ESUULA EY’EKKUMI N’ESSATU
Yayigira ku Nsobi Ze
1, 2. (a) Buzibu ki Yona bwe yeesangamu awamu n’abalunnyanja, era obuzibu obwo bwali buvudde ku ki? (b) Ebyo bye tusoma ku Yona biyinza bitya okutuyamba?
YONA yali awulira okuwuuma okw’amaanyi n’amaloboozi amalala mangi. Embuyaga ey’amaanyi yali ekunta ku nnyanja, era nga n’amayengo gayuuza ekyombo nga gakizza eno n’eri. Kyokka amaloboozi agaasingira ddala okumumalako emirembe ge g’abalunnyanja abaali balaajana nga bagezaako okutaasa emmeeri yaabwe ereme kubbira. Yona yali akiraba nti abasajja abo bonna baali bagenda kufa, era ng’obuzibu bwali buvudde ku ye.
2 Yona yatuuka atya okuba mu mbeera eno? Yali ajeemedde Yakuwa Katonda we. Atya? Yali takyalina ky’ayinza kukolawo okuzzaawo enkolagana ye ne Yakuwa? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kutuyamba okubaako bye tuyiga. Ng’ekyokulabirako, ebyo bye tusoma ku Yona bitulaga nti n’omuntu alina okukkiriza okw’amaanyi asobola okukola ensobi, era bitulaga nti asobola okubaako ky’akolawo n’atereeza ekkubo lye.
Nnabbi ow’e Ggaliraaya
3-5. (a) Kiki abantu kye basinga okussaako ebirowoozo bwe basoma ebikwata ku Yona? (b) Bayibuli etubuulira ki ku Yona? (Laba n’obugambo obuli wansi ku lupapula 109.) (c) Lwaki obuweereza bwa Yona tebwali bwangu?
3 Abantu bangi bwe basoma ebikwata ku Yona, ebirowoozo babissa nnyo ku nsobi ze yakola era ne ku bunafu bwe. Kyokka Yona yalina n’engeri ennungi. Kijjukire nti Yakuwa Katonda ye yalonda Yona okuba nnabbi we. Yakuwa yawa Yona enkizo eyo olw’okuba yali muntu mwesigwa era nga mutuukirivu.
Wadde nga Yona yakola ensobi, yalina engeri ennungi
4 Bayibuli tetutegeeza bingi nnyo bifa ku Yona. (Soma 2 Bassekabaka 14:25.) Yona yali wa mu kabuga k’e Gasufekeri, akaali nga mayiro bbiri n’ekitundu okuva e Nazaaleesi Yesu Kristo gye yakulira.a Yaweereza nga nnabbi mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Yerobowaamu ow’okubiri eyali afuga obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi. Mu kiseera ekyo Eriya yali yafa dda era nga ne Erisa eyamuddira mu bigere naye amaze okufa. Wadde nga Yakuwa yali akozesezza abasajja abo okumalawo okusinza Baali mu Isiraeri, Abaisiraeri baali bazzeemu okuwaba. Mu kiseera ekyo ensi yali efugibwa kabaka ‘eyali akola ebibi mu maaso ga Yakuwa.’ (2 Bassek. 14:24) N’olw’ensonga eyo, obuweereza bwa Yona buteekwa okuba nga tebwali bwangu. Wadde kyali kityo, Yona yaweereza n’obwesigwa.
5 Naye lumu waliwo ekintu ekikulu ennyo ekyaliwo mu bulamu bwa Yona. Yakuwa aliko kye yamutuma okukola naye ye n’awulira nti kyali kizibu nnyo. Yamutuma kukola ki?
‘Golokoka Ogende e Nineeve’
