Ekiwummulo kya Katonda Kye Ki?
“Wakyasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda.”—BEB. 4:9.
1, 2. Ebigambo ebiri mu Olubereberye 2:1-3 bituyamba kutegeera ki ku lunaku olw’omusanvu, era ekyo kireetawo bibuuzo ki?
ESSUULA esooka ey’ekitabo ky’Olubereberye eraga nti Katonda yamala ennaku mukaaga ez’akabonero ng’ateekerateekera abantu ensi. Ku nkomerero ya buli lumu ku nnaku ezo omukaaga ez’akabonero, Bayibuli egamba nti: “Ne buba akawungeezi, ne buba enkya.” (Lub. 1:5, 8, 13, 19, 23, 31) Kyokka, bwe twetegereza Olubereberye 2:1-3 awoogera ku lunaku olw’omusanvu, ebigambo ebyo tebikozesebwa.
2 Eky’okuba nti ebigambo ebyo tebikozesebwa ku lunaku olw’omusanvu—“olunaku” lwa Katonda olw’okuwummuliramu—kiraga nti Musa we yawandiikira ekitabo ky’Olubereberye mu 1513 E.E.T., olunaku olwo lwali lukyagenda mu maaso. Ne leero Katonda akyawummudde? Bwe kiba kityo, tusobola okuyingira mu kiwummulo kye? Kikulu nnyo okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.
Yakuwa ‘Akyawummudde’?
3. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 5:16, 17 biraga bitya nti olunaku olw’omusanvu lwali lukyagenda mu maaso mu kyasa ekyasooka?
3 Waliwo ensonga bbiri lwaki tuyinza okugamba nti olunaku olw’omusanvu lwali lukyagenda mu maaso mu kyasa ekyasooka E.E. Ensonga esooka: Lowooza ku ekyo Yesu kye yagamba abo abaali bamunenya olw’okuwonya abantu ku Ssabbiiti nga bakitwala nti okuwonya abantu kwali kukola mirimu. Mukama waffe yabagamba nti: “N’okutuusa kaakano Kitange akola, era nange nkola.” (Yok. 5:16, 17) Kiki kye yali ategeeza? Kijjukire nti Yesu baali bamuvunaana gwa kukola mirimu ku Ssabbiiti. Naye yabaddamu nti: “Kitange akola.” Mu ngeri endala, Yesu yali abagamba nti: ‘Kitange ky’akola nange kye nkola. Okuva bwe kiri nti Kitange abaddenga akola ku Ssabbiiti ye ey’emyaka enkumi n’enkumi, era nga na kati akyakola, tewali kiŋŋaana kukola ku Ssabbiiti.’ N’olwekyo, ebigambo bya Yesu biraga nti olunaku olw’omusanvu, kwe kugamba, olunaku lwa Katonda olw’okuwummula emirimu egy’okutonda ebintu ku nsi, lwali lukyagenda mu maaso mu kiseera kya Yesu. Bwe kityo Katonda yali akyakola okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye eri abantu n’ensi.a
4. Ebigambo bya Pawulo biraga bitya nti olunaku olw’omusanvu lwali lukyagenda mu maaso mu kiseera kye?
4 Ensonga ey’okubiri yeeyolekera mu bigambo by’omutume Pawulo. Bwe yali tannajuliza bigambo ebiri mu Olubereberye 2:2, Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Ffe abakkirizza tuyingira mu kiwummulo.” (Beb. 4:3, 4, 6, 9) Ekyo kiraga nti olunaku olw’omusanvu lwali lukyagenda mu maaso mu kiseera kya Pawulo. Olunaku olw’omusanvu lunaakoma ddi?
