2 Bassekabaka
23 Awo kabaka n’atuma ne bayita abakadde bonna ab’omu Yuda ne mu Yerusaalemi.+ 2 Oluvannyuma lw’ekyo kabaka yagenda mu nnyumba ya Yakuwa n’abasajja bonna ab’omu Yuda, n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi, ne bakabona, ne bannabbi—abantu bonna abato n’abakulu, n’abasomera ebigambo byonna ebyali mu kitabo+ ky’endagaano+ ekyazuulibwa mu nnyumba ya Yakuwa.+ 3 Kabaka n’ayimirira okumpi n’empagi n’akola endagaano* mu maaso ga Yakuwa+ nti yali ajja kugobereranga Yakuwa akwatenga ebiragiro bye, n’okujjukiza kwe, n’amateeka ge n’omutima gwe gwonna n’obulamu bwe bwonna, ng’akolera ku bigambo by’endagaano ebyali biwandiikiddwa mu kitabo ekyo. Awo abantu bonna ne bakkiriza okukolera ku ebyo ebyali mu ndagaano.+
4 Awo kabaka n’alagira Kirukiya+ kabona asinga obukulu, ne bakabona abalala, n’abakuumi ab’oku mulyango okuggya mu yeekaalu ya Yakuwa ebintu byonna ebyakolerwa Bbaali, ebyakolerwa ekikondo ekisinzibwa,*+ n’ebyakolerwa eggye lyonna ery’oku ggulu. Awo n’abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu mabbali ga Kidulooni, evvu lyabyo n’alitwala e Beseri.+ 5 Yagoba bakabona ba bakatonda abalala, bakabaka ba Yuda be baali balonze okunyookerezanga omukka gwa ssaddaaka ku bifo ebigulumivu ebyali mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetoolodde Yerusaalemi, era n’abo abaanyookerezanga omukka gwa ssaddaaka eri Bbaali, n’enjuba, n’omwezi, n’emmunyeenye, n’eggye lyonna ery’oku ggulu.+ 6 Ate era yaggya mu nnyumba ya Yakuwa ekikondo ekisinzibwa*+ n’akitwala ebweru wa Yerusaalemi, mu Kiwonvu Kidulooni, n’akyokera eyo+ n’akibetenta ne kifuuka enfuufu, n’agimansira ku malaalo g’abantu aba bulijjo.+ 7 Yamenyaamenya n’ennyumba za bamalaaya abasajja ab’omu yeekaalu+ ezaali mu nnyumba ya Yakuwa, abakazi gye baalukiranga buweema obw’ekikondo ekisinzibwa.*
8 Awo n’aggya bakabona bonna mu bibuga bya Yuda; n’ayonoona ebifo ebigulumivu, okuviira ddala e Geba+ okutuuka e Beeru-seba,+ bakabona kwe baanyookererezanga omukka gwa ssaddaaka ne biba nga tebikyagwana kukozesebwa mu kusinza. Ate era yamenyaamenya n’ebifo ebigulumivu eby’emiryango ebyali ku mulyango gwa Yoswa omukulu w’ekibuga, ku mukono ogwa kkono omuntu ng’ayingira mu mulyango gw’ekibuga. 9 Bakabona ab’ebifo ebigulumivu tebaaweerezanga ku kyoto kya Yakuwa mu Yerusaalemi,+ naye baaliiranga wamu ne baganda baabwe emigaati egitali mizimbulukuse. 10 Tofesi+ ekiri mu Kiwonvu ky’Abaana ba Kinomu*+ yakifuula ekifo ekitakyagwana kukozesebwa mu kusinza wabe nga tewakyali muntu asobola kwokya* mutabani we oba muwala we mu muliro okumuwaayo eri Moleki.+ 11 Yosiya yagaana embalaasi bakabaka ba Yuda ze baali bawongedde* enjuba okuyingiranga mu nnyumba ya Yakuwa nga ziyita mu kisenge* ekyali mu kisasi, ekya Nasani-mereki omukungu w’omu lubiri; ate era yayokya n’amagaali g’enjuba+ mu muliro. 12 Kabaka yamenyaamenya n’ebyoto bakabaka ba Yuda bye baali batadde ku kasolya k’ekisenge kya Akazi ekya waggulu,+ era n’ebyoto Manase bye yali atadde mu mpya ebbiri ez’ennyumba ya Yakuwa.+ Yabibetenta ne bifuuka enfuufu, n’agisaasaanyiza mu Kiwonvu Kidulooni. 13 Ebifo ebigulumivu Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yazimbira Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni eyeenyinyaza, ne Kemosi katonda w’Abamowaabu eyeenyinyaza, ne Mirukomu+ katonda w’Abaamoni eyeenyinyaza,+ ebyali mu maaso ga Yerusaalemi ebukiikaddyo* w’Olusozi olw’Okuzikiriza,* nabyo kabaka yabifuula ebitakyagwana kukozesebwa mu kusinza. 14 Yamenyaamenya n’empagi ezisinzibwa, era n’atemaatema n’ebikondo ebisinzibwa,*+ we byali n’ajjuzaawo amagumba g’abantu. 15 Ate era yamenyaamenya n’ekyoto ekyali e Beseri, ekifo ekigulumivu Yerobowaamu mutabani wa Nebati kye yakola ekyaleetera Isirayiri okwonoona.+ Bwe yamala okumenyaamenya ekyoto ekyo n’ekifo ekigulumivu, n’ayokya ekifo ekigulumivu n’akibetenta ne kifuuka enfuufu, era n’ayokya n’ekikondo ekisinzibwa.*+
16 Yosiya bwe yakyuka n’alaba amalaalo agaali ku lusozi, n’atuma abantu ne baggya amagumba mu malaalo n’agookera ku kyoto n’akifuula ekitakyagwana kukozesebwa mu kusinza, ng’ekigambo kya Yakuwa bwe kyali ekyalangirirwa omusajja wa Katonda ow’amazima eyalagula nti bino byali bya kubaawo.+ 17 Awo Yosiya n’abuuza nti: “Amalaalo gali ge nnengera g’ani?” Abasajja b’omu kibuga ne bamuddamu nti: “Ge malaalo g’omuweereza wa Katonda ow’amazima eyava mu Yuda+ n’alagula ebintu bino by’okoze ekyoto ky’e Beseri.” 18 Awo n’agamba nti: “Mumuleke. Tewabaawo muntu yenna ataataaganya amagumba ge.” Ne batataataaganya magumba ge n’aga nnabbi eyava e Samaliya.+
19 Amasinzizo gonna agaali ku bifo ebigulumivu agaali mu bibuga by’e Samaliya,+ bakabaka ba Isirayiri ge baali bazimbye okunyiiza Katonda, Yosiya yagaggyawo, n’agakola ekyo kye yakola e Beseri.+ 20 Awo n’attira ku byoto bakabona bonna ab’ebifo ebigulumivu abaali eyo, era n’ayokera n’amagumba g’abantu ku byoto ebyo,+ oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi.
