Olubereberye
31 Oluvannyuma n’awulira abaana ba Labbaani bye baali boogera nti: “Yakobo atutte byonna ebyali ebya kitaffe; era mu bintu bya kitaffe mw’aggye obugagga obwo bwonna.”+ 2 Yakobo bwe yatunuuliranga Labbaani mu maaso, yalabanga nga takyali wa mukwano gy’ali nga bwe yali mu kusooka.+ 3 Oluvannyuma Yakuwa n’agamba Yakobo nti: “Ddayo mu nsi ya bakitaabo, mu b’eŋŋanda zo,+ era nja kweyongera okubeera naawe.” 4 Awo Yakobo n’atumya Laakeeri ne Leeya bajje ku ttale awaali ekisibo kye, 5 n’abagamba nti:
“Bwe ntunuulira amaaso ga kitammwe, ndaba nga takyali wa mukwano gye ndi nga bwe yali mu kusooka;+ naye Katonda wa kitange abadde nange.+ 6 Era nammwe kennyini mukimanyi nti mpeerezza kitammwe n’amaanyi gange gonna.+ 7 Kitammwe agezezzaako okunziba era akyusizzakyusizza empeera yange emirundi kkumi, naye Katonda tamukkirizza kunkolako kabi. 8 Bwe yagambanga nti, ‘Eza bujjagijjagi ze zinaabanga empeera yo,’ ng’ekisibo kyonna kizaala za bujjagijjagi; naye bwe yagambanga nti, ‘Eza kiwuuga ze zinaabanga empeera yo,’ ng’ekisibo kyonna kizaala za kiwuuga.+ 9 Bw’atyo Katonda n’agenda ng’aggyako kitammwe ebisibo ng’abiwa nze. 10 Lumu ebisolo bwe byasala, nnayimusa amaaso ne ndaba mu kirooto ng’embuzi ennume ezaali zirinnyira ekisibo zaali za kiwuuga, za bujjagijjagi, n’eza bitanga.+ 11 Awo malayika wa Katonda ow’amazima n’ampita mu kirooto nti, ‘Yakobo!’ ne mmuddamu nti, ‘Nzuuno.’ 12 N’aŋŋamba nti: ‘Yimusa amaaso go olabe; embuzi zonna ennume ezirinnyira ekisibo za kiwuuga, za bujjagijjagi, n’eza bitanga, kubanga ndabye byonna Labbaani by’akukola.+ 13 Nze Katonda ow’amazima ow’e Beseri+ gye wafukira amafuta ku jjinja ery’ekijjukizo, era gye weeyamira obweyamo gye ndi.+ Kaakano situka ove mu nsi eno oddeyo mu nsi gye wazaalibwa.’”+
14 Awo Laakeeri ne Leeya ne bamuddamu nti: “Mu nnyumba ya kitaffe tukyalinamu omugabo ogw’okusikira? 15 Tatutwala nga bagwira okuva lwe yatutunda? Era ne ssente ezaamuweebwa ku lwaffe si z’abadde akozesa?+ 16 Obugagga bwonna Katonda bw’aggye ku kitaffe bwaffe n’abaana baffe.+ N’olwekyo kola byonna Katonda by’akugambye.”+
17 Awo Yakobo n’asituka n’assa abaana be ne bakazi be ku ŋŋamira,+ 18 n’atwala ebisibo bye byonna n’ebintu byonna bye yali akuŋŋaanyizza,+ ebisibo bye yali afunye mu Padanalaamu, n’agenda eri kitaawe Isaaka mu nsi ya Kanani.+
19 Labbaani bwe yali agenze okusala ebyoya by’endiga ze, Laakeeri n’abba ebifaananyi bya kitaawe ebya baterafi.*+ 20 Yakobo n’asinza Labbaani Omwalameeya amagezi, kubanga yagenda tamugambye kintu kyonna. 21 N’adduka ne byonna bye yalina n’asomoka Omugga.*+ Oluvannyuma n’ayolekera ekitundu ky’e Gireyaadi eky’ensozi.+ 22 Ku lunaku olw’okusatu ne babuulira Labbaani nti Yakobo yali adduse. 23 Awo n’atwala baganda be,* n’awondera Yakobo olugendo lwa nnaku musanvu, n’amusanga mu kitundu ky’e Gireyaadi eky’ensozi. 24 Katonda n’ajjira Labbaani Omwalameeya+ ekiro mu kirooto,+ n’amugamba nti: “Weegendereze by’onoogamba Yakobo, ka bibe birungi oba bibi.”*+
25 Awo Labbaani n’atuuka awaali Yakobo. Yakobo yali asimbye weema ze ku lusozi, ate Labbaani ne baganda be baali basiisidde mu kitundu ky’e Gireyaadi eky’ensozi. 26 Labbaani n’agamba Yakobo nti: “Okoze ki kino? Lwaki wansalira amagezi n’otwala bawala bange ng’abawambe abatwaliddwa n’ekitala? 27 Lwaki wansalira amagezi n’ogenda mu kyama nga toŋŋambye? Singa waŋŋamba nnandibadde nkusiibula mu ssanyu, mu kuyimba, awamu n’obugoma n’entongooli. 28 Naye tewampa kakisa kunywegera bazzukulu* bange ne bawala bange. Ky’okoze kya busirusiru. 29 Nnina obuyinza okubakolako akabi, naye Katonda wa kitammwe yayogedde nange ekiro n’aŋŋamba nti, ‘Weegendereze by’onoogamba Yakobo, ka bibe birungi oba bibi.’+ 30 Kaakano ogenze olw’okuba obadde oyagala okuddayo eri ennyumba ya kitaawo, naye lwaki obbye bakatonda bange?”+