5. Ekigendererwa ky’olunaku olw’omusanvu kye kiruwa, era kinaatuukirira ddi mu bujjuvu?
5 Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, tulina okusooka okumanya ekigendererwa ky’olunaku olw’omusanvu. Olubereberye 2:3 walaga ekigendererwa kyalwo. Wagamba nti: ‘Katonda n’awa omukisa olunaku olw’omusanvu n’alutukuza.’ Olunaku olwo Yakuwa ‘yalutukuza’ olw’okuba yalulonda okuba olunaku mwe yandituukiririzza ekigendererwa kye eri ensi. Ekigendererwa kye kwe kulaba nti ensi ebaako abantu abawulize abanaagirabirira awamu n’ebintu byonna ebigirimu. (Lub. 1:28) Ensonga lwaki Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo, “Mukama wa ssabbiiti,” bakyakola “n’okutuusa kaakano” kwe kulaba nti ekigendererwa kya Katonda ekyo kituukirira. (Mat. 12:8) Olunaku lwa Katonda olw’okuwummuliramu lujja kugenda mu maaso okutuukira ddala ng’ekigendererwa kye ekyo kituukiridde mu bujjuvu ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi.
‘Togoberera Kyakulabirako eky’Obujeemu’
6. Byakulabirako ki ebibi bye tusaanidde okwewala okugoberera, era kiki kye tuyiga mu byokulabirako ebyo?
6 Katonda yabuulira Adamu ne Kaawa ekigendererwa kye, naye baagaana okutuukanya obulamu bwabwe nakyo. Adamu ne Kaawa be bantu abasooka okujeemera Katonda. Waliwo n’abantu bukadde na bukadde abajeemedde Katonda. Abantu ba Katonda abalonde, eggwanga lya Isiraeri, nabo baamujeemera. Pawulo yalabula Abakristaayo abaaliwo mu kiseera kye okwegendereza baleme okujeemera Katonda ng’Abaisiraeri ab’edda bwe baakola. Yagamba nti: “Ka tufube nnyo okuyingira mu kiwummulo ekyo, waleme kubaawo n’omu agwa n’agoberera ekyokulabirako ekyo eky’obujeemu.” (Beb. 4:11) Ebigambo bya Pawulo ebyo biraga nti abantu abajeemu tebasobola kuyingira mu kiwummulo kya Katonda. Ekyo kitegeeza ki gye tuli? Kitegeeza nti singa oluusi tulemererwa okukola Katonda by’ayagala, olwo tuba tetujja kuyingira mu kiwummulo kye? Kikulu nnyo okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, era tujja kukifuna mu kitundu ekiddako. Naye ka tusooke tulabe ekyokulabirako ky’Abaisiraeri ekibi era n’ensonga lwaki tebaayingira mu kiwummulo kya Katonda.
“Tebaliyingira mu Kiwummulo Kyange”
7. Yakuwa yalina kigendererwa ki mu kununula Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri, era kiki kye yali ayagala bakole?
7 Mu 1513 E.E.T., Yakuwa yabuulira omuweereza we Musa ekigendererwa kye eri Abaisiraeri. Katonda yagamba nti: “Nzise okubawonya mu mukono gw’Abamisiri, okubalinyisa okuva mu nsi eri [ey’e Misiri] bayingire mu nsi ennungi engazi, mu nsi ejjudde amata n’omubisi gw’enjuki.” (Kuv. 3:8) Nga bwe yali yasuubiza jjajjaabwe, Ibulayimu, Yakuwa yanunula Abaisiraeri okuva “mu mukono gw’Abamisiri” ng’alina ekigendererwa eky’okubafuula abantu be. (Lub. 22:17) Katonda yawa Abaisiraeri amateeka agandibasobozesezza okuba n’enkolagana ennungi naye. (Is. 48:17, 18) Yagamba Abaisiraeri nti: ‘Bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, nga bw’erambikiddwa mu mateeka, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna: kubanga ensi yonna yange.’ (Kuv. 19:5, 6) Bwe kityo, Abaisiraeri okusobola okuba abantu ba Katonda, baalina okugondera eddoboozi lye.
