Yakobo
4 Entalo n’okulwana ebiri mu mmwe bisibuka ku ki? Tebisibuka mu kwegomba kwammwe okw’omubiri okulwanira mu mmwe?*+ 2 Mwegomba kyokka temulina. Mutta era mwegwanyiza,* naye temusobola kufuna. Mulwana era muwakula entalo.+ Temulina kubanga temusaba. 3 Bwe musaba temufuna kubanga musaba olw’ekigendererwa ekikyamu nga mwagala okukkusa okwegomba kwammwe okw’omubiri.
4 Mmwe abakazi abenzi,* temumanyi nti okubeera mukwano gw’ensi kwe kuba omulabe wa Katonda? N’olwekyo, buli ayagala okubeera mukwano gw’ensi yeefuula mulabe wa Katonda.+ 5 Oba mulowooza nti ekyawandiikibwa kigambira bwereere nti: “Omwoyo ogw’obuggya oguli mu ffe buli kiseera guyaayaanira ebintu eby’enjawulo”?+ 6 Kyokka ekisa eky’ensusso Katonda ky’alaga kye kisinga. N’olwekyo ekyawandiikibwa kigamba nti: “Katonda aziyiza ab’amalala,+ naye abeetoowaze abalaga ekisa eky’ensusso.”+
7 Kale mugonderenga Katonda;+ naye muziyizenga Omulyolyomi+ naye anaabaddukanga.+ 8 Musemberere Katonda naye anaabasemberera.+ Munaabe engalo zammwe mmwe aboonoonyi,+ era mutukuze emitima gyammwe+ mmwe abatasalawo. 9 Munakuwale, mukungubage, era mukaabe.+ Okuseka kwammwe kufuuke okukungubaga, era n’essanyu lyammwe lifuuke okunakuwala. 10 Mwetoowaze mu maaso ga Yakuwa,*+ naye anaabagulumiza.+
11 Mulekere awo okwogeraganako obubi, baganda bange.+ Oyo ayogera obubi ku w’oluganda oba amusalira omusango, aba ayogera bubi ku mateeka era aba agasalira omusango. Bw’osalira amateeka omusango, oba togakwata, wabula oba mulamuzi. 12 Omuwi w’Amateeka era Omulamuzi ali omu,+ y’oyo asobola okuwonya n’okuzikiriza.+ Naye ggwe ani asalira munno omusango?+
13 Kale nno mmwe abagamba nti: “Leero oba enkya tujja kugenda mu kibuga kino tumaleyo omwaka era tujja kusuubula tufune amagoba,”+ 14 temumanyi kijja kutuuka ku bulamu bwammwe enkya.+ Kubanga muli lufu olulabika akaseera akatono oluvannyuma ne lubula.+ 15 Mu kifo ky’ekyo, mwandigambye nti: “Yakuwa* bw’anaaba ayagadde,+ tujja kubeerawo era tukole kino oba kiri.” 16 Naye kaakano mwenyumiriza era mwewaana bwewaanyi. Okwewaana ng’okwo kubi. 17 N’olwekyo, omuntu bw’amanya ekituufu kye yandikoze naye n’atakikola aba akoze ekibi.+