Ebikolwa
12 Mu kiseera ekyo kabaka Kerode yatandika okuyigganya ennyo abamu ku abo abaali mu kibiina.+ 2 Yatta n’ekitala+ Yakobo muganda wa Yokaana.+ 3 Bwe yalaba ng’ekyo kisanyusizza Abayudaaya, n’akwata ne Peetero. (Zaali nnaku za Mbaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse.)+ 4 Bwe yamala okumukwata n’amussa mu kkomera,+ n’amukwasa ebibinja by’abasirikale bina okumukuuma mu mpalo, nga buli kimu kirimu abasirikale bana. Yali ayagala kumuleeta eri abantu* oluvannyuma lw’embaga ey’Okuyitako. 5 Peetero yali akuumirwa mu kkomera, naye ekibiina kyanyiikira okumusabira eri Katonda.+
6 Mu kiro ekyakeesa olunaku Kerode lwe yali agenda okumuleeta eri abantu, Peetero yali yeebase wakati w’abasirikale babiri ng’asibiddwa enjegere bbiri, era nga n’abakuumi bali ku luggi nga bakuuma ekkomera. 7 Naye laba! malayika wa Yakuwa* n’ayimirira w’ali,+ ekitangaala ne kyaka mu kkomera. N’akuba ku Peetero mu mbiriizi, n’amuzuukusa, n’amugamba nti: “Situka mangu!” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa.+ 8 Malayika n’amugamba nti: “Weetereeze* era oyambale n’engatto zo.” N’akola bw’atyo. Oluvannyuma malayika n’amugamba nti: “Yambala ekyambalo kyo eky’okungulu ongoberere.” 9 N’afuluma n’amugoberera, naye yali tamanyi nti malayika bye yali akola byali bya ddala. Yali alowooza nti ayolesebwa. 10 Ne bayita ku bakuumi abasooka n’ab’okubiri ne batuuka ku luggi olw’ekyuma oluyingira mu kibuga, ne lweggulawo lwokka. Bwe baamala okufuluma, ne bagenda ne batuuka mu luguudo olumu, amangu ago malayika n’amuleka. 11 Peetero bwe yategeera ekyali kigenda mu maaso, n’agamba nti: “Kati ntegeeredde ddala nga Yakuwa* yatumye malayika we okunnunula mu mukono gwa Kerode n’okumponya ebyo byonna Abayudaaya bye babadde balowooza nti bigenda kuntuukako.”+
12 Bwe yamala okutegeera ekyo, n’agenda mu nnyumba ya Maliyamu maama wa Yokaana eyali ayitibwa Makko+ awaali wakuŋŋaanidde abantu abatonotono nga basaba. 13 Bwe yakonkona ku luggi, omuwala omuweereza ayitibwa Looda n’ajja alabe akonkona. 14 Bwe yategeera ng’eddoboozi lya Peetero, n’ataggulawo olw’essanyu eringi, naye n’adduka n’addayo munda n’abagamba nti Peetero ayimiridde ku mulyango. 15 Ne bamugamba nti: “Ogudde eddalu.” Naye n’ayongera okukikkaatiriza nti ky’ayogera kituufu. Ne bagamba nti: “Oyo malayika we.” 16 Naye Peetero ne yeeyongera okukonkona ku luggi. Bwe baggulawo ne bamulaba ne beewuunya nnyo. 17 Naye n’abawenya n’omukono basirike, n’ababuulira engeri Yakuwa* gye yali amuggye mu kkomera, era n’abagamba nti: “Ebintu bino mubibuulire Yakobo+ n’ab’oluganda.” Awo n’afuluma n’agenda mu kifo ekirala.
18 Obudde bwe bwakya, ne wabaawo akakyankalano ka maanyi mu basirikale nga beebuuza ekyali kituuse ku Peetero. 19 Kerode n’amunoonya buli wamu, era bw’ataamuzuula, n’awozesa abakuumi, n’alagira batwalibwe babonerezebwe.+ Awo Kerode n’ava e Buyudaaya n’agenda e Kayisaliya n’abeera eyo okumala ekiseera.
20 Kerode yali anyiigidde abantu b’e Ttuulo n’e Sidoni. Awo ne bajja gy’ali nga balina ekigendererwa kimu, era bwe baamala okwogera ne Bulasito eyali alabirira ennyumba ya* kabaka ne bamumatiza, ne basaba batabagane ne kabaka kubanga ensi ye ye yali ewa ensi yaabwe emmere. 21 Awo ku lunaku abantu lwe baali bakuŋŋaanye, Kerode yayambala ekyambalo ky’obwakabaka n’atuula ku ntebe okusalirwa emisango n’atandika okwogera eri abantu. 22 Abantu abaali bakuŋŋaanye ne boogerera waggulu nti: “Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu!” 23 Amangu ago malayika wa Yakuwa* n’amulwaza, olw’okuba yali tawadde Katonda kitiibwa, n’aliibwa envunyu n’afa.
24 Ekigambo kya Yakuwa* ne kyeyongera okubuna era abakkiriza ne beeyongera obungi.+
25 Balunabba+ ne Sawulo bwe baamala okutwala obuyambi mu Yerusaalemi,+ ne baddayo mu Antiyokiya ne batwala ne Yokaana+ ayitibwa Makko.