8. Mikisa ki Abaisiraeri gye bandifunye singa baagondera Katonda?
8 Lowooza ku mikisa Abaisiraeri gye bandifunye singa baagondera eddoboozi lya Katonda! Yakuwa yandiwadde omukisa ennimiro zaabwe, ensuku zaabwe ez’emizabbibu, n’ebisolo byabwe. Era yandibakuumye okuva eri abalabe baabwe. (Soma 1 Bassekabaka 10:23-27.) Tebandibadde wansi wa bufuzi bwa ggwanga ddala lyonna, ne mu kiseera Yesu we yajjira ng’Abaruumi bafuga amawanga mangi. Yakuwa yali ayagala Isiraeri ebeere kyakulabirako eri amawanga amalala, gakirabe nti abo abagondera Katonda ow’amazima bafuna emikisa mingi.
9, 10. (a) Lwaki kyali kikyamu Abaisiraeri okwagala okuddayo e Misiri? (b) Abaisiraeri bandisobodde okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima singa baddayo e Misiri?
9 Abaisiraeri baalina enkizo ey’ekitalo—Yakuwa okubakozesa mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kye. Bandifunye emikisa gya Yakuwa era bandisobozesezza amawanga gonna ag’omu nsi okufuna emikisa. (Lub. 22:18) Kyokka Abaisiraeri okutwalira awamu tebaasiima nkizo ey’ekitalo gye baalina ey’okuba eggwanga lya Katonda n’okuba ekyokulabirako eri amawanga amalala. Baatuuka n’okugamba nti baali baagala kuddayo e Misiri! (Soma Okubala 14:2-4.) Naye ddala okuddayo e Misiri kyandibasobozesezza okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima n’okuba ekyokulabirako eri amawanga amalala? Nedda. Mu butuufu, singa Abaisiraeri baddayo mu buddu e Misiri, tebandisobodde kukwata Mateeka ga Musa n’okuganyulwa mu nteekateeka Yakuwa gye yali ataddewo okubasobozesa okusonyiyibwa ebibi byabwe. Nga baali beerowoozaako nnyo! Eyo y’ensonga lwaki Yakuwa yaboogerako bw’ati: “Nneetamwa omulembe ogwo era ne ŋŋamba nti, ‘Bulijjo bakyama mu mitima gyabwe era tebategeeranga makubo gange.’ Kye nnava nsunguwala ne ndayira nti, ‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’”—Beb. 3:10, 11; Zab. 95:10, 11.
10 Abaisiraeri abajeemu okwagala okuddayo e Misiri kyalaga nti baali tebasiima mikisa Yakuwa gye yali abawadde. Mu kifo ky’ekyo, kye baali basinga okutwala ng’ekikulu ye mmere ennungi gye baalyanga mu Misiri. (Kubal. 11:5) Okufaananako Esawu, Abaisiraeri abo abajeemu baali beetegefu okufiirwa obusika bwabwe obw’eby’omwoyo olw’emmere.—Lub. 25:30-32; Beb. 12:16.
11. Eky’okuba nti Abaisiraeri abaava mu Misiri tebaalina kukkiriza kyaleetera Katonda okukyusa ekigendererwa kye eri eggwanga eryo?
11 Wadde ng’Abaisiraeri abaali bavudde e Misiri tebaayoleka kukkiriza, Yakuwa teyakyusa kigendererwa kye eri eggwanga eryo. Abaana baabwe baali bawulize okusinga bazadde baabwe. Baagondera etteeka lya Yakuwa ne bayingira mu Nsi Ensuubize ne bagiwamba. Yoswa 24:31, wagamba nti: “Abaisiraeri ne baweereza Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n’ennaku zonna ez’abakadde abaasigalawo Yoswa ng’amaze okufa, era abaamanya emirimu gyonna egya Mukama, gye yakolera Isiraeri.”
