Isaaya
26 Ku lunaku olwo oluyimba luno luliyimbibwa+ mu nsi ya Yuda:+
“Tulina ekibuga eky’amaanyi.+
Obulokozi abufuula bbugwe waakyo era bigo byakyo.+
5 Kubanga assizza wansi abo ababeera waggulu, ekibuga ekigulumivu.
Akissa wansi,
Akissa wansi ku ttaka;
Akisuula wansi mu nfuufu.
6 Ekigere kirikirinnyirira,
Ebigere by’omunaku, ebigere by’omunkuseere.”
7 Ekkubo ly’omutuukirivu ggolokofu.*
Olw’okuba oli mugolokofu,
Olitereeza ekkubo ly’omutuukirivu.
8 Essuubi lyaffe liba mu ggwe,
Nga tutambulira mu kkubo lyo ery’obwenkanya, Ai Yakuwa.
Twagala nnyo erinnya lyo n’ekijjukizo kyo.*
9 Ekiro nzenna nkulumirwa omwoyo,
Omwoyo gwange gukunoonya;+
Kubanga bw’olamula ensi,
Ababeera mu nsi bayiga ebikwata ku butuukirivu.+
11 Ai Yakuwa, omukono gwo gugoloddwa naye tebagulaba.+
Baliraba okwagala okw’amaanyi kw’olaga abantu bo ne bakwatibwa ensonyi.
Omuliro gwo gulisaanyaawo abalabe bo.
12 Ai Yakuwa, olituwa emirembe.+
Kubanga byonna bye tukola
Ggwe otusobozesa okubikola.
13 Ai Yakuwa Katonda waffe, abaami abalala abatali ggwe batufuze,+
Naye linnya lyo lyokka lye twogerako.+
14 Baafa; tebaliba balamu.
Tebakyalina maanyi, tebaliyimuka.+
Obataddeko ebirowoozo
Okubazikiriza n’okubasaanyaawo baleme kuddamu kujjukirwa.
Ensalo zonna ez’ensi ozongezzaayo nnyo.+
16 Ai Yakuwa, bwe baali mu buyinike badda gy’oli;
Bwe wabakangavvula, baasaba essaala mu kaama.+
17 Ng’omukazi anaatera okuzaala
Bw’alumwa ebisa n’akaaba ng’ali mu bulumi,
Bwe tutyo naffe bwe tubadde olw’okubeera ggwe, Ai Yakuwa.
18 Twaba olubuto era ne tulumwa ebisa,
Naye tulinga abaazaala empewo.
Tetuleese bulokozi mu nsi,
Era tewali n’omu azaaliddwa okubeera mu nsi.
19 “Abafu bo baliba balamu.
Muzuukuke mwogerere waggulu n’essanyu
Mmwe ababeera mu nfuufu!+
Kubanga omusulo gwo gulinga omusulo ogw’oku makya,
Era ettaka liriwandula* abafu abalirimu.
Mwekweke okumala akaseera katono
Okutuusa obusungu lwe bunaggwaawo.+
21 Laba! Yakuwa ajja ng’ava gy’abeera
Okuvunaana ab’omu nsi olw’ebibi byabwe,
Era ensi ejja kulaga omusaayi gwayo ogwayiibwa
Era tejja kwongera kubikka ku baayo abattibwa.”