1 Bassekabaka
17 Awo Eriya*+ Omutisubi ow’omu Gireyaadi+ n’agamba Akabu nti: “Nga Yakuwa Katonda wa Isirayiri gwe mpeereza* bw’ali omulamu, tewajja kubaawo musulo wadde enkuba mu myaka gino, okuggyako nga ŋŋambye nti bibeewo!”+
2 Awo Yakuwa n’amugamba nti: 3 “Va wano ogende ebuvanjuba, weekweke okumpi n’Ekiwonvu* Kerisi, ekiri ebuvanjuba wa Yoludaani. 4 Ojja kuggya amazzi ag’okunywa mu kagga, era nja kulagira nnamuŋŋoona zikuleeterenga eyo eby’okulya.”+ 5 Amangu ago Eriya n’akola nga Yakuwa bwe yamulagira, n’agenda n’abeera okumpi n’Ekiwonvu* Kerisi, ekiri ebuvanjuba wa Yoludaani. 6 Nnamuŋŋoona zaamuleeteranga emmere n’ennyama ku makya n’akawungeezi, era yanywanga amazzi ag’omu kagga.+ 7 Naye oluvannyuma lw’ekiseera, akagga kaakalira+ olw’okuba enkuba yali tetonnya mu nsi.
8 Awo Yakuwa n’amugamba nti: 9 “Yimuka ogende e Zalefaasi eky’omu Sidoni, obeere eyo. Nja kulagira nnamwandu akuwenga emmere.”+ 10 N’ayimuka n’agenda e Zalefaasi. Bwe yatuuka ku mulyango oguyingira mu kibuga, n’asangawo nnamwandu ng’alonderera obuku. Eriya n’amuyita n’amugamba nti: “Nkwegayiridde, ndeetera ku mazzi mu kikopo nnyweko.”+ 11 Omukazi bwe yali agenda okugamuleetera, Eriya n’amuyita n’amugamba nti: “Nkwegayiridde, ndeeteraayo n’akagaati.” 12 Naye omukazi n’amugamba nti: “Nga Yakuwa Katonda wo bw’ali omulamu, sirina kagaati, wabula obuwunga butono nnyo mu nsumbi ennene n’otufuta tw’ezzeyituuni mu kasumbi akatono.+ Kaakano nnonderera obuku, nzireyo eka nneefumbire akamere nze n’omwana wange, bwe tunaamala okukalya tufe.”
13 Awo Eriya n’amugamba nti: “Totya. Genda okole nga bw’ogambye. Naye ku buwunga bw’osigazzaayo sooka onfumbireko akagaati akeetooloovu okandeetere, n’oluvannyuma obeeko kye weefumbira ggwe n’omwana wo. 14 Kubanga bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: ‘Ensumbi ennene tejja kuggwaamu buwunga, era n’akasumbi akatono tekajja kuggwaamu mafuta g’ezzeyituuni okutuusa ku lunaku Yakuwa lw’alitonnyesa enkuba ku nsi.’”+ 15 Awo omukazi n’agenda n’akola nga Eriya bwe yamugamba, era omukazi oyo n’ab’omu maka ge awamu n’Eriya baalina eby’okulya okumala ennaku nnyingi.+ 16 Ensumbi ennene teyaggwaamu buwunga, n’akasumbi akatono tekaggwaamu mafuta g’ezzeyituuni, nga Yakuwa bwe yali ayogedde okuyitira mu Eriya.
17 Oluvannyuma lw’ebyo, mutabani w’omukazi oyo nnannyini nnyumba n’alwala, obulwadde ne bunyiinyiitira, n’alekera awo okussa.+ 18 Awo omukazi n’agamba Eriya nti: “Onnanga ki ggwe omusajja wa Katonda ow’amazima? Wajja kunzijukiza bibi byange na kutta mwana wange?”+ 19 Naye Eriya n’amugamba nti: “Mpa omwana wo.” Eriya n’aggya omwana ku maama we n’amwambusa mu kisenge ekyali waggulu ku nnyumba mwe yasulanga n’amugalamiza ku kitanda kye.+ 20 N’akoowoola Yakuwa ng’agamba nti: “Ai Yakuwa Katonda wange,+ otuusizza akabi ne ku nnamwandu ono ansuza, n’otta omwana we?” 21 Awo ne yeegololera ku mwana emirundi esatu, n’akoowoola Yakuwa ng’agamba nti: “Ai Yakuwa Katonda wange, nkwegayiridde, omwana k’addemu obulamu.” 22 Yakuwa n’awuliriza Eriya kye yamusaba,+ omwana n’addamu obulamu, n’alamuka.+ 23 Eriya n’asitula omwana n’amuggya mu kisenge ekyali waggulu ku nnyumba n’amuserengesa mu nnyumba n’amuwa nnyina; Eriya n’amugamba nti: “Laba, omwana wo mulamu.”+ 24 Awo omukazi n’agamba Eriya nti: “Kaakano ntegeeredde ddala nti oli musajja wa Katonda+ era nti ekigambo kya Yakuwa ky’oyogedde kya mazima.”