Abebbulaniya
3 Kale ab’oluganda abatukuvu abalina omugabo mu kuyitibwa okw’omu ggulu,+ mulowooze ku mutume era kabona asinga obukulu gwe tukkiririzaamu*—Yesu.+ 2 Yali mwesigwa eri Oyo eyamulonda,+ era nga ne Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba y’Oyo yonna.+ 3 Kubanga ye* agwanira okuweebwa ekitiibwa ekisinga+ ekya Musa, era ng’omuntu azimba ennyumba bw’aba n’ekitiibwa ekisinga eky’ennyumba. 4 Kya lwatu, buli nnyumba wabaawo eyagizimba, naye eyakola ebintu byonna ye Katonda. 5 Era Musa yali muweereza mwesigwa mu nnyumba y’Oyo yonna. Obuweereza bwe bwali bujulirwa obw’ebintu ebyali bigenda okwogerwako oluvannyuma. 6 Naye Kristo yali mwana mwesigwa+ akulira ennyumba ya Katonda. Ffe tuba nnyumba Ye+ bwe tunywerera ku kwogera n’obuvumu ne ku ssuubi lye twenyumiririzaamu okutuukira ddala ku nkomerero.
7 N’olwekyo, omwoyo omutukuvu gugamba nti:+ “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, 8 temukakanyaza mitima gyammwe nga bajjajjammwe bwe bansunguwaza, nga bwe baakola ku lunaku lwe bangezesa mu ddungu.+ 9 Bangezesa ate nga baali balabye ebikolwa byange okumala emyaka 40.+ 10 Kyennava nneetamwa omulembe ogwo era ne ŋŋamba nti, ‘Buli kiseera bawaba mu mitima gyabwe era tebategeeranga makubo gange.’ 11 Nnasunguwala ne ndayira nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’”+
12 Ab’oluganda, mwegendereze waleme kubaawo n’omu ku mmwe afuna omutima omubi ogutalina kukkiriza olw’okuva ku Katonda omulamu;+ 13 naye buli omu abuulirirenga munne buli lunaku ng’ekiseera ekiyitibwa ekya “Leero”+ kikyaliwo, waleme kubaawo akakanyala olw’obulimba bw’amaanyi g’ekibi. 14 Kubanga tujja kukola ebyo Kristo by’akola kasita tunyweza obukakafu bwe twalina olubereberye okutuukira ddala ku nkomerero.+ 15 Nga bwe kigambibwa nti: “Leero bwe munaawulira eddoboozi lye, temukakanyaza mitima gyammwe nga bajjajjammwe lwe bansunguwaza.”+
16 Baani abaawulira naye ne basunguwaza Katonda? Si beebo bonna abaava e Misiri nga bakulemberwa Musa?+ 17 Era, baani Katonda be yeetamwa okumala emyaka 40?+ Si beebo abaayonoona era emirambo gyabwe ne gigwa mu ddungu?+ 18 Era baani be yalayirira nti tebaliyingira mu kiwummulo kye? Si beebo abaajeema? 19 N’olwekyo, tulaba nti baali tebayinza kukiyingiramu olw’okuba tebaalina kukkiriza.+