Kaggayi
1 Mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwa Kabaka Daliyo, mu mwezi ogw’omukaaga, ku lunaku olusooka, ekigambo kya Yakuwa kyajja eri Zerubbaberi+ mutabani wa Seyalutyeri, gavana wa Yuda, ne Yoswa kabona asinga obukulu, mutabani wa Yekozadaki, okuyitira mu nnabbi Kaggayi,*+ nga kigamba nti:
2 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Abantu bano bagamba nti, “Ekiseera eky’okuzimba* ennyumba* ya Yakuwa tekinnatuuka.”’”+
3 Ekigambo kya Yakuwa ne kijjira nnabbi Kaggayi+ nate nga kigamba nti: 4 “Kino kye kiseera mmwe okubeera mu nnyumba ezaayooyootebwa n’embaawo ennungi ng’ennyumba yange erekeddwa awo etyo ng’ekifulukwa?+ 5 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Mufumiitirize* ku makubo gammwe. 6 Musiga ensigo nnyingi naye mukungula bitono.+ Mulya naye temukkuta. Munywa naye temumatira.* Mwambala engoye naye tewali abuguma. Oyo apakasa, ssente z’afuna aziteeka mu nsawo ejjudde ebituli.’”
7 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Mufumiitirize* ku makubo gammwe.’
8 “‘Mugende ku lusozi muleete emiti+ muzimbe ennyumba,+ ngisanyukire era ngulumizibwe,’+ Yakuwa bw’agamba.”
9 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: ‘Mwali musuubira bingi naye mwafuna bitono; era bwe mwabireeta eka nnabifuuwa ne bisaasaana.+ Lwa nsonga ki? Olw’okuba ennyumba yange erekeddwa awo etyo ng’ekifulukwa, kyokka nga buli omu ku mmwe yeetala afa ku nnyumba ye.+ 10 Eggulu kyerivudde litagwisa musulo, n’ettaka ne litabaza mmere. 11 Nnaleetanga ekyeya ku nsi, ne ku nsozi, ne ku mmere, ne ku mwenge omusu, ne ku mafuta, ne ku ebyo ebimera ku ttaka, ne ku bantu, ne ku nsolo ezirundibwa, ne ku mirimu gyonna egy’emikono gyammwe.’”
12 Awo Zerubbaberi+ mutabani wa Seyalutyeri,+ ne Yoswa kabona asinga obukulu, mutabani wa Yekozadaki,+ n’abantu abalala bonna ne bawuliriza eddoboozi lya Yakuwa Katonda waabwe, n’ebigambo bya nnabbi Kaggayi, kubanga Yakuwa Katonda waabwe ye yali amutumye; abantu ne batandika okutya olwa Yakuwa.
13 Kaggayi omubaka wa Yakuwa n’awa abantu obubaka nga Yakuwa bwe yali amutumye, n’agamba nti: “‘Ndi wamu nammwe,’+ Yakuwa bw’agamba.”
14 Awo Yakuwa n’ateeka mu Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, gavana wa Yuda,+ ne mu Yoswa+ kabona asinga obukulu, mutabani wa Yekozadaki, ne mu bantu abalala bonna, omwoyo ogwagala okukola;+ ne bajja ne batandika okukola ku nnyumba ya Yakuwa ow’eggye, Katonda waabwe.+ 15 Lwali lunaku olw’abiri mu ennya olw’omwezi ogw’omukaaga mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwa Kabaka Daliyo.+