31 Yakobo n’addamu Labbaani nti: “Nnatya, kubanga nnalowooza nti oyinza okunzigyako bawala bo olw’empaka. 32 Oyo yenna gw’onoosanga ne bakatonda bo attibwe. Mu maaso ga baganda baffe, noonya mu bintu byange oggyemu ebibyo.” Naye Yakobo yali tamanyi nti Laakeeri yali ababbye. 33 Awo Labbaani n’ayingira mu weema ya Yakobo, ne mu weema ya Leeya, ne mu weema y’abazaana ababiri,+ naye n’atabasangamu. Oluvannyuma n’afuluma mu weema ya Leeya n’ayingira mu weema ya Laakeeri. 34 Laakeeri yali atutte ebifaananyi bya baterafi ng’abitadde mu kitebe abakazi kye batuulako nga bali ku ŋŋamira era ng’abituddeko. Labbaani n’ayaza weema yonna naye n’atabizuula. 35 Awo Laakeeri n’agamba kitaawe nti: “Mukama wange tosunguwala; siyinza kuyimirira mu maaso go kubanga ndi mu kiseera eky’empisa y’abakazi eya buli mwezi.”+ Bw’atyo n’ayongera okunoonya n’obwegendereza naye n’atazuula bifaananyi bya baterafi.+
36 Yakobo n’asunguwala n’atandika okuyombesa Labbaani, n’amugamba nti: “Kiki kye nsobezza, era kibi ki kye nkoze okumpondera bw’otyo? 37 Kaakano ng’omaze okwaza mu bintu byange byonna, kintu ki eky’omu nnyumba yo ky’ozudde? Kiteeke wano mu maaso ga baganda bange ne baganda bo batusalirewo. 38 Emyaka gino 20 gye mbadde naawe, endiga zo n’embuzi zo tezisowolangako,+ era siryangako ku ndiga nnume ez’omu kisibo kyo. 39 Sikuleeterangako nsolo etaaguddwataaguddwa ensolo ez’omu nsiko.+ Nze nnagifiirwanga. Ensolo eyabbibwanga emisana oba eyo eyabbibwanga ekiro waginsasuzanga. 40 Emisana omusana gwanjokyanga, ate ekiro empewo n’enfuuwa era otulo ne tumbula.+ 41 Mmaze mu nnyumba yo emyaka 20. Nnakuweereza emyaka 14 olwa bawala bo bombi, ate ne nkuweereza emyaka 6 olw’ebisibo byo; era wakyusakyusa empeera yange emirundi kkumi.+ 42 Singa Katonda wa kitange,+ Katonda wa Ibulayimu, era Katonda Isaaka gw’atya*+ teyali nange, wandibadde onsindika ngalo nsa. Katonda alabye ennaku yange n’okutegana kwange era kyeyavudde akulabula ekiro.”+
43 Awo Labbaani n’addamu Yakobo nti: “Abawala bano bawala bange, n’abaana bano baana bange, n’ebisibo bino bisibo byange, era ne byonna by’olaba byange ne bawala bange. Kale, kiki kye nnyinza okubakola bano leero, oba kiki kye nnyinza okukola abaana baabwe be bazadde? 44 Kale kaakano jjangu tukole endagaano, era ejja kuba ng’omujulirwa wakati waffe.” 45 Awo Yakobo n’addira ejjinja n’alisimba okuba empagi.+ 46 Yakobo n’agamba baganda be nti: “Mulonde amayinja!” Ne balonda amayinja ne bakola entuumu. Oluvannyuma ne baliira awo ku ntuumu y’amayinja. 47 Labbaani n’agituuma Yegalu-sakadusa,* naye Yakobo n’agituuma Galeedi.*
48 Labbaani n’agamba nti: “Entuumu eno ey’amayinja ye mujulirwa wakati wange naawe leero.” Eyo ye nsonga lwaki yagituuma Galeedi,+ 49 era Misupa,* kubanga yagamba nti: “Yakuwa atutunuulirenga ggwe nange bwe tunaaba nga tetukyalabagana. 50 Bw’onoobonyaabonya bawala bange era n’otandika okuwasa abakazi abalala n’obongera ku bawala bange, kijjukire nti ne bwe wataabe muntu akiraba, Katonda ajja kuba mujulirwa wakati wo nange.” 51 Labbaani era n’agamba Yakobo nti: “Eno ye ntuumu y’amayinja era eno ye mpagi gye nsimbye wakati wo nange. 52 Entuumu y’amayinja eno ye mujulirwa era empagi eno y’ewa obujulirwa+ nti siriyita ku ntuumu y’amayinja eno kujja gy’oli okukukola akabi, era naawe toliyita ku ntuumu y’amayinja eno kujja gye ndi okunkolako akabi. 53 Kale Katonda wa Ibulayimu,+ Katonda wa Nakoli, era Katonda wa kitaabwe k’atulamule.” Naye Yakobo n’alayira Oyo kitaawe Isaaka gwe yali atya.*+
54 Ebyo bwe byaggwa, Yakobo n’awaayo ssaddaaka ku lusozi n’ayita baganda be okulya emmere. Ne balya, ne basula eyo ku lusozi. 55 Labbaani n’agolokoka ku makya ennyo n’anywegera bazzukulu*+ be ne bawala be era n’abawa omukisa.+ Awo n’asitula n’addayo ewuwe.+