Ekyabalamuzi
5 Ku lunaku olwo Debola+ ne Balaka+ mutabani wa Abinowamu ne bayimba oluyimba luno:+
2 “Olw’okuba Abayisirayiri* baata enviiri zaabwe,
Olw’okuba abantu beewaayo kyeyagalire,+
Mutendereze Yakuwa!
3 Muwulirize mmwe bakabaka! Mutege amatu mmwe abafuzi!
Nja kuyimbira Yakuwa.
Nja kuyimba ennyimba ezitendereza Yakuwa+ Katonda wa Isirayiri.+
4 Yakuwa, bwe wali ova mu Seyiri,+
Bwe wali ova mu kitundu kya Edomu,
Ensi yakankana n’eggulu ne lifukumula amazzi,
Ebire byafukumula amazzi.
5 Ensozi zaasaanuuka* mu maaso ga Yakuwa,+
Sinaayi naye yasaanuuka mu maaso ga Yakuwa+ Katonda wa Isirayiri.+
6 Mu kiseera kya Samugali+ mutabani wa Anasi,
Mu kiseera kya Yayeeri,+ amakubo tegaalimu bantu;
Abatambuze baayitanga mu makubo ag’ebbali.
7 Abantu baggwa mu byalo bya Isirayiri;
Baggwaamu okutuusa nze Debola+ lwe nnayimuka,
Okutuusa lwe nnayimuka nga maama okuyamba Isirayiri.+
8 Baalonda bakatonda abaggya.+
Awo entalo ne ziryoka zibeera mu miryango.+
Engabo yali tekyalabika, wadde effumu,
Mu basajja 40,000 ab’omu Isirayiri.
Mutendereze Yakuwa!
10 Mmwe abeebagala endogoyi eza kikuusikuusi,
Mmwe abatuula ku biwempe ebirungi,
Nammwe abatambula mu luguudo,
Mulowooze ku kino:
11 Amaloboozi g’abagaba amazzi gaawulirwa mu bifo omusenebwa amazzi;
Eyo gye baayogerera ku bikolwa bya Yakuwa eby’obutuukirivu,
Ebikolwa eby’obutuukirivu eby’abantu be ababeera mu byalo by’omu Isirayiri.
Awo abantu ba Yakuwa ne balyoka baserengeta ku miryango.
12 Zuukuka, zuukuka, ggwe Debola!+
Zuukuka, zuukuka, yimba oluyimba!+
Ggwe Balaka,+ ggwe mutabani wa Abinowamu, situka otwale abawambe bo!
13 Awo abo abaasigalawo ne baserengeta eri abakungu;
Abantu ba Yakuwa baaserengeta gye ndi okulwanyisa ab’amaanyi.
14 Abo abali mu kiwonvu baasibuka mu Efulayimu;
Bakugoberera ggwe Benyamini, mu bantu bo.
Abaduumizi baava mu Makiri+ ne baserengeta,
Abo abasitula omuggo gw’oyo awandiika abantu abayingira mu magye* baava mu Zebbulooni.
15 Abaami b’omu Isakaali baali ne Debola,
Nga Isakaali bwe yali, ne Balaka+ bw’atyo bwe yali.
Yasindikibwa mu lusenyi ku bigere.+
Ate bo ab’ebibinja bya Lewubeeni omutima gwabwe gwali tegusalawo.
16 Lwaki watuula wakati w’emigugu ebiri,
Ng’owuliriza emirere gye bafuuyira ebisibo?+
Ab’ebibinja bya Lewubeeni omutima gwabwe gwali tegusalawo.
Aseri yatuula butuuzi ku lubalama lw’ennyanja,
Era yasigala ku myalo gye.+
18 Zebbulooni be bantu abaateeka obulamu bwabwe mu kabi;
Mu Taanaki okumpi n’amazzi g’e Megiddo.+
Tebaatwala munyago gwa ffeeza.+
20 Emmunyeenye zaalwanira mu ggulu;
Nga ziri mu makubo gaazo, zaalwanyisa Sisera.
Nnalinnyirira ab’amaanyi.
22 Awo ebinuulo by’embalaasi ne biryoka birinnyiriralinnyirira
Ng’embalaasi ze zifubutuka.+
23 ‘Mukolimire Merozi,’ bw’atyo malayika wa Yakuwa bwe yagamba,
‘Mukolimire abatuuze baamu,
Kubanga tebajja kuyamba Yakuwa,
Tebajja wamu n’ab’amaanyi okuyamba Yakuwa.’
24 Yayeeri+ muka Keberi Omukeeni+
Wa mukisa okusinga abakazi bonna;
Wa mukisa okusinga abakazi bonna ababeera mu weema.
25 Yasaba mazzi, yamuwa mata.
Yamuweera amata amasunde+ mu kibya ky’abakungu ekikozesebwa ku kijjulo.
26 Omukono gwe gwakwata enninga ya weema,
Omukono gwe ogwa ddyo gwakwata ennyondo y’abakozi.
N’akomerera Sisera n’amwasa omutwe,
Yamuwummula omutwe n’agubetenta.+
27 Wakati mu magulu ge we yagwa n’akalambala;
Wakati mu magulu ge we yagwa;
We yagwa, amaanyi we gaamuggweeramu.
28 Omukazi yali mu ddirisa ng’atunula,
Maama wa Sisera yali mu katimba ng’alingiza,
‘Lwaki eggaali lye ery’olutalo liruddewo okudda?
Lwaki omusinde gw’eggaali lye gukeereye nnyo?’+
29 Abakazi be ab’ekitiibwa abasingayo okuba ab’amagezi ne bamuddamu;
Era naye ne yeddamu ng’agamba nti,
30 ‘Bateekwa okuba nga bali mu kugabana munyago gwe baafunye,
Buli mulwanyi omuwala omu oba babiri,*
Sisera omunyago gw’olugoye olwa langi, omunyago gw’olugoye olwa langi;
Ekyambalo ekiriko amasiira, olugoye olwa langi, ebyambalo bibiri eby’amasiira
Bya ku nsingo z’abasajja abaanyaze omunyago.’
31 Abalabe bo bonna ka bazikirire,+ Ai Yakuwa,
Naye abakwagala ka babe ng’enjuba bw’eba ng’evaayo mu kitiibwa kyayo.”
Awo ensi n’ebaamu emirembe okumala emyaka 40.+