Engeri Yakuwa gy’Anaddamu Essaala Eyaviira Ddala ku Mutima
“Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo Yakuwa, oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.”—ZAB. 83:18.
1, 2. Bangi baawulira batya bwe baategeera erinnya lya Katonda, era bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza?
EMABEGAKO, omukyala omu yanyolwa nnyo olw’ekikangabwa ekyali kigudde mu kitundu mw’abeera. Olw’okuba ewaabwe baali Bakatuliki, yagenda yeebuuze ku musosodooti omu, naye omusosodooti yagaana okwogera naye. Bw’atyo omukyala oyo yasaba Katonda nti: “Sikumanyi . . . , naye mmanyi nti gy’oli. Nnyamba nkutegeere!” Nga wayise ekiseera kitono, Abajulirwa ba Yakuwa baamukyalira ne bamubudaabuda era ne baddamu ebibuuzo bye. Mu bingi bye baamuyigiriza mwe mwali n’eky’okuba nti Katonda alina erinnya, Yakuwa. Okutegeera erinnya eryo kyamusanyusa nnyo. Yagamba nti: “Mazima ono ye Katonda gwe mbadde nnoonya okuva mu buto!”
2 Abantu bangi bawulira bwe batyo bwe bamanya erinnya lya Katonda. Abasinga erinnya Yakuwa basooka kuliraba nga basomye Zabbuli 83:18. Mu nkyusa eya New World Translation, olunyiriri olwo lugamba: “Abantu balyoke bamanye nti ggwe, erinnya lyo Yakuwa, ggwe Osingayo okuba waggulu mu nsi yonna.” Naye wali weebuuzizza lwaki Zabbuli 83 yawandiikibwa? Kiki ekyandireetedde buli muntu okukkiriza nti Yakuwa ye Katonda yekka ow’amazima? Zabbuli eno tugiyigamu ki leero? Ka twekenneenye ebibuuzo ebyo mu kitundu kino.a
Olukwe lw’Okuzikiriza Abantu ba Yakuwa
3, 4. Ani yawandiika Zabbuli 83, era bulabe ki bwe yali ayogerako?
3 Okusinziira ku bugambo obusooka waggulu, Zabbuli 83 ‘luyimba lwa Asafu.’ Omuwandiisi wa zabbuli eyo yandiba nga yali muzzukulu wa Asafu Omuleevi eyali omuyimbi omwatiikirivu mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Dawudi. Mu zabbuli eyo, omuwandiisi yeegayirira Yakuwa asitukiremu alage nti Ye mufuzi w’obutonde bwonna era amanyise erinnya Lye. Zabbuli eyo eteekwa okuba nga yawandiikibwa Sulemaani amaze okufa. Lwaki? Kubanga mu kiseera ky’obufuzi bwa Dawudi n’obwa Sulemaani, kabaka wa Tuulo yali akolagana bulungi ne Isiraeri. Zabbuli 83 yagenda okuwandiikibwa ng’abantu b’omu Tuulo beegasse ku balabe ba Isiraeri.
4 Omuwandiisi wa zabbuli eyo amenya amawanga kkumi agaali geekobaanye okuzikiriza abantu ba Katonda. Amawanga ago gaali geetoolodde Isiraeri era ge gano: “Eweema za Edomu n’ez’Abaisimaeri; Mowaabu, n’Abakagale; Gebali, ne Amoni, ne Amaleki; Firisutiya awamu n’abo abatuula mu Ttuulo: era n’Obwasuli bwegasse nabo.” (Zab. 83:6-8) Byafaayo ki zabbuli eyo by’eyogerako? Abamu bagamba nti eyogera ku bulumbaganyi ab’omukago gw’Amoni, Mowaabu, n’abantu b’omu Lusozi Seyiri bwe baakola ku Isiraeri mu kiseera kya Yekosofaati. (2 Byom. 20:1-26) Ate abalala bagamba nti zabbuli eyo eyogera ku bukyayi amawanga ago bwe gaalaga Isiraeri mu byafaayo byayo byonna.