6. Kiki Yakuwa kye yagamba Yona okukola, era lwaki kyalabika ng’ekikalubo ennyo?
6 Yakuwa yagamba Yona nti: ‘Golokoka ogende e Nineeve ekibuga ekyo ekinene olangirire nti ebibi bye bakola birinnye era bituuse mu maaso gange.’ (Yon. 1:2) Waliwo ensonga eziwerako lwaki omulimu ogwo gwalabika nga mukalubo nnyo. Okuva mu kabuga we yali okutuuka e Nineeve waaliwo mayiro nga 500, era ng’omuntu okutambula okutuukayo kimutwalira omwezi nga gumu. Kyokka kirabika waaliwo ekintu ekyali kyeraliikiriza Yona n’okusinga olugendo olwo. Ng’atuuse e Nineeve, Yona yalina okutegeeza Abaasuli omusango Yakuwa gwe yali abasalidde, ng’ate Abaasuli baali bamanyiddwa okuba abantu abakambwe ennyo era abatemu. Bwe kiba nti abantu ba Katonda baali tebamuwulirizza, kati olwo Abaasuli abaali basinza bakatonda ab’obulimba be bandimuwulirizza? Yandisobodde atya okutuukiriza obuweereza bwe ng’ali eyo mu kibuga ekyo ekyali ekinene ennyo, era ekyatuuka okumanyibwa oluvannyuma ‘ng’ekibuga eky’omusaayi’?—Nak. 3:1, 7.
7, 8. (a) Yona yakiraga atya nti yali amaliridde obutagenda Nineeve Yakuwa gye yali amutumye? (b) Lwaki tetusaanidde kulowooza nti Yona yali mutiitiizi?
7 Wadde nga tetuli bakakafu obanga ebyo bye bintu Yona bye yalowoozaako, kye tumanyi kiri nti Yona yasalawo okudduka. Mu kifo ky’okugenda e Nineeve ekyali ebuvanjuba, Yona ye yayolekera bugwanjuba. Yagenda ku mwalo gw’e Yopa gye yasanga ekyombo ekyali kigenda e Talusiisi. Bannabyafaayo abamu bagamba nti Talusiisi kyali mu Supeyini. Ekyo bwe kiba nga kituufu, kiba kitegeeza nti Yona yali agenda mu kifo ekyali kyesudde Nineeve mayiro nga 2,200. Okusaabala mu kyombo okuva e Yopa okutuuka e Talusiisi kyatwalanga omwaka nga mulamba. Wamma ddala Yona yali amaliridde obutagenda Yakuwa gye yali amutumye!—Soma Yona 1:3.
8 Kati olwo tugambe nti Yona yali mutiitiizi? Nedda, tetuba batuufu kugamba bwe tutyo. Nga bwe tujja okulaba, Yona yali musajja muvumu. Kyokka era okufaananako abantu bonna, Yona naye yali tatuukiridde era yalina obunafu obutali bumu. (Zab. 51:5) Ani ku ffe atayolekaganangako na mbeera eyamuleetera okutya?
9. Oluusi tuwulira tutya nga waliwo obuvunaanyizibwa bwe tuweereddwa mu kibiina kya Yakuwa, era kiki kye tusaanidde okujjukira mu biseera ng’ebyo?
9 Oluusi tuyinza okulowooza nti ekintu Katonda ky’atugamba okukola kizibu nnyo oba nti tekisoboka. Obuvunaanyizibwa obw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda tuyinza okubutwala okuba obuzibu ennyo okutuukiriza. (Mat. 24:14) Tutera okwerabira ebigambo ebizzaamu amaanyi Yesu bye yayogera bwe yagamba nti: “Eri Katonda ebintu byonna bisoboka.” (Mak. 10:27) Kale bwe kiba nti naffe oluusi twerabira ebigambo ebikulu bwe bityo, tusobola okutegeera ensonga lwaki ne Yona kyamutuukako. Naye Yona bwe yadduka, kiki ekyaddirira?
Yakuwa Akangavvula Nnabbi We
10, 11. (a) Yona ayinza kuba nga yalowooza ki ng’ekyombo kisimbudde okuva ku mwalo? (b) Buzibu ki obwaliwo ng’ekyombo kituuse mu buziba?
10 Tuyinza okukuba Yona akafaananyi ng’atudde mu kyombo era ng’atunuulira omugoba waakyo n’abasajja be nga bakebera okulaba nti buli kimu ku kyombo kiri bulungi basobole okusimbula. Ekyombo kyasimbula okuva ku mwalo era bwe kyatuuka mu buziba, Yona ayinza okuba nga yawulira obuweerero ng’alowooza nti yali awonye okugenda e Nineeve. Naye embeera y’obudde yakyuka omulundi gumu.