12. Tumanya tutya nti tusobola okuyingira mu kiwummulo kya Katonda leero?
12 Kyokka Abaisiraeri abo abawulize baafa ne baggwaawo. Abaisiraeri abaabaddirira ‘tebaamanya Yakuwa, newakubadde omulimu gwe yakolera Isiraeri.’ N’ekyavaamu, baatandika ‘okukola ekyali mu maaso ga Yakuwa ekibi, ne baweereza’ bakatonda ab’obulimba. (Balam. 2:10, 11) Olw’okuba Abaisiraeri abo tebaali bawulize, waali tewakyaliwo mirembe wakati waabwe ne Katonda, bwe kityo tebaafuna “kiwummulo” mu Nsi Ensuubize. Ng’ayogera ku kiseera eky’omu maaso, Pawulo yagamba nti: “Singa Yoswa yali [atuusizza Abaisiraeri] mu kiwummulo, oluvannyuma Katonda teyandyogedde ku lunaku lulala. N’olwekyo, wakyasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda.” (Beb. 4:8, 9) “Abantu ba Katonda” Pawulo be yali ayogerako baali Bakristaayo, omwali Abayudaaya n’abo abataali Bayudaaya. Ebyo Pawulo bye yayogera biraga nti n’Abakristaayo abaliwo leero basobola okuyingira mu kiwummulo kya Katonda.
Abamu Balemererwa Okuyingira mu Kiwummulo kya Katonda
13, 14. (a) Mu kiseera kya Musa, Abaisiraeri baalina kukola ki okusobola okuyingira mu kiwummulo kya Katonda? (b) Mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo baalina kukola ki okusobola okuyingira mu kiwummulo kya Katonda?
13 Pawulo we yawandiikira ebbaluwa ye eri Abakristaayo Abebbulaniya, abamu ku bo obulamu bwabwe bwali tebukyatuukana na kigendererwa kya Katonda. (Soma Abebbulaniya 4:1.) Mu ngeri ki? Baali bakyagoberera ebintu ebimu ebyali mu Mateeka ga Musa. Okumala emyaka nga 1,500, buli Muisiraeri yalinanga okukwata Amateeka ga Musa okusobola okusanyusa Katonda. Naye oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, kyali tekikyetaagisa kukwata Mateeka ga Musa. Kino Abakristaayo abamu baalemererwa okukitegeera, era eyo ye nsonga lwaki baali balowooza nti kyali kibeetaagisa okugenda mu maaso n’okukwata agamu ku Mateeka ago.b
14 Pawulo yagamba Abakristaayo abo abaali bakyakwata Amateeka nti Yesu kabona asinga obukulu yali asingira wala bakabona bonna abatatuukiridde, era nti endagaano empya yali esingira wala endagaano Katonda gye yakola ne Isiraeri. Era yakiraga nti yeekaalu ey’eby’omwoyo yali esingira wala yeekaalu eyakolebwa n’emikono. (Beb. 7:26-28; 8:7-10; 9:11, 12) Pawulo yakozesa ekyokulabirako kya Ssabbiiti eyali mu Mateeka okunnyonnyola engeri Abakristaayo gye bayinza okuyingira mu kiwummulo kya Yakuwa. Yagamba nti: “Wakyasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda. Kubanga omuntu ayingidde mu kiwummulo kya Katonda naye kennyini aba awumudde emirimu gye, nga ne Katonda bwe yawummula egigye.” (Beb. 4:8-10) Abakristaayo abo Abebbulaniya baali beetaaga okulekera awo okulowooza nti omuntu okusobola okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa yali yeetaaga okukwata Amateeka ga Musa. Okuviira ddala ku Pentekooti ey’omwaka gwa 33 E.E., abantu abasiimibwa mu maaso ga Katonda beebo abakkiririza mu Yesu Kristo.
15. Lwaki twetaaga okugondera Yakuwa okusobola okuyingira mu kiwummulo kye?
15 Kiki ekyalemesa Abaisiraeri mu kiseera kya Musa okuyingira mu Nsi Ensuubize? Bujeemu. Kiki ekyalemesa Abakristaayo abamu mu kiseera kya Pawulo okuyingira mu kiwummulo kya Katonda? Nabo bujeemu bwe baabalemesa. Baagaana okukikkiriza nti Amateeka ga Musa gaali gakomye era nti Yakuwa yali ayagala abantu be okumusinza mu ngeri endala.