5. Abakristaayo baganyulwa batya mu Zabbuli 83 leero?
5 Ka kibe ki ekyaliwo, kyeyoleka bulungi nti Yakuwa Katonda ye yaluŋŋamya okuwandiikibwa kwa zabbuli eyo mu kiseera ekyali ekizibu eri eggwanga lye. Zabbuli eyo ezzaamu nnyo amaanyi abaweereza ba Katonda leero abayigganyiziddwa ennyo ng’abalabe baagala okubasaanyawo. Era naffe ejja kutuzzaamu amaanyi mu kiseera ekitali kya wala, Googi ow’e Magoogi bw’anaayungula eggye lye ng’agezaako okuzikiriza abo bonna abasinza Katonda mu mwoyo n’amazima.—Soma Ezeekyeri 38:2, 8, 9, 16.
Ekyali Kisinga Okumweraliikiriza
6, 7. (a) Kiki omuwandiisi wa Zabbuli 83 ky’asooka okusaba? (b) Kiki ekyali kisinga okumweraliikiriza?
6 Wulira ekiva ku mutima gw’omuwandiisi wa zabbuli ng’asaba: “Ai Katonda, tosirika nate. Toleka kwogera, so tobeererawo, ai Katonda. Kubanga, laba, abalabe bo bayoogaana: N’abo abakukyawa bayimusizza omutwe. Basala enkwe ku bantu bo . . . Kubanga bateesezza wamu n’omwoyo gumu; balagaana endagaano ku ggwe.”—Zab. 83:1-3, 5.
7 Kiki ekyali kisinga okweraliikiriza omuwandiisi wa zabbuli oyo? Kya lwatu nti yali mweraliikirivu olw’ebyo ebyali biyinza okumutuukako wamu n’ab’omu maka ge. Naye, essaala ye eraga nti ekyali kisinga okumweraliikiriza kye kivume ekyali kireeteddwa ku linnya lya Yakuwa n’akabi akaali koolekedde eggwanga eryali liyitibwa erinnya lye. Ka ffenna tufube okuba n’endowooza ennuŋŋamu ng’eyo nga twolekaganye n’ebizibu mu nnaku z’ensi eno embi ezisigaddeyo.—Soma Matayo 6:9, 10.
8. Amawanga gaalina kigendererwa ki mu kwekobaana okulwanyisa Isiraeri?
8 Omuwandiisi wa zabbuli alaga abalabe ba Isiraeri kye boogera: “Mujje tubazikirize balemenga okuba eggwanga; erinnya lya Isiraeri liremenga okujjukirwa nate.” (Zab. 83:4) Ng’amawanga ago gaali gaakyawa abantu ba Katonda! Naye waaliwo ensonga endala lwaki beekobaana okulwanyisa Isiraeri. Baali baagala kwezza ttaka lya Isiraeri era beewaana nti: “Twetwalire ffekka ennyumba za Katonda tuzirye.” (Zab. 83:12) Waliwo ekintu ekifaananako ng’ekyo ekibaddewo mu kiseera kino? Yee!
‘Ekifo Kyo Ekitukuvu’
9, 10. (a) Mu biseera eby’edda, ekifo kya Katonda ekitukuvu kyali kifo ki? (b) Mikisa ki ensigalira y’abaafukibwako amafuta ‘n’ab’endiga endala’ gye bafuna leero?
9 Mu biseera by’edda, Ensi Ensuubize yayogerwangako ng’ekifo kya Katonda ekitukuvu. Jjukira oluyimba lw’obuwanguzi Abaisiraeri lwe baayimba nga banunuddwa okuva e Misiri: “Ggwe mu kisa kyo wabakulembera abantu be wanunula: N’obaleeta mu maanyi go okutuuka mu kifo kyo ekitukuvu.” (Kuv. 15:13) Oluvannyuma lw’ekiseera, mu “kifo” ekyo mwazimbibwamu yeekaalu bakabona mwe baaweerezanga, n’ekibuga ekikulu Yerusaalemi, bakabaka ab’olunyiriri lwa Dawudi mwe baafugiranga nga batudde ku ntebe ya Yakuwa. (1 Byom. 29:23) Eno ye nsonga lwaki Yesu yayita Yerusaalemi ‘ekibuga kya Kabaka omukulu.’—Mat. 5:35.
