Engero
3 Bisibe ku ngalo zo;
Biwandiike ku mutima gwo.+
4 Gamba amagezi nti, “Oli mwannyinaze,”
N’okutegeera kugambe nti: “nkulinako oluganda,”
6 Nnayima ku ddirisa* ly’ennyumba yange,
Ne ntunula wansi,
7 Ne nneetegereza abavubuka abatalina bumanyirivu,
Ne ndaba mu bo omuvubuka atalina magezi.+
8 Yali atambula ng’ayita okumpi n’ekkubo erikyama ew’omukazi oyo,
N’akyama n’ayolekera ennyumba ye,
Ng’enzikiza etandise okukwata.
11 Omukazi oyo ayogerera waggulu era muwaganyavu.+
Tatuula* waka.
12 Ebiseera ebimu aba bweru, ate ebiseera ebirala aba mu bifo ebya lukale,
Ateegera mu buli kkoona.+
13 Yavumbagira omuvubuka oyo n’amunywegera;
Yamutunuulira nga taliiko nsonyi ku maaso, n’amugamba nti:
14 “Nnalina okuwaayo ssaddaaka ez’emirembe.+
Olwa leero ntuukirizza obweyamo bwange.
15 Kyenvudde nzija nkusisinkane,
Nkunoonyezza, era kaakano nkuzudde!
16 Ekitanda kyange nkyazeeko essuuka ennungi,
Eza langi ez’enjawulo eza kitaani ava e Misiri.+
17 Nkimansiddeko miira, alowe, ne mudalasiini.+
18 Jjangu tutamiire omukwano okukeesa obudde;
Ka tunyumirwe omukwano,
19 Kubanga baze taliiyo eka;
Yagenda ku lugendo luwanvu.
20 Yagenda n’essente,
Ajja kukomawo ng’omwezi gwa ggabogabo.”
21 Amulimbalimba n’olulimi olusendasenda ennyo n’amukkirizisa.+
Amusendasenda n’ebigambo ebisikiriza.
22 Amangu ago omuvubuka amugoberera ng’ente gye batwala okusala,
Ng’omuntu omusirusiru agenda okuteekebwa mu nvuba,+
23 Okutuusa akasaale lwe kafumita ekibumba kye;
Okufaananako ekinyonyi ekigenda okugwa mu mutego, tamanyi nti ajja kufiirwa obulamu bwe.+
24 Kale baana bange, mumpulirize
Musseeyo omwoyo eri ebigambo bye njogera.
25 Temukkirizanga mitima gyammwe okutwalirizibwa ne mugoberera amakubo ge.
Temuwabanga ne mutambulira mu mpenda ze,+
26 Kubanga aleetedde bangi okuttibwa,+
Era n’abo b’asse nkumu.+
27 Ennyumba ye etwala abantu emagombe;*
Ebaserengesa mu bisenge by’okufa.