Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.+
83 Ai Katonda, tosirika;+
Yogera era baako ky’okola, Ai Katonda.
2 Laba! Abalabe bo bayoogaana;+
Abo abatakwagala beekulumbaza.
3 Mu lukujjukujju basalira abantu bo enkwe;
Beekobaana okukola akabi ku bantu bo ab’omuwendo.
4 Bagamba nti: “Mujje tubazikirize bonna ng’eggwanga,+
Erinnya lya Isirayiri lireme kujjukirwa nate.”
5 Bateesa ne bakkaanya;
Beegasse wamu okukulwanyisa+—
6 Weema za Edomu n’ez’Abayisimayiri, Mowaabu+ n’Abakaguli,+
7 Gebali ne Amoni+ ne Amaleki,
Bufirisuuti+ awamu n’abantu b’e Ttuulo.+
8 Bwasuli+ naye abeegasseeko;
Bayamba abaana ba Lutti.+ (Seera)
9 Bakole kye wakola Midiyaani,+
Kye wakola Sisera ne Yabini ku Kagga Kisoni.+
10 Baazikirizibwa mu Eni-doli;+
Baafuuka bigimusa bya ttaka.
11 Abaami baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,+
Abakulembeze baabwe bafuule nga Zeba ne Zalumunna,+
12 Kubanga bagambye nti: “Ka tutwale ensi Katonda mw’abeera.”
13 Ai Katonda wange, bafuule ng’amatovu agatwalibwa empewo,+
Bafuule ng’ebisubi ebifuumuulibwa embuyaga.
14 Ng’omuliro ogwokya ekibira,
Era ng’ennimi z’omuliro ezibabula ensozi,+
15 Bawondere ng’okozesa omuyaga gwo,+
Era batiise ne kibuyaga wo.+
16 Amaaso gaabwe gajjuze okuswala,
Banoonyenga erinnya lyo, Ai Yakuwa.
17 Ka baswalenga era batyenga emirembe gyonna,
Ka bafeebezebwe era bazikirire;
18 Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa,+
Ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.+