Okuyingira mu Kiwummulo kya Katonda Leero
16, 17. (a) Okuyingira mu kiwummulo kya Katonda kitegeeza ki? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
16 Tewali n’omu ku ffe yandirowoozezza nti Abakristaayo beetaaga okukwata Amateeka ga Musa okusobola okufuna obulokozi. Ebigambo bya Pawulo eri Abeefeso bitegeerekeka bulungi: “Mazima ddala, olw’ekisa kino eky’ensusso mufunye obulokozi okuyitira mu kukkiriza; era temwabufuna ku lwammwe, wabula kirabo kya Katonda. Tebufunibwa lwa bikolwa, omuntu yenna aleme kubaako ky’asinziirako kwewaana.” (Bef. 2:8, 9) Kati olwo Abakristaayo bayinza batya okuyingira mu kiwummulo kya Katonda leero? Kijjukire nti Yakuwa yalonda olunaku olw’omusanvu—olunaku lwe olw’okuwummuliramu—okuba olunaku mwe yandituukiririzza ekigendererwa kye eri ensi. Okuyitira mu kibiina kye, Yakuwa atutegeeza ebikwata ku kigendererwa kye n’ebyo by’atwetaagisa okukola. Tusobola okuyingira mu kiwummulo kya Yakuwa singa tumugondera era ne tukolera wamu n’ekibiina kye.
17 Ku luuyi olulala, singa tugaana okukolera ku magezi agali mu Bayibuli ge tufuna okuyitira mu muddu omwesigwa era ow’amagezi, oba singa mu bintu by’atugamba tusalawo kukolera ku ebyo byokka ffe bye tulaba ng’ebikulu, tuba tetutuukanye na kigendererwa kya Katonda. Ekyo kisobola okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba embeera ezimu mwe tuyinza okulagira nti tugondera Yakuwa. Ebyo bye tusalawo okukola mu mbeera ng’ezo bisobola okulaga obanga ddala tuyingidde mu kiwummulo kya Katonda.
[Obugambo obuli wansi]
a Bakabona n’abaleevi baakolanga emirimu gya yeekaalu ku Ssabbiiti naye “ne batabaako musango.” Katonda yalonda Yesu okuba kabona waffe asinga obukulu. N’olwekyo, Yesu teyazza musango kukola ku Ssabbiiti mirimu Yakuwa gye yali amuwadde okukola.—Mat. 12:5, 6.
b Tetumanyi obanga Abakristaayo Abayudaaya baagenda mu maaso n’okuwaayo ssaddaaka ku lunaku olw’Okutangirirako Ebibi oluvannyuma lwa Pentekooti 33 E.E. Okukola ekyo kyandiraze nti baali tebassa kitiibwa mu ssaddaaka ya Yesu. Kye tumanyi kiri nti, Abakristaayo abamu Abayudaaya baali bakyagoberera ebimu ku bintu ebyali mu Mateeka ga Musa.—Bag. 4:9-11.
Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako
• Ekigendererwa ky’olunaku lwa Katonda olw’omusanvu olw’okuwummuliramu kye kiruwa?
• Tumanya tutya nti olunaku olw’omusanvu lukyagenda mu maaso leero?
• Kiki ekyalemesa Abaisiraeri mu kiseera kya Musa n’abamu ku Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka okuyingira mu kiwummulo kya Katonda?
• Abakristaayo bayinza batya okuyingira mu kiwummulo kya Katonda leero?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 27]
Tusobola okuyingira mu kiwummulo kya Yakuwa leero singa tumugondera era ne tukolera wamu n’ekibiina kye
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Kiki ekyetaagisa okusobola okuyingira mu kiwummulo kya Katonda?