21 Awo kabaka n’alagira abantu bonna nti: “Mukwate embaga ey’Okuyitako+ eya Yakuwa Katonda wammwe, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino eky’endagaano.”+ 22 Waali tewabangawo mbaga ey’Okuyitako ng’eyo, okuviira ddala mu biseera by’abalamuzi abaalamulanga Isirayiri, wadde mu biseera bya bakabaka ba Isirayiri n’aba Yuda.+ 23 Naye mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Kabaka Yosiya, embaga ya Yakuwa eyo ey’Okuyitako yakwatibwa mu Yerusaalemi.
24 Yosiya era yaggyawo abalubaale, n’abalaguzi,+ n’ebifaananyi bya baterafi,*+ n’ebifaananyi ebyenyinyaza, n’ebintu ebirala byonna ebyenyinyaza ebyali mu nsi ya Yuda ne mu Yerusaalemi, okusobola okussa mu nkola ebigambo by’Amateeka+ ebyali biwandiikiddwa mu kitabo kabona Kirukiya kye yazuula mu nnyumba ya Yakuwa.+ 25 Waali tewabangawo kabaka alinga ye mu abo abaamusooka, eyadda eri Yakuwa n’omutima gwe gwonna n’obulamu bwe bwonna+ n’amaanyi ge gonna, n’atuukiriza byonna ebyali mu Mateeka ga Musa; era tewaddawo kabaka mulala alinga ye.
26 Naye Yakuwa yasigala akyasunguwalidde nnyo Yuda olw’ebintu ebibi byonna Manase bye yakola okumunyiiza.+ 27 Yakuwa yagamba nti: “Ne Yuda nja kugiggyawo mu maaso gange+ nga bwe nnaggyawo Isirayiri;+ nja kwesamba ekibuga kino Yerusaalemi kye nnalonda, era n’ennyumba gye nnayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabeeranga omwo.’”+
28 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Yosiya, ebyo byonna bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda. 29 Mu biseera bye, Falaawo Neeko kabaka wa Misiri yagenda okusisinkana kabaka wa Bwasuli ku Mugga Fulaati, Kabaka Yosiya n’agenda okumwaŋŋanga; naye Neeko bwe yalaba Yosiya, n’amuttira e Megiddo.+ 30 Awo abaweereza be ne bateeka omulambo gwe mu ggaali, ne bamuggya e Megiddo ne bamutwala e Yerusaalemi ne bamuziika mu ntaana ye. Oluvannyuma lw’ekyo abantu b’omu Yuda ne bafuka amafuta ku mutabani we Yekoyakazi, ne bamufuula kabaka n’atandika okufuga mu kifo kya kitaawe.+
31 Yekoyakazi+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 23, era yafugira mu Yerusaalemi emyezi esatu. Nnyina yali ayitibwa Kamutali+ muwala wa Yeremiya ow’e Libuna. 32 Yatandika okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa, nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakola.+ 33 Falaawo Neeko+ yamusibira mu kkomera e Libula+ mu kitundu ky’e Kamasi amulemese okufuga mu Yerusaalemi, era ensi n’agitanza ttalanta* 100 eza ffeeza ne ttalanta emu eya zzaabu.+ 34 Ate era Falaawo Neeko yaddira Eriyakimu mutabani wa Yosiya n’amufuula kabaka n’adda mu kifo kya Yosiya kitaawe, era n’akyusa erinnya lye n’amutuuma Yekoyakimu; naye yatwala Yekoyakazi e Misiri,+ gye yafiira.+ 35 Yekoyakimu yawa Falaawo ffeeza ne zzaabu, naye yalina okuweesa abantu ab’omu nsi ye omusolo okusobola okufuna ffeeza Falaawo gwe yali amusabye. Buli muntu mu nsi ye yamugerekera obungi bwa ffeeza ne zzaabu ow’okuwa Falaawo Neeko.
36 Yekoyakimu+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 25, era yafugira mu Yerusaalemi emyaka 11.+ Nnyina yali ayitibwa Zebida muwala wa Pedaya ow’e Luuma. 37 Yeeyongera okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa,+ nga byonna bwe byali bajjajjaabe bye baakola.+