11 Omuyaga ogw’amaanyi gwatandika okukunta era ennyanja ne yeefuukuula. Ekyombo kyali ng’akasaaniiko obusaaniiko ku mazzi olw’amayengo ag’amaanyi agaali ku nnyanja. Mu kiseera ekyo Yona yategeera ekyali kiviiriddeko omuyaga ogwo? Tetumanyi, naye kye tumanyi kiri nti oluvannyuma yawandiika nti, ‘Mukama yasindika empewo nnyingi ku nnyanja.’ Yalaba ng’abalunnyanja bakaabirira bakatonda baabwe babayambe, naye yali akimanyi nti bakatonda baabwe baali tebalina kye basobola kukola. (Leev. 19:4) Yawandiika nti: ‘Ekyombo kyali kyagala kumenyeka.’ (Yon. 1:4) Ddala Yona yali ayinza okusaba Yakuwa Katonda amuyambe ate nga yali amudduka?
12. (a) Lwaki tetusaanidde kulowooza nti Yona okwebaka kyali kiraga nti yali teyeefiirayo ku kyali kigenda mu maaso? (Laba n’obugambo obuli wansi.) (b) Yakuwa yakiraga atya nti Yona ye yali aviiriddeko omutawaana?
12 Yona bwe yalaba nga talina ky’asobola kukolawo, yasalawo okukka wansi mu kisenge ky’ekyombo n’agalamira eyo era otulo ne tumutwala.b Omugoba w’ekyombo yamusanga yeebase era n’amuzuukusa n’amugamba naye asabe katonda we. Abalunnyanja baakuba akalulu balabe ani eyali aviiriddeko omuyaga, kubanga baakiraba nti tegwali gwa bulijjo. Awatali kubuusabuusa Yona amameeme gaatandika okumukuba ng’akalulu katandise okukubibwa. Kyaddaaki amazima geeyoleka. Yakuwa ye yali asindise omuyaga, era n’akyoleka okuyitira mu kalulu nti Yona ye yaliko obuzibu!—Soma Yona 1:5-7.
13. (a) Biki Yona bye yategeeza abalunnyanja? (b) Kiki Yona kye yagamba abalunnyanja okukola, era lwaki?
13 Yona yabuulira abalunnyanja byonna ebimukwatako. Yabagamba nti yali muweereza wa Yakuwa, Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, era nga gwe yali agezaako okudduka ne kibaviirako obuzibu obwo. Abasajja abo baatya nnyo bwe baawulira ekyo, era baamubuuza kye baali bayinza okukola omuyaga guleme kubasaanyaawo. Yona yabaddamu atya? Wadde nga yali akimanyi bulungi nti bwe bandimusudde mu nnyanja mu buli ngeri yandifudde, ayinza okuba nga yakifumiitirizaamu n’alaba nga kyandibadde kikyamu abantu abo bonna okuzikirira olw’okubeera ye. Bw’atyo yabagamba nti: “Munsitule munsuule mu nnyanja; kale ennyanja eneebateekera; kubanga mmanyi nti omuyaga guno omungi gubakutte okubalanga nze.”—Yon. 1:12.
14, 15. (a) Tuyinza tutya okwoleka okukkiriza okw’amaanyi ng’okwa Yona? (b) Abalunnyanja baakola ki Yona bwe yabagamba okumusuula mu nnyanja?
14 Ebigambo ebyo Yona bye yayogera biraga nti teyali musajja mutiitiizi. Obuvumu obwo Yona bwe yalaga mu kaseera ako akazibu ennyo awamu n’omwoyo ogw’obuteerowoozaako, biteekwa okuba nga byasanyusa nnyo Yakuwa. Ate era Yona yalaga okukkiriza okw’amaanyi ennyo. Tuyinza okulaga okukkiriza ng’okwo nga tufaayo ku balala, mu kifo ky’okwefaako ffekka. (Yok. 13:34, 35) Bwe wabaawo omuntu eyeetaaga okubudaabudibwa oba okuyambibwa mu by’omubiri oba mu by’omwoyo, tufaayo okumuyamba? Yakuwa asanyuka nnyo bwe tubaako kye tukolawo okuyamba omuntu ng’oyo.
15 Okusooka abalunnyanja baagaana okusuula Yona mu nnyanja. Baagezaako okukola kyonna kye basobola okusaabala ennyanja eyali esiikuuse, naye ne balemererwa. Awo nno ne bakiraba nti baali tebakyalina kirala kya kukola. Oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa Katonda wa Yona abasonyiwe olw’ekyo kye baali bagenda okukola, baasitula Yona ne bamusuula mu nnyanja.—Yon. 1:13-15.
Yakuwa Alaga Yona Ekisa era n’Amununula
16, 17. Nnyonnyola ebyaliwo nga Yona asuuliddwa mu nnyanja. (Laba n’ebifaananyi.)
