Yona
1 Yakuwa yayogera ne Yona*+ mutabani wa Amitayi n’amugamba nti: 2 “Situka ogende e Nineeve,+ ekibuga ekikulu, olangirire omusango ogukisaliddwa, kubanga ebintu ebibi bye bakola bituuse mu maaso gange.”
3 Kyokka Yona n’asalawo okugenda e Talusiisi asobole okudduka Yakuwa; n’agenda e Yopa n’alaba ekyombo ekyali kigenda e Talusiisi, n’asasula ssente, n’alinnya agende e Talusiisi n’abo abaali mu kyombo, adduke Yakuwa.
4 Awo Yakuwa n’aleeta empewo ey’amaanyi ku nnyanja, ne wabaawo omuyaga ogw’amaanyi ennyo ku nnyanja, ekyombo ne kibulako katono okumenyeka. 5 Abalunnyanja ne batya, buli omu n’atandika okuwanjagira katonda we abayambe. Ne basuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo kisobole okuwewuka.+ Naye Yona yali asse wansi mu kyombo ng’agalamidde eyo yeebase. 6 Awo omugoba w’ekyombo n’agenda gye yali n’amugamba nti: “Lwaki weebase? Situka okoowoole katonda wo! Oboolyawo Katonda ow’amazima anaatusaasira ne tutasaanawo.”+
7 Awo ne bagambagana nti: “Mujje tukube obululu+ tumanye avuddeko akabi kano.” Ne bakuba obululu, akalulu ne kagwa ku Yona.+ 8 Awo ne bamugamba nti: “Tubuulire; ani avuddeko akabi kano akatujjidde? Okola mulimu ki, era ova wa? Ova mu nsi ki, era oli wa ggwanga ki?”
9 Awo n’abaddamu nti: “Ndi Mwebbulaniya era nsinza* Yakuwa Katonda ow’omu ggulu, eyakola ennyanja n’olukalu.”
10 Abasajja ne batya nnyo, ne bamugamba nti: “Kiki kino ky’okoze?” (Abasajja abo baali bategedde nti yali adduka Yakuwa, olw’okuba yali ababuulidde.) 11 Awo ne bamugamba nti: “Tukukole ki ennyanja esobole okuteeka?” Kubanga ennyanja yali yeeyongera kwefuukuula. 12 N’abaddamu nti: “Munsitule munsuule mu nnyanja, ennyanja eteeke; kubanga nkimanyi nti nze mbaviiriddeko okujjirwa omuyaga guno ogw’amaanyi.” 13 Abasajja ne bafuba nnyo okukuba enkasi basobole okuzzaayo ekyombo ku lukalu, naye ne batasobola, kubanga omuyaga gwali gweyongera bweyongezi okuba ogw’amaanyi.
14 Awo ne bakoowoola Yakuwa ne bagamba nti: “Ai Yakuwa, tukwegayiridde ka tuleme kusaanawo olw’omusajja ono! Totuvunaana musaayi gutaliiko musango, kubanga ggwe Ai Yakuwa okoze nga bw’oyagala!” 15 Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja, ennyanja n’eteeka. 16 Abasajja ne batya nnyo Yakuwa,+ ne bawaayo ssaddaaka eri Yakuwa era ne bakola obweyamo.
17 Awo Yakuwa n’asindika ekyennyanja ekinene ennyo ne kimira Yona, Yona n’abeera mu lubuto lw’ekyennyanja ekyo okumala ennaku ssatu emisana n’ekiro.+