Luusi
1 Abalamuzi+ bwe baali nga be bakulembera* abantu, enjala yagwa mu nsi era waaliwo omusajja eyava mu Besirekemu+ eky’omu Yuda n’agenda okubeera mu nsi ya* Mowaabu+ ng’omugwira, ye ne mukyala we ne batabani be ababiri. 2 Omusajja oyo yali ayitibwa Erimereki,* nga mukyala we ye Nawomi,* ate batabani baabwe ababiri, omu yali ayitibwa Maloni* ate omulala ng’ayitibwa Kiriyoni.* Baali Beefulaasa ab’e Besirekemu eky’omu Yuda. Oluvannyuma baatuuka mu nsi ya Mowaabu ne babeera eyo.
3 Bwe waayitawo ekiseera, Erimereki bba wa Nawomi n’afa, Nawomi n’asigala ne batabani be ababiri. 4 Oluvannyuma abasajja abo baawasa abakazi Abamowaabu. Omu yali ayitibwa Olupa ate omulala ng’ayitibwa Luusi,+ era baabeera eyo okumala emyaka nga kkumi. 5 Nga wayise ekiseera, Maloni ne Kiriyoni nabo baafa, bw’atyo Nawomi n’asigalira awo nga talina baana be ababiri ne bba. 6 Awo n’asituka ne baka baana be okuva mu nsi ya Mowaabu addeyo, kubanga bwe yali eyo yawulira nti Yakuwa yali ajjukidde abantu be n’abawa emmere.*
7 Awo n’ava mu kifo gye yali abeera ne baka baana be bombi. Bwe baali mu kkubo nga batambula okuddayo mu nsi ya Yuda, 8 Nawomi n’agamba baka baana be bombi nti: “Muddeeyo buli omu mu nnyumba ya nnyina. Yakuwa k’abalage okwagala okutajjulukuka+ nga nammwe bwe mwakulaga babbammwe abaafa, era nga nange bwe mukundaze. 9 Yakuwa abawe ekiwummulo buli omu mu nnyumba ya bba.”+ Awo n’abanywegera, naye ne batema emiranga. 10 Ne bamugamba nti: “Nedda, tujja kugenda naawe eri abantu bo.” 11 Naye Nawomi n’abagamba nti: “Muddeeyo baana bange. Lwaki mugenda nange? Nkyasobola okuzaala abaana ab’obulenzi abayinza okufuuka babbammwe?+ 12 Muddeeyo baana bange. Mugende, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyasobola kufumbirwa. Ne bwe nnandibadde nga nsuubira okufumbirwa ekiro kya leero era ne nzaala abaana ab’obulenzi, 13 mwandibalinze okutuusa lwe bandikuze? Mwandyekuumye ku lwabwe ne mutafumbirwa? Nedda baana bange, nnumwa nnyo ku lwammwe, kubanga omukono gwa Yakuwa gunzitooweredde.”+
14 Awo ne baddamu okutema emiranga. Oluvannyuma Olupa n’anywegera nnyazaala we n’agenda, naye ye Luusi n’amunywererako. 15 Nawomi n’agamba Luusi nti: “Laba! Nnamwandu wa mulamu wo azzeeyo eri abantu be ne bakatonda be. Ddayo naye.”
16 Luusi n’amugamba nti: “Tonneegayirira kukuleka nneme kugenda naawe; gy’onoogendanga nange gye nnaagendanga, gy’onoosulanga nange gye nnaasulanga. Abantu bo be banaaba abantu bange, ne Katonda wo y’anaaba Katonda wange.+ 17 Gy’olifiira nange gye ndifiira, era eyo gye ndiziikibwa. Yakuwa k’ambonereze nnyo* singa wanaabaawo ekintu kyonna ekitwawukanya, okuggyako okufa.”
18 Nawomi bwe yalaba nga Luusi akalambidde ku ky’okugenda naye, n’alekera awo okumwegayirira okuddayo ewaabwe. 19 Bombi ne beeyongera okutambula okutuusa lwe baatuuka e Besirekemu.+ Olwali okutuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala era abakazi ne bagamba nti: “Ono ye Nawomi?” 20 Nawomi n’agamba abakazi nti: “Temumpita Nawomi.* Mumpite Mala,* kubanga Omuyinza w’Ebintu Byonna azibuwazza nnyo obulamu bwange.+ 21 Nnalina bingi we nnagendera, naye Yakuwa ankomezzaawo ngalo nsa. Lwaki mumpita Nawomi, ng’ate Yakuwa yannwanyisa, era ng’Omuyinza w’Ebintu Byonna yandabya ennaku?”+
22 Bw’atyo Nawomi bwe yakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu+ ng’ali ne Luusi Omumowaabu, muka mwana we. Baatuuka e Besirekemu ng’amakungula ga ssayiri gatandika.+