Ekyabalamuzi
14 Awo Samusooni n’aserengeta e Timuna n’alabayo omukazi Omufirisuuti.* 2 N’agenda n’agamba kitaawe ne nnyina nti: “Waliwo omukazi Omufirisuuti gwe ndabye e Timuna; njagala mumunfunire abe mukazi wange.” 3 Naye kitaawe ne nnyina ne bamugamba nti: “Mu b’eŋŋanda zo oba mu bantu baffe bonna tosobola kufunamu mukazi?+ Mu Bafirisuuti abatali bakomole gy’oyagala okuggya omukazi? Kyokka Samusooni n’agamba kitaawe nti: “Oyo gw’oba onfunira kubanga y’ansaanira.”* 4 Kitaawe ne nnyina baali tebamanyi nti ekyo kyali kivudde eri Yakuwa, era nti yali anoonya kakisa okulwanyisa Abafirisuuti, kubanga mu kiseera ekyo Abafirisuuti be baali bafuga Isirayiri.+
5 Awo Samusooni n’agenda ne kitaawe ne nnyina e Timuna. Bwe yatuuka ku nnimiro z’emizabbibu ez’e Timuna, empologoma n’ejja gy’ali ng’ewuluguma. 6 Omwoyo gwa Yakuwa ne gumuwa amaanyi+ n’agiyuzaamu ebitundu bibiri, ng’omuntu bwe yandiyuzizzaamu omwana gw’embuzi n’emikono gye. Naye teyabuulira kitaawe ne nnyina kye yali akoze. 7 Awo n’aserengeta n’ayogera n’omukazi era n’akakasiza ddala nti omukazi oyo ye yali amusaanira.+
8 Oluvannyuma bwe yali addayo okukima mukazi we amuleete ewuwe,+ n’akyama okulaba empologoma gye yatta, era laba, mu mutulumbi gwayo mwalimu enjuki n’omubisi gw’enjuki. 9 N’aguwakula n’aguteeka mu ngalo ze n’agenda nga bw’alya. Bwe yatuuka ku kitaawe ne nnyina n’abawaako ne balya, naye n’atababuulira nti yali aguwakudde mu mutulumbi gw’empologoma.
10 Awo kitaawe n’agenda ew’omuwala; Samusooni n’akolera eyo embaga, kubanga abavubuka bwe batyo bwe baakolanga. 11 Bwe baamulaba, ne baleeta abasajja 30 okuba emperekeze ze. 12 Samusooni n’abagamba nti: “Ka mbakokyere ekikokyo. Bwe munambuulira amakulu gaakyo mu nnaku omusanvu ez’embaga, nja kubawa engoye eza kitaani 30 n’emiteeko gy’engoye 30. 13 Naye bwe munaalemererwa okumbuulira amakulu gaakyo, mujja kumpa engoye eza kitaani 30 n’emiteeko gy’engoye 30.” Awo ne bamugamba nti: “Kokya ekikokyo kyo tukiwulire.” 14 N’abagamba nti:
“Mu kirya mwavaamu eky’okulya,
Mu ky’amaanyi mwavaamu ekiwoomerera.”+
Ennaku ssatu ne ziggwaako nga tebasobodde kumubuulira makulu gaakyo. 15 Ku lunaku olw’okuna ne bagamba muka Samusooni nti: “Kemekkereza bbaawo+ atubuulire amakulu g’ekikokyo; bw’otookole bw’otyo tujja kukwokya ggwe n’ennyumba ya kitaawo. Mwatuyita kutwala bintu byaffe?” 16 Awo muka Samusooni n’atandika okukaabira mu maaso ge, n’amugamba nti: “Wankyawa, tokyanjagala.+ Olina ekikokyo kye wakokyera abantu bange naye tewambuulira makulu gaakyo.” Samusooni n’amugamba nti: “Saakibuulira kitange wadde mmange, ggwe gwe mba nkibuulira?” 17 Naye muka Samusooni ne yeeyongera okukaabira mu maaso ge okumala ennaku omusanvu ez’embaga, era ku lunaku olw’omusanvu Samusooni n’amubuulira, olw’okuba yamubeeba. Omukazi n’abuulira abantu be amakulu g’ekikokyo.+ 18 Ku lunaku olw’omusanvu ng’enjuba tennagwa,* abasajja b’omu kibuga ne bamugamba nti:
“Kiki ekisinga omubisi gw’enjuki okuwooma,
Era kiki ekisinga empologoma amaanyi?”+
Awo ye n’abagamba nti:
“Singa temwalimisizza nte yange ento,+
Temwanditegedde makulu ga kikokyo kyange.”
19 Omwoyo gwa Yakuwa ne gumuwa amaanyi,+ n’agenda mu Asukulooni+ n’atta abasajja baabwe 30, n’abambula engoye n’aziwa abaamubuulira amakulu g’ekikokyo.+ Awo n’agenda ewa kitaawe ng’akyaliko obusungu.
20 Muka Samusooni+ n’aweebwayo eri omu ku basajja abaali emperekeze ze.+