2 Samwiri
15 Ebyo bwe byaggwa, Abusaalomu ne yeefunira eggaali, embalaasi, n’abasajja 50 okuddukiranga mu maaso ge.+ 2 Abusaalomu yazuukukanga ku makya n’ayimirira ku mabbali g’ekkubo erigenda ku mulyango gw’ekibuga.+ Omuntu yenna bwe yabanga n’ensonga ey’okutwala eri kabaka okumulamula,+ Abusaalomu yamuyitanga n’amubuuza nti: “Ova mu kibuga ki?” omuntu oyo yamuddangamu nti: “Omuweereza wo ava mu kimu ku bika bya Isirayiri.” 3 Olwo Abusaalomu ng’amugamba nti: “Ensonga zo ntuufu era nnungi naye tewali muntu kabaka gw’ataddewo kuziwulira.” 4 Awo Abusaalomu ng’agamba nti: “Singa nnondebwa okuba omulamuzi mu nsi eno, buli muntu eyandibaddenga n’ensonga oba omusango gw’aloopa yandizzenga gye ndi, era nnandikakasizzanga nti ensonga ze zikolebwako mu bwenkanya.”
5 Ate era omuntu yenna bwe yamusembereranga okumuvunnamira, Abusaalomu yagololanga omukono gwe n’amukwata n’amunywegera.+ 6 Abusaalomu yakolanga bw’atyo Abayisirayiri bonna abaabanga bagenda ewa kabaka okubalamula; bw’atyo Abusaalomu n’atwalirizanga* emitima gy’abantu bonna ab’omu Isirayiri.+
7 Bwe waayitawo emyaka ena,* Abusaalomu n’agamba kabaka nti: “Nkwegayiridde ka ŋŋende e Kebbulooni+ nsasule obweyamo bwe nneeyama eri Yakuwa. 8 Kubanga omuweereza wo bwe yali akyabeera e Gesuli+ mu Busuuli, yeeyama+ ng’agamba nti, ‘Yakuwa bw’alinzizaayo e Yerusaalemi, ndiwaayo ssaddaaka eri* Yakuwa.’” 9 Kabaka n’amugamba nti: “Genda mirembe.” Awo n’agenda e Kebbulooni.
10 Awo Abusaalomu n’atuma abakessi mu bika byonna ebya Isirayiri ng’agamba nti: “Amangu ddala nga muwulidde eŋŋombe ng’evuga, mulangirire nti, ‘Abusaalomu afuuse kabaka mu Kebbulooni!’”+ 11 Waaliwo abasajja 200 okuva e Yerusaalemi Abusaalomu be yayita ne bagenda nga tebalina kye beekengera era nga tebamanyi kigenda mu maaso. 12 Ate era Abusaalomu bwe yawaayo ssaddaaka yatumya Akisoferi+ Omugiiro eyali mu kibuga ky’e Giro,+ eyawanga Dawudi amagezi.+ Omuwendo gw’abantu abaali bawagira Abusaalomu mu lukwe lwe ne gugenda nga gweyongera.+
13 Nga wayiseewo ekiseera, waaliwo omubaka eyagenda eri Dawudi n’amugamba nti: “Abantu b’omu Isirayiri bazze ku ludda lwa Abusaalomu.” 14 Amangu ago Dawudi n’agamba abaweereza be bonna abaali naye mu Yerusaalemi nti: “Musituke tudduke;+ kubanga tewajja kubaawo awona Abusaalomu! Mwanguwe, si kulwa ng’ayanguwa n’atutuukako n’atukolako akabi, n’atta n’ekitala abantu bonna ab’omu kibuga!”+ 15 Abaweereza ba kabaka ne bamuddamu nti: “Abaweereza bo beetegefu okukola ekyo kyonna mukama wange kabaka ky’anaasalawo.”+ 16 Awo Kabaka n’afuluma, era ab’omu nnyumba ye bonna ne bamugoberera, naye n’alekawo abazaana kkumi+ okulabirira ennyumba.* 17 Kabaka ne yeeyongerayo ng’abantu bonna bamugoberera, ne batuuka e Besu-meraki.