16 Nga Yona amaze okusuulibwa mu nnyanja eyali yeefuukuula ennyo bw’etyo, oboolyawo yagezaako okuwuga aleme kubbira. Naye amayengo gaamuyinga amaanyi, n’atandika okubbira, era oboolyawo mu kiseera ekyo yalowooza nti ebibye byali bikomye.
17 Engeri Yona gye yali yeewuliramu mu kaseera ako ng’ali mu nnyanja yaginnyonnyola oluvannyuma. Mu kiseera ekyo yalowooza ebintu bingi. Yalowooza nti yali tagenda kuddayo kulaba yeekaalu ya Yakuwa mu Yerusaalemi. Bwe yali akka wansi mu nnyanja, yawulira ng’akkira ddala ku ntobo y’ennyanja, eyo ensozi gye zisibuka, era omuddo gw’omu nnyanja gwamwezingirira. Yona yalowooza nti eyo ye yali egenda okuba entaana ye.—Soma Yona 2:2-6.
18, 19. (a) Kiki ekyatuuka ku Yona bwe yali wansi mu nnyanja? (b) Kiki ekyamumira era ani yakisindika? (Laba n’obugambo obuli wansi.)
18 Naye waliwo oguntu ogunene ennyo ogwali gujja nga gusembera we yali. Bwe gwamutuukako gwayasamya akamwa kaagwo ne gumumira!
19 Yona ateekwa okuba nga yalowooza nti ebibye byali bikomye, naye yagenda okuwulira ng’akyassa bulungi era nga talina wonna w’amenyese. Yali akyali mulamu bulungi wadde nga yali ng’ali mu ntaana. Ekyo Yona kyamwewuunyisa nnyo. Awatali kubuusabuusa, Katonda we, Yakuwa, ye yali ‘asindise ekyennyanja ekinene kimumire.’c—Yon. 1:17.
20. Biki bye tuyiga ku Yona okusinziira ku ssaala gye yasaba ng’ali mu lubuto lw’ekyennyanja?
20 Ekiseera kyayitawo ng’ali mu lubuto lw’ekyennyanja omwali ekizikiza eky’amaanyi ennyo. Mu kiseera ekyo Yona yafumiitiriza nnyo era n’asaba Yakuwa Katonda. Essaala eyo gye yasaba, eri mu ssuula ey’okubiri ey’ekitabo kya Yona, erina ebintu bingi by’etulaga ku Yona. Yona bwe yali asaba yajuliza nnyo mu Zabbuli, ekiraga nti yali amanyi nnyo Ebyawandiikibwa. Ate era eraga nti Yona yasiimanga Yakuwa bye yabanga amukoledde. Yafundikira essaala ye ng’agamba nti: “Naye nze naakuwa ssaddaaka yange n’eddoboozi ery’okwebaza; naasasula obweyamo bwange. Obulokozi buva eri Mukama.”—Yon. 2:9.
21. Kiki Yona kye yategeera ng’ali mu lubuto lw’ekyennyanja, era kiki kye tusaanidde okujjukira?
21 Ng’ali mu “lubuto lw’ekyennyanja,” Yona yakitegeera nti Yakuwa asobola okununula omuntu yenna, ekiseera kyonna, omuntu oyo k’abe mu kifo ki. N’eyo mu “lubuto lw’ekyennyanja” Yona gye yali, Yakuwa yamulaba era n’amununula. (Yon. 1:17) Yakuwa yekka y’asobola okukuuma omuntu nga mulamu mu lubuto lw’ekyennyanja okumala ennaku ssatu. Kirungi buli omu ku ffe okukijjukira nti Yakuwa ye ‘Katonda alina omukka gwaffe mu mukono gwe.’ (Dan. 5:23) Ye yatutonda era y’abeesaawo obulamu bwaffe. Kati olwo tetwandiraze okusiima kwaffe nga tumugondera?
22, 23. (a) Kiki ekyali kigenda okulaga obanga Yona yali asiimye ebyo Yakuwa bye yali amukoledde? (b) Ku bikwata ku nsobi ze tukola, kiki kye tuyigira ku Yona?
