Ekyamateeka
26 “Bw’olimala okuyingira mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa okuba obusika, n’ogitwala era n’ogibeeramu, 2 otoolanga ku bibereberye eby’ebibala byonna eby’ettaka by’oliggya mu nsi yo Yakuwa Katonda wo gy’akuwa, n’obiteeka mu kisero n’ogenda mu kifo Yakuwa Katonda wo ky’anaalonda erinnya lye okubeeramu.+ 3 Era ogendanga eri kabona alibaawo mu kiseera ekyo n’omugamba nti, ‘Njatula leero mu maaso ga Yakuwa Katonda wo nti nnajja mu nsi Yakuwa gye yalayirira bajjajjaffe okutuwa.’+
4 “Kabona aliggya ekisero mu mukono gwo n’akiteeka mu maaso g’ekyoto kya Yakuwa Katonda wo. 5 Olyogerera mu maaso ga Yakuwa Katonda wo nti, ‘Kitange yali Mwalameeya+ omubungeesi,* era yagenda e Misiri+ n’ab’omu maka ge abaali abatono+ era n’abeera eyo ng’omugwira. Naye ng’ali eyo yafuuka eggwanga eddene era ery’amaanyi.+ 6 Abamisiri baatuyisa bubi, baatubonyaabonya, era baatukozesa emirimu gy’obuddu emikakali.+ 7 Twakaabirira Yakuwa Katonda wa bajjajjaffe, era Yakuwa n’awulira eddoboozi lyaffe n’atunuulira okubonaabona kwaffe n’obuzibu bwaffe n’okunyigirizibwa kwaffe.+ 8 Oluvannyuma Yakuwa yatuggya mu Misiri n’omukono ogw’amaanyi era ogugoloddwa,+ n’ebikolwa eby’entiisa, n’obubonero era n’ebyamagero.+ 9 Yatuleeta mu kifo kino n’atuwa ensi eno, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.+ 10 Kaakano ndeese ebibereberye bye nkungudde mu ttaka Yakuwa lye yampa.’+
“Olibissa mu maaso ga Yakuwa Katonda wo era n’ovunnama mu maaso ga Yakuwa Katonda wo. 11 Era olisanyuka olw’ebirungi byonna Yakuwa Katonda wo by’aliba akuwadde ggwe n’ab’ennyumba yo, n’Omuleevi, n’omugwira ali mu mmwe.+
12 “Bw’omalanga okukuŋŋaanya ekimu eky’ekkumi+ kyonna eky’ebirime byo mu mwaka ogw’okusatu, omwaka ogw’ekimu eky’ekkumi, okiwanga Omuleevi n’omugwira n’omwana atalina kitaawe* ne nnamwandu, era banaakiriiranga mu bibuga* byo ne bakkuta.+ 13 Era oyogereranga mu maaso ga Yakuwa Katonda wo nti, ‘Ebintu bino ebitukuvu mbiggye mu nnyumba yange ne mbiwa Omuleevi n’omugwira n’omwana atalina kitaawe ne nnamwandu,+ nga bwe wandagira. Simenye biragiro byo era sireseeyo kubikwata. 14 Tewali kintu kyonna kitukuvu kye ndidde nga ndi mu kukungubaga, era sirina kintu kitukuvu kye nkutteko nga siri mulongoofu, era tewali kintu kitukuvu kye mpaddeyo ku lw’abafu. Ŋŋondedde eddoboozi lya Yakuwa Katonda wange era nkoze byonna bye wandagira. 15 Kaakano tunula wansi ng’oyima mu ggulu, ekifo kyo ekitukuvu ky’obeeramu, owe abantu bo Isirayiri omukisa era n’ensi gy’otuwadde,+ nga bwe walayirira bajjajjaffe,+ ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.’+
16 “Leero Yakuwa Katonda wo akulagira okukwata amateeka gano n’ebiragiro bino; bikwatenga era obikolereko n’omutima gwo gwonna+ n’obulamu bwo bwonna. 17 Olwa leero oleetedde Yakuwa okugamba nti ajja kubeeranga Katonda wo bw’onootambuliranga mu makubo ge, n’okwata amateeka ge+ n’ebiragiro bye,+ era n’owuliriza eddoboozi lye. 18 Yakuwa naye akuleetedde leero okugamba nti ojja kubeeranga ggwanga lye era ekintu kye ekiganzi,*+ nga bwe yakusuubiza, era nti ojja kukwata ebiragiro bye byonna, 19 era nti ajja kukugulumiza okusinga amawanga amalala gonna ge yakola,+ kikuleetere ettendo, ettutumu, n’ekitiibwa, bw’onooba eggwanga ettukuvu eri Yakuwa Katonda wo,+ nga bwe yakusuubiza.”