+ 4 obugumiikiriza buleeta okusiimibwa;+ okusiimibwa kuleeta essuubi,+ 5 era essuubi terimalaamu maanyi,*+ kubanga okwagala kwa Katonda kufukiddwa mu mitima gyaffe okuyitira mu mwoyo omutukuvu ogwatuweebwa.+
6 Kubanga bwe twali tukyali banafu,+ Kristo yafiirira abantu abatatya Katonda mu kiseera ekigereke. 7 Kiba kizibu omuntu okufiirira omuntu omutuukirivu, naye oboolyawo omuntu ayinza okwewaayo okufiirira omuntu omulungi. 8 Naye Katonda atulaga okwagala kwe, kubanga bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo yatufiirira.+ 9 N’ekisinga ekyo, okuva bwe tuyitiddwa abatuukirivu olw’omusaayi gwe,+ okuyitira mu ye tujja kuwona obusungu bwa Katonda.+ 10 Bwe kiba nti bwe twali tukyali balabe twatabaganyizibwa ne Katonda okuyitira mu kufa kw’Omwana we,+ kaakano nga tumaze okutabaganyizibwa tuli bakakafu nti tujja kulokolebwa lwa bulamu bwa Kristo. 11 Si ekyo kyokka, naye era tuli basanyufu olw’okuba tulina enkolagana ennungi ne Katonda okuyitira mu Mukama waffe Yesu Kristo, eyatusobozesa okutabagana ne Katonda.+
12 Bwe kityo, okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi,+ okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona+—. 13 Kubanga ekibi kyaliwo mu nsi ng’Amateeka tegannabaawo, naye tewali avunaanibwa kibi nga tewali mateeka.+ 14 Naye okufa kwafuga nga kabaka okuva ku Adamu okutuuka ku Musa, era kwafuga n’abo abataayonoona mu ngeri y’emu nga Adamu, afaanana oyo eyali ow’okujja.+
15 Kyokka ekirabo tekiri ng’ekibi. Ekibi ky’omu kyaleteera bangi okufa. Naye ekisa kya Katonda eky’ensusso n’ekirabo kye byaleetera bangi+ emiganyulo egitageraageranyizika. Ekirabo kino awamu n’ekisa eky’ensusso byatuweebwa okuyitira mu Yesu Kristo.+ 16 Ate era ebyava mu kirabo tebiringa ebyo ebyava mu kibi ky’omuntu omu.+ Kubanga ekibi ekimu kyaviirako abantu okusingibwa omusango,+ naye ekirabo ekyajja oluvannyuma lw’ebibi ebingi kyaviirako bangi okuyitibwa abatuukirivu.+ 17 Bwe kiba nti olw’ekibi ky’omuntu omu okufa kwafuga nga kabaka okuyitira mu oyo,+ abo abafuna ekisa eky’ensusso n’ekirabo eky’obutuukirivu+ tebalisingawo nnyo okufugira mu bulamu nga bakabaka+ okuyitira mu muntu omu, Yesu Kristo!+
18 N’olwekyo, ng’okuyitira mu kibi ekimu abantu aba buli ngeri bwe baasingibwa omusango,+ bwe kityo n’okuyitira mu kikolwa ekimu eky’obutuukirivu, abantu aba buli ngeri+ baayitibwa batuukirivu basobole okufuna obulamu.+ 19 Ng’obujeemu bw’omuntu omu bwe bwaviirako bangi okufuuka aboonoonyi,+ n’obuwulize bw’omuntu omu bujja kuviirako bangi okufuuka abatuukirivu.+ 20 Kaakano Amateeka gajja, okwonoona kusobole okweyongera.+ Naye ekibi bwe kyeyongera, n’ekisa eky’ensusso kyeyongera nnyo n’okusingawo. 21 Lwa kigendererwa ki? Ng’ekibi bwe kyafugira awamu n’okufa nga kabaka,+ n’ekisa eky’ensusso kijja kufuga nga kabaka okuyitira mu butuukirivu kitutuuse mu bulamu obutaggwaawo okuyitira mu Yesu Kristo Mukama waffe.+