18 Abaweereza be bonna abaagenda naye n’Abakeresi bonna, n’Abaperesi,+ n’Abagitti,+ abasajja 600 abaamugoberera okuva e Gaasi,+ ne bayita mu maaso ga kabaka nga bw’abeetegereza. 19 Awo kabaka n’agamba Ittayi+ Omugitti nti: “Lwaki naawe ogenda naffe? Ddayo obeere ne kabaka omuggya, kubanga oli mugwira era omuwaŋŋanguse eyadduka ewammwe. 20 Ggwe wazze ggulo, ate leero nkutwale ogende naffe yonna gye tunaagenda? Ddayo, era genda ne baganda bo; Yakuwa k’akulage okwagala okutajjulukuka n’obwesigwa!”+ 21 Naye Ittayi n’agamba kabaka nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu era nga mukama wange kabaka bw’ali omulamu, yonna mukama wange kabaka gy’anaabeera, nange omuweereza wo gye nnaabeera, ne bwe kinaaba nga kyetaagisa kufa!”+ 22 Dawudi kwe kugamba Ittayi+ nti: “Genda osomoke.” Awo Ittayi Omugitti n’asomoka n’abasajja be bonna n’abaana.
23 Abantu bonna ab’omu kitundu baali batema emiranga ng’abantu abo bonna basomoka okugenda emitala, era kabaka yali ayimiridde kumpi n’Ekiwonvu Kidulooni;+ abantu bonna baali basomokera awaali ekkubo eridda mu ddungu. 24 Zadooki+ naye yaliwo era yali n’Abaleevi bonna+ abaali basitudde essanduuko+ y’endagaano ya Katonda ow’amazima;+ Essanduuko ya Katonda ow’amazima baagiwummuza wansi, era ne Abiyasaali+ yaliwo okutuusiza ddala abantu bonna lwe baava mu kibuga ne basomoka. 25 Naye Kabaka n’agamba Zadooki nti: “Essanduuko ya Katonda ow’amazima gizzeeyo mu kibuga.+ Yakuwa bw’anankwatirwa ekisa, anankomyawo ne ngiraba era ne ndaba n’ekifo mw’ebeera.+ 26 Naye bw’anaagamba nti, ‘Sikusiima,’ kale anankola kyonna ky’anaalaba nga kirungi mu maaso ge.” 27 Kabaka n’agamba Zadooki kabona nti: “Toli mulabi?+ Ggwe ne Abiyasaali muddeeyo mu kibuga mirembe, era mugende ne mutabani wo Akimaazi ne Yonasaani+ mutabani wa Abiyasaali. 28 Nja kulindira awasomokerwa okumpi n’eddungu okutuusa lwe munantumira ne muntegeeza embeera eri mu kibuga.”+ 29 Awo Zadooki ne Abiyasaali ne bazzaayo Essanduuko ya Katonda ow’amazima e Yerusaalemi, ne basigala eyo.
30 Dawudi n’ayambuka Olusozi olw’Emizeyituuni+ ng’akaaba; yali abisse ku mutwe gwe, era nga tayambadde ngatto. Abantu bonna abaali naye nabo baali babisse ku mitwe gyabwe, era nga bambuka bakaaba. 31 Awo Dawudi n’ategeezebwa nti: “Akisoferi ali mu abo abeekobaanye+ ne Abusaalomu.”+ Dawudi n’agamba nti: “Ai Yakuwa,+ nkwegayiridde amagezi ga Akisoferi gafuule obusirusiru!”+
32 Dawudi bwe yatuuka ku ntikko y’olusozi abantu we baavunnamiranga Katonda, Kusaayi+ Omwaluki+ n’ajja okumusisinkana ng’ayuzizza ekyambalo kye era ng’ayiye n’enfuufu ku mutwe gwe. 33 Kyokka Dawudi n’amugamba nti: “Bw’onoosomoka nange, ojja kunfuukira omugugu. 34 Naye singa oddayo mu kibuga n’ogamba Abusaalomu nti, ‘Ai Kabaka, ndi muweereza wo. Edda nnali muweereza wa kitaawo, naye kati ndi muweereza wo,’+ awo ojja kusobola okulemesa amagezi Akisoferi g’awa.+ 35 Zadooki ne Abiyasaali bakabona tebali naawe eyo? Buli ky’onoowuliranga mu nnyumba ya kabaka ojja kukibuulira Zadooki ne Abiyasaali bakabona.+ 36 Batabani baabwe ababiri bali eyo nabo, Akimaazi+ mutabani wa Zadooki ne Yonasaani+ mutabani wa Abiyasaali, era abo be munaatumanga gye ndi okuntegeeza byonna bye munaabanga muwulidde.” 37 Bw’atyo Kusaayi mukwano gwa Dawudi*+ n’agenda n’ayingira ekibuga nga Abusaalomu naye ayingira Yerusaalemi.