22 Yona yalaga okusiima kwe n’agondera Yakuwa? Yee. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu ekyennyanja ekyo ‘kyamusesema ku lukalu.’ (Yon. 2:10) Weewuunye, Yona tekyamwetaagisa na kuwuga okusobola okutuuka ku lukalu! Kya lwatu, okuva awo we kyamusesema, yali alina okwesalira amagezi okusobola okutuuka gye yali agenda. Naye oluvannyuma lw’ebbanga ttono, kyali kigenda kweraga bulungi obanga ddala yali asiimye ekyo Yakuwa kye yali amukoledde. Yona 3:1, 2, wagamba nti: “Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yona omulundi ogw’okubiri, nga kyogera nti Golokoka, ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okibuulirire okubuulira kwe nkugamba.” Yona yakola atya?
23 Yasitukiramu n’agenda. Tusoma nti: “Awo Yona n’agolokoka n’agenda e Nineeve nga Mukama bwe yamugamba.” (Yon. 3:3) Ku luno, yagondera Yakuwa. Yali alina by’ayize. Ne mu nsonga eno waliwo kye tuyigira ku Yona. Ffenna tukola ensobi. (Bar. 3:23) Naye bwe tukola ensobi, tubaako bye tuyiga era ne kituyamba obutaziddamu, bwe tutyo ne tweyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa?
24, 25. (a) Mikisa ki egyava mu buwulize bwa Yona gye yalabako ng’akyali mulamu? (b) Kiki Yona ky’ajja okuba omusanyufu okumanya ng’azuukidde?
24 Obuwulize Yona bwe yalaga bwavaamu emikisa? Yee. Kirabika Yona yamala n’akitegeera nti abalunnyanja be yali nabo mu kyombo baawonawo. Omuyaga gwakkakkana nga baakamala okumusuula mu nnyanja, era abasajja abo baatandika ‘okutya Yakuwa,’ ne baawaayo ssaddaaka gy’ali.—Yon. 1:15, 16.
25 Omukisa omulala gwajja oluvannyuma lw’ebbanga ddene Yesu bwe yageraageranya ennaku Yona ze yamala mu kyennyanja ku nnaku ze yandimaze Emagombe. (Soma Matayo 12:38-40.) Yona bw’alizuukira, ng’alisanyuka nnyo okukimanya ekyo! (Yok. 5:28, 29) Naawe Yakuwa ayagala okukuwa emikisa. Onooba nga Yona n’oyigira ku nsobi zo, n’oba muwulize, era n’okiraga nti ofaayo ku bantu abalala?
a Wadde nga Yona yava mu ssaza ly’e Ggaliraaya, kyewuunyisa okuba nga Abafalisaayo baagamba nti: “Noonyereza mu Byawandiikibwa era ojja kulaba nti tewali nnabbi wa kuva Ggaliraaya.” (Yok. 7:52) Abanoonyereza ku bikwata ku Bayibuli era n’abavvuunuzi bangi bagamba nti ebigambo by’Abafalisaayo ebyo byali bitegeeza nti mu Ggaliraaya mwali temuvangamu nnabbi era mwali temuyinza kuvaamu nnabbi yenna. Bwe kiba nti ekyo kye baali bategeeza, kyeyoleka bulungi nti baali tebamanyi byafaayo era nga n’obunnabbi tebabutegeera.—Is. 9:1, 2.
b Okulaga nti Yona yali mu tulo tungi, enzivuunula ya Bayibuli eyitibwa Septuagint egattako nti yafuluuta. Naye tetusaanidde kukitwala nti Yona okwebaka kyali kiraga nti yali teyeefiirayo ku kyali kigenda mu maaso, kubanga ebiseera ebimu omuntu bw’aba mu nnaku ennyingi otulo twanguwa okumutwala. Yesu bwe yali mu nnimiro y’e Gesusemane ng’anaatera okuttibwa, Peetero, Yakobo, ne Yokaana ‘beebaka olw’ennaku.’—Luk. 22:45.
c Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “ekyennyanja,” mu Luyonaani kyavvuunulwa nga “ensolo ennene ey’omu nnyanja,” oba “ogwennyanja ogunene.” Wadde nga tetusobola kumanyira ddala kisolo ki eky’omu nnyanja ekyamira Yona, kimanyiddwa bulungi nti mu Nnyanja Meditereniyani mulimu agennyanja aganene ennyo agasobola okumira omuntu. Ate eriyo ennyanja endala ezirimu agennyanja aganene ennyo n’okusingawo, gamba ng’ogwo gwe bayita whale shark ogusobola okuweza ffuuti 45 obuwanvu, oluusi n’okusingawo!
okumumira