10 Ate kiri kitya mu kiseera kyaffe? Mu 33 E.E., eggwanga eriggya, “Isiraeri wa Katonda,” lyatandikawo. (Bag. 6:16) Ab’eggwanga eryo, baganda ba Yesu Kristo abaafukibwako amafuta, baatuukiriza ekyo Isiraeri ow’omubiri kye yalemererwa okukola, eky’okuba abajulirwa b’erinnya lya Katonda. (Is. 43:10; 1 Peet. 2:9) Nabo Yakuwa yabasuubiza ekintu kye yali yasuubiza Isiraeri ey’edda: “Nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.” (2 Kol. 6:16; Leev. 26:12) Mu 1919, Yakuwa yatandikawo enkolagana ey’enjawulo n’ensigalira ya “Isiraeri wa Katonda,” era mu kiseera ekyo baayingira “ensi,” ng’eno ye mbeera ey’eby’omwoyo gye balimu nga baweereza Katonda. (Is. 66:8) Okuva mu myaka gya 1930, beegatiddwako ‘ab’endiga endala’ abatemera mu bukadde. (Yok. 10:16) Essanyu n’obutebenkevu mu by’omwoyo ebiri mu Abakristaayo leero biwa obukakafu obwenkukunala nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. (Soma Zabbuli 91:1, 2.) Ng’ekyo kinyiiza nnyo Setaani!
11. Kiki abalabe ba Katonda kye basinga okwagala?
11 Mu kiseera kino kyonna eky’enkomerero, Setaani akozesa abagoberezi be ku nsi okuziyiza abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ab’endiga endala. Kino kyaliwo mu Bulaaya ow’Ebugwanjuba mu kiseera ky’Abanazi ne mu Bulaaya ow’Ebuvanjuba mu bufuzi bw’Abakomunisiti mu Russia. Kyaliwo ne mu nsi endala nnyingi, era kijja kubaawo nate, naddala mu lulumba olunaasembayo olwa Googi ow’e Magoogi. Mu lulumba olwo, abalabe bayinza okwezza ebintu by’abantu ba Yakuwa, nga bwe kyali mu biseera by’emabega. Kyokka, Setaani bulijjo ky’asinga okwagala kwe kusattulula abantu ba Katonda, erinnya lye yatuwa lireme kujjukirwa nate. Yakuwa atunuulira atya ekikolwa ekyo eky’okulwanyisa obufuzi bwe? Ddamu nate weetegereze ebigambo by’omuwandiisi wa zabbuli.
Ekiraga nti Yakuwa Ajja Kuwangula
12-14. Omuwandiisi wa zabbuli ayogera ku buwanguzi ki obw’emirundi ebiri obwatuukibwako okumpi n’ekibuga Megiddo?
12 Weetegereze nti omuwandiisi wa zabbuli yali mukakafu nti Yakuwa asobola okulemesa ebigendererwa by’abalabe. Ayogera ku mirundi ebiri Isiraeri gye yawangula abalabe baayo okumpi n’ekibuga Megiddo eky’edda ekyali mu lusenyi oluli mu kiwonvu nga nakyo kiyitibwa Megiddo. Mu kiseera ky’ekyeya ng’Omugga Kisoni gukalidde, omuntu aba osobola bulungi okulengera wonna we guyita mu lusenyi olwo. Enkuba ya ttoggo bw’etonnya, omugga ogwo gubooga ne gwanjaala olusenyi olwo. Eno yandiba nga ye nsonga lwaki omugga ogwo era guyitibwa ‘amazzi ga Megiddo.’—Balam. 4:13; 5:19.
