Malaki
1 Ekirangiriro:
Ekigambo kya Yakuwa eri Isirayiri okuyitira mu Malaki:*
2 “Mbalaze okwagala,”+ Yakuwa bw’agamba.
Naye mugamba nti: “Otulaze otya okwagala?”
“Esawu teyali muganda wa Yakobo?”+ Yakuwa bw’agamba. “Naye nnayagala Yakobo, 3 ne nkyawa Esawu;+ ensozi ze nnazifuula matongo,+ era obusika bwe nnabuwa ebibe eby’omu ddungu.”+
4 “Wadde Edomu agamba nti, ‘Tubetenteddwa naye tujja kudda tuzimbe ebifo ebyayonoonebwa,’ bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Balizimba naye nze ndibimenyawo, ekifo ekyo kiriyitibwa “kitundu eky’ebikolwa ebibi” era baliyitibwa “abantu Yakuwa be yasalira omusango emirembe n’emirembe.”+ 5 Amaaso gammwe galikiraba, era muligamba nti: “Yakuwa k’agulumizibwe mu nsi ya Isirayiri.”’”
6 “‘Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa,+ n’omuddu assaamu mukama we ekitiibwa. Kale obanga ndi kitammwe,+ lwaki temunzisaamu kitiibwa?+ Era obanga ndi Mukama wammwe, lwaki temuntya?’* Yakuwa ow’eggye bw’abagamba mmwe bakabona abanyooma erinnya lyange.+
“‘Naye mugamba nti: “Erinnya lyo tulinyoomye tutya?”’
7 “‘Nga muwaayo emmere ennyonoonefu* ku kyoto kyange.’
“‘Era mugamba nti: “Tutyobodde tutya ekitiibwa kyo?”’
“‘Nga mugamba nti: “Emmeeza ya Yakuwa+ terina kuweebwa kitiibwa.” 8 Bwe muleeta ensolo enzibe y’amaaso okugiwaayo nga ssaddaaka mugamba nti: “Tetulina kikyamu kye tukoze.” Era bwe muleeta ensolo ennema oba endwadde mugamba nti: “Tetulina kikyamu kye tukoze.”’”+
“Buli omu ku mmwe agezeeko okugitwalira gavana we alabe. Anaakusanyukira, oba anaakwaniriza n’essanyu?” Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
9 “Kaakano mwegayirire Katonda atukwatirwe ekisa. Bwe muleeta ebiweebwayo bwe bityo, waliwo ku mmwe gw’ayinza okwaniriza n’essanyu?” Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
10 “Ani ku mmwe omwetegefu okuggala enzigi?*+ Temuyinza na kukuma kyoto kyange ku bwereere!+ Sibasanyukira n’akatono,” Yakuwa ow’eggye bw’agamba, “era n’ebiweebwayo byammwe tebinsanyusa.”+
11 “Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba erinnya lyange liriba kkulu mu mawanga.+ Omukka gwa ssaddaaka gulinyookezebwa mu buli kifo, era ebiweebwayo biriweebwayo eri erinnya lyange, ng’ekirabo ekirongoofu; kubanga erinnya lyange liriba kkulu mu mawanga,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.
12 “Naye mulivvoola*+ nga mugamba nti, ‘Emmeeza ya Yakuwa si nnongoofu, era n’ebiweebwayo ebigiteekebwako tebirina kuweebwa kitiibwa.’+ 13 Era mugamba nti, ‘Nga bikooya!’ era mubyenyinyimbwa,” Yakuwa ow’eggye bw’agamba. “Muleeta ensolo ezabbibwa, ennema, n’endwadde ne muzimpa ng’ekirabo. Mulowooza nsobola okukikkiriza?”+ Yakuwa bw’agamba.
14 “Omulimba alina ensolo ennamu obulungi mu kisibo kye, naye ne yeeyama n’awaayo eri Yakuwa etali nnungi,* akolimirwe. Nze ndi Kabaka mukulu,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba, “era erinnya lyange liriba lya ntiisa mu mawanga.”+