Okubikkulirwa
5 Ne ndaba omuzingo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka+ nga guwandiikiddwako munda ne kungulu, era nga gusibiddwa n’obubonero musanvu. 2 Ne ndaba malayika ow’amaanyi ng’alangirira n’eddoboozi ery’omwanguka nti: “Ani agwanidde okwanjuluza omuzingo n’okubembula obubonero bwagwo?” 3 Naye tewaali n’omu mu ggulu wadde ku nsi, wadde wansi mu ttaka eyali ayinza okwanjuluza omuzingo oba okugutunulamu. 4 Ne nkaaba nnyo kubanga tewaali n’omu eyali agwanira okwanjuluza omuzingo oba okugutunulamu. 5 Naye omu ku bakadde n’aŋŋamba nti: “Lekera awo okukaaba. Laba! Empologoma y’omu kika kya Yuda,+ ekikolo+ kya Dawudi,+ yawangula,+ n’olwekyo agwanira okwanjuluza omuzingo n’okubembula obubonero bwagwo omusanvu.”
6 Ne ndaba omwana gw’endiga+ ng’ayimiridde wakati w’entebe ey’obwakabaka n’aw’ebiramu ebina n’aw’abakadde,+ ng’afaanana ng’eyali attiddwa.+ Yalina amayembe musanvu n’amaaso musanvu, era amaaso ago gategeeza emyoyo gya Katonda omusanvu+ egitumiddwa mu nsi yonna. 7 N’agenda n’atoola omuzingo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka.+ 8 Era bwe yatoola omuzingo, ebiramu ebina n’abakadde 24+ ne bavunnama mu maaso g’Omwana gw’Endiga, nga buli omu alina entongooli n’ebibya ebya zzaabu ebijjudde obubaani. (Obubaani obwo butegeeza essaala z’abatukuvu.)+ 9 Ne bayimba oluyimba olupya+ nga bagamba nti: “Ogwanidde okutoola omuzingo n’okubembula obubonero bwagwo, kubanga wattibwa era n’omusaayi gwo wagulira Katonda+ abantu okuva mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga,+ 10 n’obafuula obwakabaka+ era bakabona ba Katonda waffe,+ era bajja kufuga ensi nga bakabaka.”+
11 Ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika bangi abaali beetoolodde entebe y’obwakabaka n’ebiramu n’abakadde, era omuwendo gwabwe gwali mitwalo na mitwalo era nkumi na nkumi,+ 12 nga boogera n’eddoboozi ery’omwanguka nti: “Omwana gw’Endiga eyattibwa+ agwanidde okufuna obuyinza n’obugagga n’amagezi n’amaanyi n’ekitiibwa n’ettendo n’omukisa.”+
13 Era ne mpulira buli kitonde ekiri mu ggulu ne ku nsi ne wansi mu ttaka+ ne mu nnyanja, byonna ebyabirimu, nga bigamba nti: “Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka+ n’Omwana gw’Endiga+ baweebwe ettendo n’ekitiibwa+ n’amaanyi emirembe n’emirembe.”+ 14 Ebiramu ebina ne biddamu nti: “Amiina!” era abakadde ne bavunnama ne basinza.