13 Mu kiwonvu ekyo, ku mabbali g’olusozi Mole olwesudde mayiro nga kkumi okuva ku kibuga Megiddo, amagye g’Abamidiyaani, ag’Abamaleki, n’ag’abantu b’Ebuvanjuba we gaakuŋŋaanira okulwana mu kiseera ky’Omulamuzi Gidyoni. (Balam. 7:1, 12) Abasajja ba Gidiyoni abaali 300 bokka, naye nga bawagirwa Yakuwa, baawangula eggye ly’abalabe eddene nnyo. Batya? Nga bakolera ku bulagirizi bwa Katonda, baazingiza olusiisira lw’abalabe ekiro nga bakutte ensuwa ezaalimu emimuli munda. Nga balabira ku Gidiyoni, abasajja be baayasa ensuwa emimuli egyali munda ne girabika. Era baafuuwa amakondeere gaabwe nga bwe boogerera waggulu nti: ‘Ekitala kya Yakuwa n’ekya Gidiyoni!’ Kino kyaleetera eggye ly’abalabe okutabulwatabulwa ne batandika okuttiŋŋana bokka na bokka; abawonawo ne badduka ne basomoka Omugga Yoludaani. Abaisiraeri abalala bangi beegatta mu kuwondera abalabe. Abalabe abattibwa baawerera ddala 120,000.—Balam. 7:19-25; 8:10.
14 Olusozi Taboli luli mu kiwonvu Megiddo, mayiro nga nnya okuva ku lusozi Mole. Eyo, Omulamuzi Balaka gye yakuŋŋaanyiza eggye ly’Abaisiraeri 10,000 okulwana n’eggye lya Yabini kabaka w’Abakanani ow’e Kazoli, eryali liduumirwa Sisera. Eggye ly’Abakanani eryo lyalina amagaali 900 agaalina nnamuziga okuli ebiso. Eky’okuba nti eggye lya Isiraeri eryali ku Lusozi Taboli teryalina byakulwanyisa bya maanyi kyayinula eggye lya Sisera okujja mu kiwonvu okulirumba. Awo “Mukama n’afufuggaza Sisera n’amagaali ge gonna n’eggye lye lyonna.” Kirabika enkuba ey’amaanyi yatonnya amangu ago n’ereetera Omugga Kisoni okubooga, ekyo ne kiviirako amagaali okutubira. Abaisiraeri ne bazikiriza eggye ly’abalabe lyonna.—Balam. 4:13-16; 5:19-21.
15. (a) Omuwandiisi wa zabbuli asaba Yakuwa akole ki? (b) Erinnya ly’olutalo lwa Katonda olusembayo litujjukiza ki?
15 Omuwandiisi wa zabbuli yeegayirira Yakuwa akole kye kimu ku mawanga agaagala okusaanyawo Isiraeri. Asaba nti: “Obakole nga bwe wakola Midiyaani; [n]ga Sisera, nga Yabini, ku Mugga Kisoni; abaazikiririra e Endoli; ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.” (Zab. 83:9, 10) Kinajjukirwa nti olutalo olusembayo Katonda lw’alwana n’ensi ya Setaani luyitibwa Kalumagedoni (ekitegeeza “Olusozi lw’e Megiddo”). Erinnya eryo litujjukiza entalo ezo ssinziggu ezaalwanirwa okumpi ne Megiddo. Eky’okuba nti Yakuwa yawangula ntalo ezo ez’edda kitukakasa nti olutalo lwa Kalumagedoni nalwo ajja kuluwangula.—Kub. 16:13-16.
Saba Yakuwa Alage nti y’Agwanidde Okufuga
16. Mu ngeri ki amaaso g’abalabe gye ‘gajjudde obuswavu’ leero?
16 Mu ‘nnaku z’oluvannyuma’ zino zonna, Yakuwa alemesezza abalabe okumalawo abantu be. (2 Tim. 3:1) Kino kiviiriddeko abalabe abo okuswala. Zabbuli 83:16 waalagula bwe wati ku nsonga eno: “Jjuza amaaso gaabwe [obuswavu]; banoonyenga erinnya lyo, ai [Yakuwa].” Mu nsi ezitali zimu, abalabe bagezezzaako nnyo okukomya omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa naye ne balemwa. Abasinza ba Katonda omu ow’amazima mu nsi ezo bakuumye obwesigwa ne basigala nga banywevu, ekyo ne kiwa abantu ab’emitima emirungi obujulirwa era bangi ku bo ne ‘banoonya erinnya lya Yakuwa.’ Mu nsi eziwerako Abajulirwa ba Yakuwa gye baayigganyiziddwa ennyo, kati waliyo abantu nkumi na nkumi abatendereza Yakuwa n’essanyu. Nga Yakuwa atuuse ku buwanguzi bwa maanyi! Era ekyo nga kiswazizza nnyo abalabe be!—Soma Yeremiya 1:19.
