Ebikolwa
6 Mu nnaku ezo, abayigirizwa bwe baali nga beeyongera obungi, Abayudaaya abaali boogera Oluyonaani beemulugunya ku Bayudaaya abaali boogera Olwebbulaniya, olw’okuba bannamwandu baabwe tebaaweebwanga mmere eyagabibwanga buli lunaku.+ 2 Awo abatume ekkumi n’ababiri ne bayita abayigirizwa bonna ne babagamba nti: “Si kituufu* ffe okuleka omulimu gw’okuyigiriza ekigambo kya Katonda ne tukola ogw’okugaba emmere.+ 3 N’olwekyo ab’oluganda, mulonde abasajja musanvu mu mmwe abeesigika,*+ abajjudde omwoyo omutukuvu n’amagezi,+ tubakwase omulimu ogwo;+ 4 naye ffe tujja kwemalira ku kusaba n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda.” 5 Kye baayogera ne kisanyusa abayigirizwa bonna, ne balonda Siteefano, omusajja eyali ajjudde okukkiriza n’omwoyo omutukuvu, awamu ne Firipo,+ Pulokolo, Nikanoli, Timooni, Palumena, ne Nikolaawo omukyufu ow’e Antiyokiya, 6 ne babaleeta eri abatume, era bwe baamala okusaba, ne babassaako emikono.+
7 Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna,+ era omuwendo gw’abayigirizwa ne gweyongera nnyo+ mu Yerusaalemi, era ne bakabona bangi ne bafuuka abakkiriza.+
8 Siteefano, ng’ajjudde ekisa n’amaanyi ga Katonda, yali akola ebyamagero n’obubonero mu bantu. 9 Naye abasajja abamu ab’ekibiina ekiyitibwa Ekuŋŋaaniro ly’Abanunule, n’Abakuleene, n’Abalekizandiriya, n’abamu abaali bavudde e Kirikiya ne mu Asiya ne bajja ne batandika okuwakana ne Siteefano. 10 Naye tebaamusobola olw’amagezi ge n’omwoyo omutukuvu ogwamuwanga obulagirizi ng’ayogera.+ 11 Awo ne basendasenda abasajja mu kyama okugamba nti: “Twamuwulira ng’ayogera ebintu ebivvoola Musa ne Katonda.” 12 Ne bakuma omuliro mu bantu, mu bakadde, ne mu bawandiisi, ne bamuyiikira ne bamukwata lwa mpaka ne bamutwala mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya. 13 Ne baleeta abajulizi ab’obulimba abaagamba nti: “Omusajja ono bulijjo ayogera bubi ku kifo kino ekitukuvu ne ku Mateeka. 14 Ng’ekyokulabirako, twamuwulira ng’agamba nti Yesu Omunnazaaleesi ajja kumenya ekifo kino ekitukuvu era akyuse n’empisa Musa ze yatugamba okugoberera.”
15 Abo bonna abaali mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya bwe baamutunuulira, ne balaba nga mu maaso alinga malayika.