Abakkolosaayi
4 Mmwe abalina abaddu, muyisenga abaddu bammwe mu ngeri ey’obutuukirivu era ey’obwenkanya nga mumanyi nti nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.+
2 Munyiikirenga okusaba awatali kuddirira+ era mwebazenga.+ 3 Mu kiseera kye kimu, naffe mutusabire,+ Katonda asobole okutuggulirawo oluggi tusobole okubuulira ekigambo n’okwogera ku kyama ekitukuvu ekikwata ku Kristo, ekyanviirako okusibibwa mu kkomera,+ 4 era nsobole okukibuulira obulungi nga bwe ŋŋwanidde.
5 Mweyisenga mu ngeri ey’amagezi nga mukolagana n’ab’ebweru, nga mukozesa bulungi ebiseera byammwe.*+ 6 Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa, era nga binoze omunnyo,+ musobole okumanya engeri gye musaanidde okuddamu buli muntu.+
7 Byonna ebinkwatako, Tukiko+ muganda wange omwagalwa, omuweereza omwesigwa era muddu munnange mu Mukama waffe, ajja kubibategeeza. 8 Mmutuma gye muli musobole okumanya ebitukwatako era asobole okubudaabuda emitima gyammwe. 9 Ajja ne Onesimo+ muganda wange omwesigwa era omwagalwa ow’ewammwe; bajja kubabuulira byonna ebifa eno.
10 Alisutaluuko+ musibe munnange abalamusizza, era ne Makko+ alina oluganda ku Balunabba abalamusizza, (oyo gwe mwalagirwa okwaniriza+ ng’azze gye muli), 11 ne Yesu ayitibwa Yusito, nga bano be b’omu bakomole. Bano bokka be bakola nange omulimu gw’Obwakabaka bwa Katonda era banzizaamu nnyo amaanyi. 12 Epafula+ ow’ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, abalamusizza, nga bulijjo afuba nnyo okubasabira, mu nkomerero ya byonna musobole okuba abatuukiridde* nga mukakasiza ddala byonna Katonda by’ayagala. 13 Mu butuufu, mmujulira nti afuba nnyo ku lwammwe ne ku lw’ab’omu Lawodikiya n’ab’e Kiyerapoli.
14 Lukka,+ omusawo omwagalwa abalamusizza, era ne Dema+ bw’atyo. 15 Munnamusize ab’oluganda ab’e Lawodikiya, era munnamusize ne Nunfa, n’ab’omu kibiina ekikuŋŋaanira mu nnyumba ye.+ 16 Era ebbaluwa eno bw’emala okusomebwa mu mmwe, muteeketeeke esomebwe+ ne mu kibiina ky’e Lawodikiya era nammwe musome eyo eva e Lawodikiya. 17 Ate era, mugambe Alukipo+ nti: “Ssaayo omwoyo ku buweereza bwe wakkiriza mu Mukama waffe, osobole okubutuukiriza.”
18 Nze Pawulo, mpandiise okulamusa kuno n’omukono gwange.+ Mweyongere okulowooza ku kusibibwa kwange.+ Ekisa eky’ensusso kibeerenga nammwe.