17. Kintu ki ekikulu nnyo buli omu ky’alina okumanya, era bigambo ki bye tujja okujjukira mu maaso awo?
17 Tukimanyi bulungi nti abalabe bajja kwongera okutuyigganya. Era tukyagenda mu maaso n’okubuulira abantu amawulire amalungi—omuli n’abalabe. (Mat. 24:14, 21) Kyokka, akakisa abalabe abo ke balina ak’okwenenya bafune obulokozi kanaatera okuggwawo. Okutukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa kintu kikulu nnyo okusinga okulokolebwa kw’abantu. (Soma Ezeekyeri 38:23.) Amawanga gonna mu nsi bwe ganeegatta gagezeeko okuzikiriza abantu ba Katonda nga bwe kyalagulwa, tujja kujjukira ebigambo ebiri mu ssaala y’omuwandiisi wa zabbuli bino: “Bakwatibwenga ensonyi, batyenga ennaku zonna; weewaawo, beeraliikirirenga bazikirirenga.”—Zab. 83:17.
18, 19. (a) Kiki ekinaatuuka ku abo abawakanya obufuzi bwa Yakuwa? (b) Oky’okuba nti Yakuwa anaatera okulaga nti ye yekka agwanidde okufuga kikukwatako kitya?
18 Abo abawakanya obufuzi bwa Yakuwa boolekedde okuzikirizibwa mu ngeri ey’obuswavu. Ekigambo kya Katonda kigamba nti abo “abatagondera njiri”—olw’ekyo ne bazikirizibwa ku Kalumagedoni—bajja “kuzikirira emirembe n’emirembe.” (2 Bas. 1:7-9) Okuzikirizibwa kw’abantu abo era n’okuwonawo kw’abasinza ba Yakuwa bujja kuba bukakafu bwa nkukunala nti Yakuwa ye Katonda yekka ow’amazima. Obuwanguzi obwo obw’ekitalo tebuggya kwerabirwa mu nsi empya. Abantu ‘abatuukirivu n’abatali batuukirivu bajja kuzuukizibwa,’ bayigirizibwe ebintu ebyo eby’ekitalo Yakuwa by’anaaba akoze. (Bik. 24:15) Mu nsi empya, bajja kukiraba bulungi nti kya magezi okufugibwa Yakuwa. Era abo abawombeefu bajja kwanguwa okukiraba nti ddala Yakuwa ye Katonda yekka ow’amazima.
19 Ng’ebiseera eby’omu maaso Kitaffe ow’okwagala by’ateekeddeteekedde abaweereza be abeesigwa birungi nnyo! Kino tekituleetera okusaba Yakuwa addemu essaala y’omuwandiisi wa zabbuli eno: “[Abalabe bo] beeraliikirirenga bazikirirenga: [abantu] balyoke bategeerenga nga gwe wekka, erinnya lyo Yakuwa, oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.”?—Zab. 83:17, 18.
[[Obugambo obuli wansi]
a Nga tonnasoma kitundu kino, kyandibadde kirungi n’osoma Zabbuli 83.
Osobola Okunnyonnyola?
• Isiraeri yali eyolekaganye na kizibu ki mu kiseera Zabbuli 83 we yawandiikirwa?
• Kiki ekyali kisinga okweraliikiriza omuwandiisi wa Zabbuli 83?
• Baani Setaani b’ayigganya leero?
• Yakuwa anaddamu atya essaala eri mu Zabbuli 83:18?
[Mmaapu eri ku lupapula 15]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
Entalo ezaalwanirwa okumpi ne Megiddo eky’edda zikwata zitya ku biseera eby’omu maaso?
Omugga Kisoni
Kalosesi
Olusozi Kalumeeri
Ekiwonvu kya Yezuleeri
Megiddo
Taanaki
Olusozi Girubowa
Oluzzi Kalodi
Mole
Endoli
Olusozi Taboli
Ennyanja y’e Ggaliraaya
Omugga Yoludaani
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Kiki ekyaleetera omuwandiisi wa zabbuli okusaba essaala eyo eyaviira ddala ku mutima?